YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 85

85
1Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya batabani ba Koola.
# Zab 14:7 Mukama, watunuulira ensi yo n'ekisa;
Wazza obusibe bwa Yakobo.
2 # Zab 32:1; 78:38, Yon 3:9 Wasonyiwa obutali butuukirivu obw'abantu bo,
Wabikka ku kibi kyabwe kyonna. (Seera)
3Waggyawo obusungu bwo bwonna:
Wakyuka n'oleka ekiruyi kyo ekikambwe.
4 # Zab 80:3 Otukyuse, ai Katonda ow'obulokozi bwaffe.
Era okunyiiga kwo kuggweewo eri ffe.
5 # Zab 79:5 Onootusunguwaliranga ennaku zonna?
Onootuusanga obusungu bwo emirembe gyonna?
6 # Zab 71:20; 90:14 Tolituzuukiza nate,
Abantu bo bakusanyukirenga ggwe?
7Otulage okusaasira kwo, ai Mukama,
Otuwe obulokozi bwo.
8 # Kaab 2:1, Zek 9:10, 2 Peet 2:21 Ka mpulire Katonda Mukama by'anaayogera:
Kubanga anaabuulira abantu be
emirembe, n'abatukuvu be:
Naye baleme okukyama nate mu busirusiru.
9 # Is 46:13, Zek 2:5 Mazima obulokozi bwe buba kumpi abo abamutya;
Ekitiibwa kiryoke kituulenga mu nsi yaffe.
10 # Zab 72:3; 89:14, Is 32:17, Mi 7:20 Okusaasira n'amazima birabaganye;
Obutuukirivu n'emirembe binywegeraganye.
11 # Is 45:8 Amazima galose mu ttaka;
N'obutuukirivu butunudde ku nsi nga buyima mu ggulu.
12 # Zab 67:6; 84:11, Yak 1:17 Weewaawo, Mukama anaagabanga ebirungi;
N'ensi yaffe eneereetanga ekyengera kyayo.
13 # Is 58:8 Obutuukirivu bunaamukulemberanga;
Era bunaakubiranga ebigere bye ekkubo.

Currently Selected:

Zabbuli 85: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 85