Zabbuli 97
97
1 #
Zab 93:1; 96:10,11 Mukama afuga; ensi esanyuke
Ebizinga bijaguze bwe byenkana obungi.
2 #
Kuv 19:9, Ma 4:11, Zab 18:11; 89:14 Ebire n'ekizikiza bimwetooloola:
Obutuukirivu n'omusango bye binyweza entebe ye.
3 #
Zab 21:9, Dan 7:10 Omuliro gumukulembera,
Gwokya abalabe be eruuyi n'eruuyi.
4 #
Zab 77:18
Enjota ze zaamulisa ensi:
Ensi n'eraba n'ekankana.
5 #
Mi 4:13, Nak 1:5 Ensozi z'asaanuuka ng'envumbo awali Mukama,
Awali Mukama w'ensi zonna.
6 #
Zab 50:6, Is 40:5 Eggulu libuulira obutuukirivu bwe,
N'amawanga gonna galabye ekitiibwa kye.
7 #
Zab 96:5, Is 42:17, Yer 10:14 Bakwatibwe ensonyi bonna abasinza ebifaananyi ebyole,
Abeenyumiriza olw'ebifaananyi:
Mumusinze ye, mmwe bakatonda mwenna.
8 #
Zab 48:11
Sayuuni yawulira n'asanyuka,
N'abawala ba Yuda ne bajaguza;
Olw'emisango gyo, ai Mukama.
9 #
Zab 83:18; 95:3 Kubanga ggwe, Mukama, oli waggulu nnyo ku nsi zonna:
Ogulumizibwa okusinga ennyo bakatonda bonna.
10 #
Zab 34:14, Nge 2:8; 8:13, Dan 3:28, Am 5:15, Bik 12:11, Bar 12:9 Kale mmwe abaagala Mukama,
mukyawe obubi:
Akuuma emmeeme z'abatukuvu be;
Abawonya mu mukono gw'omubi.
11 #
Zab 112:4, Nge 4:18 Omusana gwasigirwa omutuukirivu,
N'essanyu oyo alina omutima ogw'amazima.
12 #
Zab 30:4; 32:11 Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu
Era mwebaze erinnya lye ettukuvu.
Currently Selected:
Zabbuli 97: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.