YouVersion Logo
Search Icon

Zekkaliya 10

10
1 # Ma 11:14, Zab 135:7, Yer 14:22, Ez 34:26 Musabe Mukama enkuba mu biro ebya ddumbi, Mukama akola ebimyansa; naye alibawa empandaggirize, buli muntu omuddo mu ttale. 2#Lub 31:19, Yer 23:25, Ez 34:5,6, Kaab 2:18Kubanga amayembe googedde ebitaliimu n'abalaguzi balabye obulimba; ne boogera ebirooto eby'obulimba, ne basanyusiza bwereere; kyebava bazuŋŋana ng'endiga, babonaabona kubanga tewali musumba. 3#Ez 34:10,17Obusungu bwange buyimuse ku basumba, era ndibonereza embuzi ennume; kubanga Mukama w'eggye akyalidde ekisibo kye, ye nnyumba ya Yuda, era alibafuula ng'embalaasi ye ennungi ku lutalo. 4#Zab 118:22, Is 22:23Eri ye erivaayo ejjinja ery'okunsonda, era eri ye enninga, era eri ye buli mukamuzi waamu. 5Nabo baliba ng'abazira abalinnyirira abalabe baabwe mu bitoomi eby'omu nguudo ku lutalo; nabo balirwana kubanga Mukama ali wamu nabo: n'abo abeebagala embalaasi baliswala. 6#Is 14:1Nange ndiwa amaanyi ennyumba ya Yusufu, nange ndibakomyawo kubanga mbasaasidde; nabo baliba nga bwe bandibadde singa saabagoba; kubanga nze Mukama Katonda waabwe, nange ndibawulira. 7N'aba Efulayimu balibeera ng'omuzira, n'omutima gwabwe gulisanyuka ng'asanyukira omwenge: weewaawo, abaana baabwe balikiraba balisanyuka; omutima gwabwe gulisanyukira Mukama. 8#Is 5:26, Yer 31:11, Ez 36:10,11Ndibayitiriza ndibakuŋŋaanya; kubanga mbanunudde; era balyala nga bwe baayala. 9#Ma 30:1-3, Ez 6:9Nange ndibasiga mu mawanga, era balinjijukira nga bayima mu nsi ez'ewala; era baliba balamu n'abaana baabwe, era balikomawo. 10#Is 1:11; 49:20, Kos 11:11, Mi 7:14Nange ndibaggya mu nsi ya Misiri, ndibakuŋŋaanya nga mbaggya mu Bwasuli; era ndibatuusa mu nsi ya Gireyaadi ne Lebanooni; so tewalibalabikira bbanga. 11#Is 11:15, Ez 30:13Naye aliyita mu nnyanja ey'okubonaabona, alikuba amayengo mu nnyanja, n'obuziba bwonna obwa Kiyira bulikalira; n'ekyejo eky'Obwasuli kirikkakkanyizibwa, n'omuggo gwa kabaka w'e Misiri gulimuggibwako. 12#Mi 4:5Nange ndibassaamu amaanyi mu Mukama; nabo balitambulatambula mu linnya lye; bw'ayogera Mukama.

Currently Selected:

Zekkaliya 10: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in