YouVersion Logo
Search Icon

2 Bamak 12

12
1Endagaano ezo nga zimaze okutuukibwako, Lisiya n'agenda ewa kabaka; n'Abayudaaya ne badda ku kulima. 2Naye mu abo abaali abakulembeze mu bitundu ebimu, nga Timotewo ne Apolloniyo mutabani wa Genneewo, ssaako Yeronimo ne Demofoni, wamma nga toleseeyo Nikanori owessaza mu Kupuro, tebaabaganya kubeera bokka mu ddembe. 3Kale ng'ab'e Yoppa baabakolako eky'obutemu nga kino: baayita Abayudaaya be baabeeranga nabo, ne babagamba basaabale mu maato ge baali bategese awo, wamu ne bakazi baabwe n'abaana, nga tewaliiwo na kabonero kalaga nti kino kyali kya bulabe gye bali. 4Kino kyali kiyisiddwa ku kalulu mu kibuga. Abayudaaya kubanga baali baagala kubeera mu ddembe, ate nga tebalina kye beekengeramu, ne bakkiriza. Abantu b'e Yoppa baabatwala mu buziba, ne babasuula mu nnyanja, abantu baali tebakka wansi wa bikumi bibiri.
Yuda addamu ebikwekweto
5Yuda bwe yamanya obukambwe obwenkana awo obukoleddwa ku bantu b'eggwanga lye, n'awa ebiragiro basajja be. 6Bwe yamala okukowoola Katonda Omulamuzi omutuukirivu, n'alumba abo abatta baganda be; ekiro omwalo n'aguteekera omuliro, amaato n'agookya, abaali baddukiddeyo n'abatta n'ekitala. 7Kubanga ekibuga kyali kiggale, n'akuba akaddannyuma ng'asuubira okukomawo asaanyeewo ekibuga ky'e Yoppa kyonna. 8Bwe yamanya nti n'abaali e Yamuniya mu ngeri ye emu baali baagala okusaanyaawo Abayudaaya abaali mu bo, 9n'alumba abantu b'e Yamuniya ekiro, omwalo n'agwokya ko n'amaato; okwaka kw'omuliro nga kulengerwa n'abaali mu Yeruzaalemu ekyesudde sitaadiyo ebikumi bibiri mu ana.#12,9 Ze kilomita 48 oba mayilo 30.
10 # 1 Bamak 5,24-54. Bwe baava eyo nga batambuddeko sitaadiyo mwenda#12,10 Ye kilomita 1½ oba mayilo 1¼. nga bagenda okulumba Timotewo, abasajja Abawarabu abatakka wansi wa nkumi ttaano ne babazinda; baaliko abeebagazi ebikumi bitaano. 11Oluvannyuma lw'okulwana obwezizingirire, Yuda ne basajja be ne bawangula, Katonda ng'abakwatiddeko. Ababungeese bali abaawangulibwa ne basaba okuteesa ne Yuda nga basuubiza okumuwa ente, n'okubayambanga mu ngeri nnyingi. 12Yuda n'alowooza nti bayinza okuba ab'omugaso mu bintu ebiwerako, n'akkiriza okuteesa nabo eby'eddembe. Bwe baamala okuwaanyisaganya omusingo gw'entegeeragana, ne baddayo mu weema zaabwe.
13Yalumbayo n'ekibuga ekirala ekigumu ekyali kikomeddwa n'ebikomera n'agasenge, nga musulamu ab'amawanga aba buli ngeri. Kyali kiyitibwa Kasupini. 14Abaali munda beesigula obugumu bwa bbugwe n'obungi bw'emmere etegekeddwa, ne beeyagalira ku Yuda ne basajja be. Baabakyokooza, ne boogera ebivuma Katonda, nga n'okuwemula kwe batadde. 15#Yos 6,2; Abeeb 11,30.Naye Yuda ne basajja be ne bakowoola Nnannyini Buyinza afuga ensi, oyo mu budde bwa Yoswa eyasiguukulula Yeriko nga talina byuma bibomola oba bikasuka nkonyogo; ne bafubutukira bbugwe n'obukambwe, 16ekigo ne bakiwangula nga Katonda abakwatiddeko, ne batta abantu abatayogerekeka bungi, ekidiba ekyali awo, obugazi bwakyo nga sitaadiyo bbiri,#12,16 Ye ½kilomita oba ¼ mayilo. kyafaanana okujjula ne kibooga omusaayi.
