Zabbuli 96
96
1 #
Zab 33:3; 98:1 #
1 Byom 16:23-33
Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya:
Mumuyimbire Mukama, mmwe ensi zonna.
2 #
Is 52:7
Mumuyimbire Mukama, mwebaze erinnya lye:
Mwolesenga obulokozi bwe buli lunaku buli lunaku.
3Mubuulirenga ekitiibwa kye mu mawanga,
Eby'amagero bye mu bantu bonna.
4 #
Zab 48:1; 95:3 Kubanga Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo:
Agwana okutiibwanga okusinga bakatonda bonna.
5 #
Lub 1:1, Zab 115:4, Is 42:5, Yer 10:12, Kaab 2:18-20, Bik 19:26 Kubanga bakatonda bonna ab'amawanga bye bifaananyi:
Naye Mukama ye yakola eggulu.
6Ekitiibwa n'obukulu biri mu maaso ge:
Amaanyi n'obulungi biri mu watukuvu we.
7 #
Zab 22:27; 29:1,2; 114:7 Mumuwe Mukama, mmwe ebika eby'amawanga,
Mumuwe Mukama ekitiibwa n'amaanyi.
8Mumuwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye:
Muleete ssaddaaka, mujje mu mpya ze.
9Kale mumusinze Mukama mu bulungi obw'obutukuvu.
Mukankane mu maaso ge, mmwe ensi zonna.
10 #
Zab 9:8; 93:1 Mwogerere mu mawanga nti
Mukama afuga:
Era n'ensi enywera n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana:
Alisalira amawanga emisango egy'ensonga.
11 #
Zab 69:34; 97:1; 98:7 Eggulu lisanyuke, era n'ensi ejaguze;
Ennyanja ewuume, n'okujjula kwayo;
12 #
Is 35:1; 55:12 Ennimiro ejaguze, n'ebigirimu byonna;
Emiti gyonna egy'omu kibira ne giryoka giyimba olw'essanyu;
13Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja;
Kubanga ajja okusalira ensi emisango:
Alisalira ensi emisango egy'ensonga,
Aliramula amawanga n'amazima ge.
Currently Selected:
Zabbuli 96: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.