Zabbuli 86
86
Okusaba kwa Dawudi.
1 #
Zab 31:2; 40:17 Otege okutu kwo, ai Mukama, onziremu;
Kubanga nze ndi mwavu, sirina bintu.
2Okuume emmeeme yange; kubanga nze ntya Katonda:
Ai ggwe Katonda wange, olokole omuddu wo akwesiga.
3 #
Zab 56:1; 57:1 Onsaasire, ai Mukama;
Kubanga nkukoowoola ggwe okuzibya obudde.
4 #
Zab 25:1
Osanyuse emmeeme y'omuddu wo;
Kubanga nnyimusa emmeeme
yange eri ggwe, ai Mukama.
5 #
Kubal 14:18, Zab 130:4,8 Kubanga ggwe, Mukama, oli mulungi, oyanguwa okusonyiwa,
Era ojjula ekisa eri abo bonna abakukoowoola.
6 #
Zab 55:1
Otege okutu, ai Mukama, eri
okusaba kwange;
Owulire eddoboozi ery'okwegayirira kwange.
7 #
Zab 17:6; 77:2 Ku lunaku olw'okunakuwala kwange ndikukoowoola;
Kubanga olinziramu.
8 #
Kuv 15:11, Ma 3:24, 1 Sam 2:2, Zab 35:10 Tewali afaanana nga ggwe mu bakatonda, ai Mukama;
So tewali bikolwa ebiri ng'ebibyo.
9 #
Zab 66:4, Is 66:23, Kub 15:4 Amawanga gonna ge wakola galijja, galisinza mu maaso go, ai Mukama;
Era galigulumiza erinnya lyo.
10 #
Ma 6:4, Zab 72:18, Is 37:16, 1 Kol 8:4, Bef 4:6 Kubanga ggwe mukulu, era okola eby'ekitalo:
Ggwe Katonda wekka.
11 #
Zab 25:4; 26:3 Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama; naatambuliranga mu mazima go:
Ogatte wamu omutima gwange gutye erinnya lyo.
12Naakutenderezanga, ai Mukama Katonda wange, n'omutima gwange gwonna;
Era naagulumizanga erinnya lyo
emirembe gyonna.
13 #
Zab 30:3; 56:13 Kubanga okusaasira kwo kungi gye ndi;
Era wawonya emmeeme yange
mu bunnya obuli wansi ennyo.
14 #
Zab 54:3
Ai Katonda, ab'amalala bangolokokeddeko,
N'ekibiina eky'abatemu banoonyezza emmeeme yange,
So tebakutadde ggwe mu maaso gaabwe.
15 #
Kuv 34:6, Nek 9:17, Zab 103:8; 111:4; 145:8, Yo 2:13, Yon 4:2 Naye ggwe, ai Mukama, oli Katonda ajjula okusaasira, ow'ekisa,
Alwawo okusunguwala, alina okusaasira n'amazima amangi.
16 #
Zab 25:16; 116:16 Onkyukire, onsaasire;
Owe omuddu wo amaanyi go,
Olokole omwana w'omuzaana wo.
17 #
Balam 6:17
Ondage akabonero olw'obulungi;
Abankyaye bakalabe bakwatibwe ensonyi.
Kubanga ggwe, ai Mukama, onnyambye, era onsanyusizza.
Currently Selected:
Zabbuli 86: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.