17 # 1 Bamak 5,37-44. Nga batambuddeko sitaadiyo lusanvu mu ataano#12,17 Ze kilomita 152 oba mayilo 95. okuva awo, ne batuuka e Karaka mu Bayudaaya abayitibwa Abatubiyani. 18Timotewo tebaamusanga mu kifo ekyo, kubanga wano yali avuddewo nga talina kinene ky'akozeeyo; kyokka waaliwo we yaleka enkambi ey'amaanyi. 19Dositewo ne Sosipateri, ababiri ku bagabe ba Makkabeewo, baafuluma ne batta bangi ku abo Timotewo be yali alese mu nkambi; baasukka mu mutwalo ogumu. 20Ye Makkabeewo yatereeza eggye mu bibinja, buli kibinja n'akissaako omuduumizi, n'ayanguwa alumbe Timotewo, eyali alina ab'ebigere akasiriivu kamu mu emitwalo ebiri n'abeebagazi enkumi bbiri mu bitaano. 21Timotewo bwe yamanya nga Yuda atuuse, n'asindika abakazi n'abaana n'entwala mu kifo ekiyitibwa Karunayimu. Ekifo ekyo tekyali kyangu kya kuzinda, kubanga obukubo obutuukayo nga bufunda. 22Ekibinja kya Yuda ekisooka bwe kyalabika, abalabe ne batya, encukwe n'ebakwata olw'okulabika kw'oyo Alaba Byonna, ne badduka kiwalazima, buli omu ng'akwata ly'asanze; bangi ne bafumitagana, ne bafumitibwa amafumu gaabwe gennyini. 23Yuda n'afuba okubawondera n'amaanyi gonna, n'atta aboonoonyi bano, n'azikiriza n'ekitala abasajja emitwalo esatu. 24Timotewo yennyini yagwa mu ngalo za Dositewo ne Sosipateri ne basajja baabwe; ye n'abadyekadyeka ng'ayagala bamute agende nga mulamu, kubanga yalina abazadde b'abamu ku bo bangi n'ab'eŋŋanda z'abamu, nga bakyayinza okukolebwa akabi. 25Oluvannyuma lw'okwogerera ebbanga, yabakkirizisa nti yali wa kutuukiriza kye yali asuubizizza, ate abantu abo nga balamu tebaliiko kabi, olwo ne bamuleka agende olw'okubeera baganda baabwe.
Obuwanguzi bwa Yuda obulala
26Yuda n'afuluma n'alumba Karunayimu n'ekiggwa kya Atarugateyo, n'attayo abantu emitwalo ebiri mu enkumi ttaano. 27Bwe yamala okufufuggaza bano n'okubazikiriza, eggye n'alitwala okulumba Efuroni, ekibuga okwali ekigo, Lisiya mwe yabeeranga, omwali nnamungi w'abantu ab'amawanga agatali gamu. Abavubuka ab'amaanyi bajja ku kigo okukitaasa, ne balwana bwezizingirire; mu kibuga ekyo mwalimu ebyokulwanyisa nfaafa n'ebyokulasa. 28Naye Abayudaaya bwe baakoowoola Nnannyini Buyinza amenyaamenya amaanyi g'abalabe, ne bakwata ekibuga, ate mu abo abaakirimu ne battamu abagobereza mu mitwalo ebiri mu enkumi ettaano.
