YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 89

89
Masukiri ya Esani Omuzera.
1Naayimbanga ku kusaasira kwa Mukama ennaku zonna: N'akamwa kange naategeezanga ab'emirembe gyonna obwesigwa bwo.
2 # 89:2 Zab 36:5 Kubanga njogedde nti Okusaasira kunaanywezebwanga okutuusa emirembe n'emirembe;
Era ne mu ggulu onoosimbanga obwesigwa bwo.
3 # 1 Bassek 8:16, Zab 132:11 Ndagaanye endagaano n'abalonde bange,
Ndayiridde Dawudi omuddu wange;
4 # 2 Sam 7:8-16, 1 Bassek 9:5, Is 9:7, Yer 33:17, Ez 37:25, Luk 1:32,33, Yok 12:34 Ezzadde lyo naalinywezanga ennaku zonna,
N'entebe yo naagizimbiranga ddala emirembe gyonna. (Seera)
5 # Yob 5:1, Zab 19:1; 50:6 N'eggulu linaatenderezanga eby'amagero byo, ai Mukama;
Era n'obwesigwa bwo mu kkuŋŋaaniro ery'abatukuvu.
6 # Zab 29:1; 86:8, Is 40:18 Kubanga ani mu ggulu gwe bayinza okugeraageranya ne Mukama?
Ani ku baana b'abakulu ali nga Mukama,
7 # Zab 47:2; 103:20,21 Ye Katonda atiibwa ennyo mu lukiiko olw'abatukuvu,
Agwana okutiibwa okusinga bonna abamwetooloola?
8 # 1 Sam 2:2, Zab 35:10; 68:4 Ai Mukama Katonda ow'eggye,
Ani ow'amaanyi, afaanana nga ggwe, ai YA?
N'obwesigwa bwo bukwetooloola.
9 # Zab 65:7 Ggwe ofuga amalala g'ennyanja:
Amayengo gaayo bwe gagolokoka, ogateesa.
10 # Is 30:7 Wamenyaamenya Lakabu ng'omuntu attibwa;
Wasaasaanya abalabe bo n'omukono ogw'amaanyi go.
11 # Kub 1:1, Zab 24:1 Eggulu liryo, era n'ensi yiyo:
Ebintu byonna n'okujjula kwabyo wabiteekawo.
12 # Zab 98:8 Obukiika obwa kkono n'obwa ddyo wabutonda:
Taboli ne Kerumooni zisanyukira erinnya lyo.
13Olina omukono ogw'amaanyi:
Engalo zo za maanyi, n'omukono gwo ogwa ddyo gugulumizibwa.
14 # Zab 85:13; 97:2 Obutuukirivu n'omusango bye binyweza entebe yo:
Okusaasira n'amazima bikulembera amaaso go.
15Balina omukisa abantu abamanyi eddoboozi ery'essanyu:
Ai Mukama, batambulira mu musana gw'amaaso go.
16 # Zab 20:5,7 Basanyukira erinnya lyo okuzibya obudde;
Era bagulumizibwa mu butuukirivu bwo.
17 # Zab 75:10 Kubanga ggwe oli kitiibwa kya maanyi gaabwe:
N'olw'ekisa kyo ejjembe lyaffe linaagulumizibwanga.
18 # Zab 47:9; 71:22 Kubanga Mukama ye nannyini
ngabo yaffe;
Era Omutukuvu wa Isiraeri ye
nannyini kabaka waffe.
19Mu biro biri wagambira abatukuvu bo mu kwolesebwa,
N'oyogera nti Ntadde obuyambi ku muntu ow'amaanyi;
Ngulumizizza omuntu eyalondebwa mu bantu.
20 # 1 Sam 16:13, Bik 13:22 Ndabye Dawudi omuddu wange;
Mmufuseeko amafuta gange amatukuvu:
21Engalo zange zinaanywezebwanga gy'ali;
N'omukono gwange gunaamuwanga amaanyi.
22 # 2 Sam 7:9,10 Omulabe taamujoogenga:
Newakubadde omwana w'obubi taamubonyeebonyenga:
23Nange naasuulanga abanaalwananga naye mu maaso ge,
Era naakubanga abanaamukyawanga.
24 # Zab 89:1 Naye obwesigwa bwange n'okusaasira kwange binaabanga naye;
