Zabbuli 88
88
Oluyimba, zabbuli ya batabani ba Koola; ya mukulu w'abayimbi; ey'ekimakalasu-Leyanosi. Masukiri ya Kemani Omuzera.
1 #
Zab 22:2; 24:5, Luk 18:7 Ai Mukama, Katonda ow'obulokozi bwange,
Naakaabiranga emisana n'ekiro mu maaso go:
2Okusaba kwange kuyingire w'oli;
Otege okutu kwo eri okukaaba kwange:
3 #
Zab 107:18
Kubanga emmeeme yange ejjudde ennaku,
N'obulamu bwange busemberera emagombe.
4 #
Zab 28:1
Bambalira wamu n'abo abakka mu bunnya;
Nninga omuntu atalina mubeezi:
5 #
Zab 31:12
Asuulibwa mu bafu,
Ali ng'abattibwa abagalamira mu ntaana,
B'otojjukira nate;
Era bayawukana n'omukono gwo.
6 #
Zab 143:3; 42:7 Ontadde mu bunnya obuli wansi ennyo,
Mu bifo eby'enzikiza, mu buziba.
7Obusungu bwo bunyigiriza nnyo,
Era ombonyabonyezza n'amayengo go gonna. (Seera)
8 #
Yob 19:13; 30:10, Yer 32:2 Onjawukanyirizza wala n'abo be mmanyi;
Onfudde ekitama eri abo:
Nsibiddwa, so siyinza kuvaamu.
9 #
Yob 11:13, Zab 6:7 Eriiso lyange likulukuse olw'okunakuwala:
Nkukaabira buli lunaku, ai Mukama,
Ntega engalo zange eri ggwe.
10 #
Zab 6:5
Oliraga abafu eby'amagero?
Abaafa baligolokoka balikutendereza?
11Ekisa kyo kiribuulirirwa mu magombe?
N'obwesigwa bwo mu kuzikirira?
12 #
Yob 10:21, Mub 9:5 Eby'amagero byo birimanyirwa mu kizikiza?
N'obutuukirivu bwo mu nsi ey'okwerabira?
13 #
Zab 5:3
Naye ggwe, ai Mukama, gwe nkaabira,
Era buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga mu maaso go.
14 #
Yob 13:24
Mukama, kiki ekikusuuza
emmeeme yange?
Kiki ekikunkwesa amaaso go?
15 #
Yob 6:4; 9:34 Mbonyaabonyezebwa, nfaanana okufa okuva mu buto bwange:
Entiisa zo bwe zimbaako, ne nneeraliikirira nnyo.
16Obusungu bwo obukambwe buntuuseeko;
Entiisa zo zinzingizizza.
17 #
Zab 118:10
Banneetooloola ng'amazzi okuzibya obudde;
Bantaayiza eruuyi n'eruuyi wamu.
18 #
Yob 19:13,14 Abanjagala ne mikwano gyange obaawukanyizza wala nange,
N'abo be mmanyi mu kizikiza.
Currently Selected:
Zabbuli 88: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.