29Bwe baava eyo, ne balaga mangu e Sicitopoli, ekyesuubye Yeruzaalemu sitaadiyo lukaaga.#12,29 Ze kilomita 120 oba mayilo 75. 30Naye Abayudaaya abaali eyo bwe baakakasa nti Abasicita baabayisa bulungi, baabalaga n'ekisa mu bbanga ezzibu, 31ne babeebaza, ne babakubiriza okwongera okukwatirwa ekisa eggwanga eryo. Olwo ne bajja e Yeruzaalemu ng'embaga ey'Ensiisira eri kumpi.
32Oluvannyuma lw'olunaku olukulu olwa Pentekooti, ne balumba bunnambiro Gorigiya owessaza mu Yidumeya. 33Ono yabaŋŋanga n'ab'ebigere enkumi ssatu n'abeebagazi ebikumi bina. 34Bwe baakwatagana, batonotono mu Bayudaaya ne bafa. 35Naye omusajja omu Dositewo, omu ku basajja ba Bacenoro, eyali ku mbalaasi, omusajja kirimaanyi, yakwata n'anyweza Gorigiya; yabaka omunagiro gwe n'amuwalaawala lw'amaanyi, ng'ayagala omuvumirire ono amutwale nga mulamu. Naye omwebagazi omu mu b'e Turako n'amulumba, n'amutemako omukono ku kibegabega, Gorigiya naddukira e Marisa. 36Abasajja abaali ne Esiduri nga balwanidde ekiseera, ne bakoowa. Yuda n'akoowoola Omukama yeeyoleke bw'ali omuyambi waabwe era omugabe mu lutalo. 37Ng'aleekaana mu lulimi lwa bajjajjaabe, yakuba enduulu ey'olutalo, n'ayimba, olwo n'afubutukira abasajja ba Gorigiya nga tebeetegese, n'abafuumuula emisinde.
Okuddaabiriza olw'abattibwa
38Yuda yakuŋŋaanya eggye n'ajja mu kibuga Adullamu. Olunaku olwomusanvu bwe lwatuuka, ne beetukuza ng'empisa bwe yali, ne bakuliza awo Sabbaato. 39Enkeera, nga bwe yali ensonga enkulu, Yuda ne basajja be baagenda okuggyayo emirambo gy'abattibwa, babaziike mu ntaana za bajjajjaabwe. 40Mu buli kkanzu yaabo abattibwa baasangamu ensiriba za balubaale b'e Yamuniya, Etteeka ze lyali ligaana Abayudaaya okwambala. Bonna baategeera butegeezi nti ekyo kye kyabassa. 41Bonna ne bagulumiza amakubo g'Omukama Omulamuzi omutuukirivu ayerula ebibadde bikisiddwa; 42ne badda mu kwegayirira nga basaba ekyo ekibi ekyakolebwa kisangulibwewo ddala kyonna. Yuda oweekitiibwa n'akubiriza abantu beekuume ekibi, anti nga baali beerabiddeko n'agaabwe ebyali biguddewo olw'ekibi ky'abo abaafa. 43#Abal 4,2-35.Buli muntu yamusoloozaako ssente, n'akuŋŋaanya omugatte gwa durakima enkumi bbiri eza ffeeza,#12,43 Ze kiloguraamu 8,500 eza ffeeza. n'aziweereza e Yeruzaalemu waweerezebweyo ekitambiro olw'ekibi; mu kukola kino yakola ekintu kirungi era eky'ekitiibwa, ng'afaayo ku kuzuukira. 44Taba kulowooza nti abafiiridde mu lutalo balizuukira, okusabira abafu tekyandigasizza era kyandibadde kya busiru. 45Naye olw'okulowooza ku mpeera amakula erindiridde abo abafiira mu bujjumbize bw'eddiini, kye yakola kyali kirowoozo kituukirivu era eky'ekitiibwa. Awo nno yagenderera kuddaabiriza lwa bafu baggyibweko ekibi kyabwe.
Abasiriya bazinda Buyudaaya; Menelawo attibwa

Currently Selected:

2 Bamak 12: BIBU1

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in