Zekkaliya 12
12
1 #
Is 42:5; 48:13 Omugugu ogw'ekigambo kya Mukama oguli ku Isiraeri. Ayogera Mukama abamba eggulu, era assaawo emisingi gy'ensi, era abumba omwoyo gw'omuntu munda ye, 2#Is 51:17,22,23, Zek 14:14nti Laba, nze ndifuula Yerusaalemi ekikompe eky'okutagatta, eri amawanga gonna enjuyi zonna, era eriba n'eri Yuda bwe bazingiza Yerusaalemi. 3#Zek 14:2, Mat 21:44Awo olulituuka ku lunaku luli ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna; bonna abaliryebinika balifumitibwa nnyo ebiwundu; era amawanga gonna ag'ensi galikuŋŋaana okukirwanyisa. 4#Ma 28:28, Zab 76:6, Ez 36:25Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndisamaaliriza buli mbalaasi, n'oyo agyebagadde ndimulalusa: ndizibula amaaso gange ku nnyumba ya Yuda, era ndiziba amaaso ga buli mbalaasi y'amawanga. 5N'abaami ba Yuda balyogera mu mutima gwabwe nti Abali mu Yerusaalemi ge maanyi gange mu Mukama w'eggye Katonda waabwe. 6#Yer 5:14, Zek 2:4; 14:10,11Ku lunaku luli ndifuula abaami ba Yuda ng'olubumbiro oluliko omuliro oluli mu nku, era ng'omumuli ogw'omuliro oguli mu binywa by'eŋŋaano; nabo balimalawo amawanga gonna enjuyi zonna, ku mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono: oliboolyawo Yerusaalemi kiribaawo nate mu kifo kyakyo, mu Yerusaalemi. 7Era Mukama alisooka okulokola eweema za Yuda, ekitiibwa ky'ennyumba ya Dawudi n'ekitiibwa ky'abo abali mu Yerusaalemi kireme okugulumira okusinga Yuda. 8#2 Sam 19:27Ku lunaku luli Mukama alizibira abali mu Yerusaalemi; aliba omunafu ku bo ku lunaku luli alibeera nga Dawudi; era ennyumba ya Dawudi eriba nga Katonda, nga malayika wa Mukama ali mu maaso gaabwe. 9#Zek 14:3Awo olulituuka ku lunaku luli ndinoonya okuzikiriza amawanga gonna agatabaala Yerusaalemi. 10#Yer 6:26; 31:9; 50:4, Yok 19:37, Kub 1:7Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi ne ku abo abali mu Yerusaalemi omwoyo ogw'ekisa n'ogw'okwegayirira; era balitunuulira nze gwe baafumita: era balimukubira ebiwoobe ng'omuntu bw'akubira ebiwoobe omwana we omu yekka, era balimulumirwa omwoyo ng'omuntu bw'alumirwa omwana we omubereberye. 11#2 Byom 35:22,24Ku lunaku luli balikuba ebiwoobe bingi mu Yerusaalemi ng'ebiwoobe ebya Kadadulimmoni mu kiwonvu Megiddoni. 12#2 Sam 5:14, Zek 7:3, Luk 3:31Era ensi erikuba ebiwoobe, buli kika kyokka; ekika eky'ennyumba ya Dawudi, kyokka; ne bakazi baabwe bokka; ekika eky'ennyumba ya Nasani kyokka, ne bakazi baabwe bokka; 13#Kubal 3:18ekika eky'ennyumba ya Leevi kyokka, ne bakazi baabwe bokka; ekika eky'Abasimeeyi kyokka, ne bakazi baabwe bokka; 14ebika byonna ebisigalawo, buli kika kyokka, ne bakazi baabwe bokka.
Currently Selected:
Zekkaliya 12: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.