Ne mu linnya lyange ejjembe lye linaagulumizibwanga.
25 # Zab 72:8 Era naateekanga omukono gwe ku nnyanja,
N'omukono gwe ogwa ddyo ku migga.
26 # 2 Sam 7:14, 1 Byom 22:10 Anankaabiranga nti Ggwe kitange,
Katonda wange, era ejjinja ery'obulokozi bwange.
27 # Kuv 4:22, Zab 2:7, Bar 8:29, Beb 1:5, Kub 1:5 Era ndimufuula omubereberye wange,
Asinga bakabaka ab'ensi.
28 # Zab 89:3 Naamuterekeranga okusaasira kwange emirembe n'emirembe,
N'endagaano yange eneenyweranga gy'ali.
29 # Ma 11:21, Zab 89:4 Era naawangaazanga ezzadde lye emirembe gyonna,
N'entebe ye ng'ennaku ez'eggulu.
30 # 2 Sam 7:14, Yer 9:13 Abaana be bwe banaalekanga
amateeka gange,
Ne batatambuliranga mu misango gyange;
31Bwe banaanyoomanga ebiragiro byange,
Ne batakwatanga mateeka gange;
32Nange najjiranga okwonoona kwabwe n'omuggo,
N'obutali butuukirivu bwabwe n'okukuba.
33Naye siimuggirengako ddala kusaasira kwange,
So siiganyenga bwesigwa bwange okuweebuuka.
34Siimenyenga ndagaano yange,
Sijjululenga kigambo ekyava mu mimwa gyange.
35 # Am 4:2, Beb 6:17,18 Omulundi gumu nalayira obutuukirivu bwange;
Siimulimbenga Dawudi.
36 # Zab 72:5; 89:4 Ezzadde lye linaabeereranga emirembe gyonna,
N'entebe ye ng'enjuba mu maaso gange.
37 # Yer 31:35,36 Eneenywezebwanga ennaku zonna ng'omwezi,
Era ng'omujulirwa omwesigwa mu ggulu. (Seera)
38 # Zab 44:9 Naye wasuula n'ogoba
N'osunguwalira oyo gwe wafukako amafuta.
39 # Zab 74:7, Kung 5:16 Wakyawa endagaano ey'omuddu wo.
Wanyooma engule ye n'ogisuula wansi.
40 # Zab 44:13; 80:12 Wamenyaamenya enkomera ze zonna;
Wayabya ebigo bye.
41Bonna abayita mu kkubo bamunyaga:
Afuuse ekivume eri baliraanwa be.
42Ogulumizizza omukono ogwa ddyo ogw'abalabe be;
Osanyusizza abamukyaye bonna.
43Weewaawo, okyamizza obwogi bw'ekitala kye,
So tomuyimirizizza mu lutalo.
44Omazeewo okumasamasa kwe,
N'osuulira ddala entebe ye wansi.
45 # Zab 102:23; 109:29 Osaze ku nnaku ez'obuvubuka bwe:
Omubisseeko ensonyi. (Seera)
46 # Zab 13:1 Olituusa wa, ai Mukama, okwekwekanga ennaku zonna?
Obusungu bwo bulituusa wa okubuubuukanga ng'omuliro?
47Ojjukire, nkwegayiridde, ekiseera kyange bwe kiri ekitono:
Abaana b'abantu bonna nga wabatondera ebitaliimu!
48 # Zab 49:9, Beb 11:5 Omuntu aluwa aliba omulamu ataliraba kufa,
Alyewonya emmeeme ye mu buyinza bw'amagombe? (Seera)
49Mukama, okusaasira kwo okw'edda kuli luuyi wa,
Kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo?
50 # Zab 74:18,22; 79:12 Jjukira, Mukama, abaddu bo bwe bavumibwa;
Bwe nsitula mu kifuba kyange ekivume eky'amawanga gonna ag'amaanyi;
51Abalabe bo kye bavuma, ai Mukama,
Kye bavuma ebigere by'oyo gwe wafukako amafuta.
52 # Zab 41:13 Mukama yeebazibwenga emirembe n'emirembe.
Amiina, era Amiina.

Currently Selected:

Zabbuli 89: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in