YouVersion Logo
Search Icon

Zekkaliya 11

11
1 # Is 2:2,13 Ggulawo enzigi zo, ggwe Lebanooni, omuliro gwokye emivule gyo. 2Kuba ebiwoobe, ggwe omuberoosi, kubanga omuvule gugudde, kubanga emiti emirungi ennyo gyonoonese: mukube ebiwoobe mmwe emyera gya Basani, kubanga ekibira ekitatuukikako kigudde. 3#Yer 25:34Eddoboozi ery'ebiwoobe eby'abasumba! kubanga obulungi bwabwe bwonoonese: eddoboozi ery'okuwuluguma kw'empologoma ento! kubanga amalala ga Yoludaani goonoonese. 4Bw'ati bwe yayogera Mukama Katonda wange nti Liisa ekisibo eky'okuttibwa; 5#Ez 34:3, Kos 12:8bannyini zo be bazitta ne beeyita abatazzizza musango; n'abo abazitunda bagamba nti Atenderezebwe Mukama, kubanga ngaggawadde: so abasumba baazo zennyini tebazisaasira. 6#Yer 13:14Kubanga sirisaasira nate abo ababeera mu nsi, bw'ayogera Mukama: naye, laba, ndiwaayo abantu buli muntu mu mukono gwa munne ne mu mukono gwa kabaka we: nabo balibonyaabonya ensi, so siribalokola mu mukono gwabwe. 7Awo ne ndiisa ekisibo eky'okuttibwa, weewaawo, ennafu ez'omu kisibo. Ne nneetwalira emiggo ebiri; ogumu ne ngutuuma nti Ekisanyukirwa; omulala ne ngutuuma nti Ebisiba; ne ndiisa ekisibo. 8Ne nziyawo abasumba abasatu mu mwezi ogumu; kubanga emmeeme yange baali bagikooyezza, n'emmeeme yaabwe nayo n'entamwa nze. 9#Yer 15:2Awo ne njogera nti Siribaliisa; ekifa kife bufi; ekigenda okuggibwawo, kiggibwewo; ebisigalawo biryaŋŋane ekimu omubiri gwa kinnaakyo. 10Ne ntwala omuggo gwange Ekisanyukirwa ne ngusala wakati ndyoke ndibye endagaano yange gye nnalagaana n'amawanga gonna. 11Ne gumenyeka ku lunaku olwo: bwe kityo abanaku ab'omu kisibo abaali bampulira ne bategeera nga kino kye kigambo kya Mukama. 12#Kuv 21:32, Mat 26:15; 27:9,10Ne mbagamba nti Oba kirungi mu maaso gammwe, mumpe empeera yange; naye oba si kirungi, mulekeeyo. Awo ne bagera okuba empeera yange ebitundu asatu eby'effeeza. 13Mukama n'aŋŋamba nti Bisuulire omubumbi, omuwendo ogutuukidde ddala gwe bannamula. Ne ntwala ebitundu asatu ebya ffeeza ne mbisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama. 14Awo ne nsala wakati omuggo gwange ogw'okubiri Ebisiba, ndibye oluganda eri Yuda ne Isiraeri.
15Awo Mukama n'aŋŋamba nti Weetwalire nate ebintu eby'omusumba omusirusiru. 16#Ez 34:3,4, Yok 10:13Kubanga, laba, nze ndiyimusa omusumba mu nsi, atalizifaako ziri ezibuze, so talinoonya ziri ezisaasaanye, so taliwonya ziri ezimenyese, so taliriisa ziri eziyimirira, naye ennyama y'ezo eza ssava aligirya, era alityemulatyemula ebinuulo byazo. 17#Yer 23:1, Yok 10:12Zimusanze omusumba ataliiko ky'agasa aleka ekisibo! ekitala kiriba ku mukono gwe ne ku liiso lye erya ddyo; omukono gwe gulikalira, n'eriiso lye erya ddyo lirizibira ddala.

Currently Selected:

Zekkaliya 11: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in