YouVersion Logo
Search Icon

Zekkaliya 9

9
1Omugugu gw'ekigambo kya Mukama ku nsi ya Kadulaki, ne Ddamasiko kiriba kiwummulo kyagwo; kubanga eriiso ly'abantu n'ery'ebika byonna ebya Isiraeri liri eri Mukama; 2#Ez 28:3-5era ne Kamasi ekiriraanye nakyo: Ttuulo ne Sidoni, kubanga kya magezi mangi nnyo. 3Ne Ttuulo kyezimbira ekigo ne kituuma ffeeza ng'enfuufu n'ezaabu ennungi ng'ebitoomi eby'omu nguudo. 4#Ez 26:17; 28:18Laba, Mukama alikigoba mu byakyo, alikuba amaanyi gaakyo ku nnyanja; era kiryokebwa omuliro. 5#Zef 2:4Asukulooni kiriraba kiritya; era ne Gaza, nakyo kirirumwa nnyo; ne Ekuloni, kubanga okusuubira kwakyo kuliswala; ne kabaka alibula mu Gaza, era ne Asukulooni tekiribaamu bantu. 6Omwana omwebolereze alibeera mu Asudodi, era Abafirisuuti ndibaloga amalala. 7#Leev 3:17, Is 14:1; 66:17, Zek 12:5Era ndiggyamu omusaayi mu kamwa ke n'emizizo gye wakati w'amannyo ge; naye anaabanga kitundu ekirisigalawo eri Katonda waffe; naye anaabeeranga ng'omukungu mu Yuda, ne Ekuloni nga Omuyebusi. 8#Zek 10:4; 12:4Nange naasiisiranga awali ennyumba yange mu maaso g'eggye, omuntu alemenga okuyitawo newakubadde okuddayo; so tewaabenga mujoozi nate aliyita wakati mu bo; kubanga kaakano ndabye n'amaaso gange. 9#Yer 23:5, Mat 11:29; 21:5Sanyuka nnyo, ggwe omuwala wa Sayuuni: yogerera waggulu, ggwe omuwala wa Yerusaalemi; laba, kabaka wo ajja gy'oli; ye mutuukirivu era alina obulokozi; muwombeefu era nga yeebagadde endogoyi, n'akayana omwana gw'endogoyi. 10#Zab 72:8, Kos 1:7, Mi 5:5,10Era Efulayimu ndimuggyako eggaali, ne Yerusaalemi ndikiggyako embalaasi, n'omutego ogw'olutalo guliggibwako; era oyo aligabulira amawanga emirembe; n'okufuga kwe kuliva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, era kuliva ku Mugga okutuuka ku nkomerero z'ensi. 11#Lub 37:24, Kuv 24:8, Is 42:7; 51:14Era naawe, olw'omusaayi ogw'endagaano yo, nziyeemu abasibe bo mu bunnya omutali mazzi. 12#Is 61:7Mukyukire ekigo, mmwe abasibe abalina essuubi; ku lunaku lwa leero mbuulira nti ndikuddiza emirundi ebiri. 13#Ez 27:13Kubanga nneewetedde Yuda: omutego ngujjuzizza Efulayimu; nange ndiyina abaana bo, ggwe Sayuuni, n'abaana bo, ggwe Obuyonaani, era ndikufuula ng'ekitala eky'omuzira. 14#Zab 18:14, Is 21:1Era Mukama alirabika waggulu gye bali, n'akasaale ke kalivaayo ng'enjota; era Mukama Katonda alifuuwa akagombe, era aligenda ne kikuŋŋunta ow'obukiika obwa ddyo. 15#Leev 4:18Mukama w'eggye alibazibira; nabo balirya balirinnya ku mayinja ag'envuumuulo; balinywa balikaayana ng'ab'omwenge; era balijjula ng'ebibya, ng'ensonda ez'ekyoto. 16#Is 62:3Era Mukama Katonda waabwe alibalokola ku lunaku luli ng'ekisibo ky'abantu be; kuba baliba ng'amayinja ag'engule, agayimusibwa waggulu ku nsi ye. 17#Is 62:8,9, Yer 31:12Kubanga obulungi bwe so nga bungi, okuwooma kwe so nga kungi! Eŋŋaano erinyiriza abavukuba, n'omwenge omusu gulinyiriza abawala.

Currently Selected:

Zekkaliya 9: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in