YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 83

83
Oluyimba, zabbuli ya Asafu.
1 # Zab 28:1 Ai Katonda, tosirika nate.
Toleka kwogera, so tobeererawo, ai Katonda.
2 # Balam 8:28, Zab 2:1 Kubanga, laba, abalabe bo bayoogaana:
N'abo abakukyawa bayimusizza omutwe.
3 # Nek 4:8, Zab 27:5 Basala enkwe ku bantu bo,
Bateesa wamu obubi ku bantu bo abakweke.
4 # Es 3:6, Zab 74:8, Yer 48:2 Boogedde nti Mujje tubazikirize balemenga okuba eggwanga;
Erinnya lya Isiraeri liremenga okujjukirwa nate.
5Kubanga bateesezza wamu n'omwoyo gumu;
Balagaana endagaano ku ggwe:
6 # Lub 25:12-16, 2 Byom 20:10 Eweema za Edomu n'ez'Abaisimaeri;
Mowaabu, n'Abakagale;
7 # 1 Sam 4:1; 15:12 Gebali, ne Amoni, ne Amaleki;
Firisutiya awamu n'abo abatuula mu Ttuulo:
8 # Ma 2:9,19, 2 Bassek 15:19 Era n'Obwasuli bwe gasse nabo;
Bayambye abaana ba Lutti. (Seera)
9 # Kubal 31:7, Balam 4:7,15; 5:21, Is 9:4 Obakole nga bwe wakola Midiyaani;
Nga Sisera, nga Yabini, ku mugga Kisoni;
10Abaazikiririra e Endoli;
Ne bafuuka ng'obusa ku ttaka.
11 # Balam 7:25; 8:5,21 Abakungu baabwe obafaananye
nga Olebu ne Zeebu;
Weewaawo, abalangira baabwe
bonna nga Zeba ne Zalumunna:
12 # 2 Byom 20:11 Abaayogera nti Twetwalire fekka
Ennyumba za Katonda tuzirye.
13 # Yob 21:18, Is 17:13, Zab 59:5 Ai Katonda wange, obafuule ng'enfuufu ey'akazimu;
Ng'ebisasiro empewo bye zitwala.
14 # Ma 32:22, Is 9:18 Ng'omuliro ogwokya ekibira,
Era ng'ennimi z'omuliro ezookya ensozi;
15 # Yob 9:17 Obayigganye bw'otyo ne kibuyaga wo,
Era obatiise n'empewo zo.
16 # Zab 35:4,26 Jjuza amaaso gaabwe okweraliikirira;
Banoonyenga erinnya lyo, ai Mukama.
17Bakwatibwenga ensonyi,
batyenga ennaku zonna;
Weewaawo, beeraliikirirenga bazikirirenga:
18 # Kuv 6:3, Zab 59:13; 97:9 Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka, erinnya lyo YAKUWA,
Oli waggulu nnyo ng'ofuga ensi yonna.

Currently Selected:

Zabbuli 83: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 83