YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 82

82
1Zabbuli ya Asafu.
# Yos 22:16,17, Mub 5:8 Katonda ayimirira mu kibiina kya Katonda;
Asala emisango mu bakatonda.
2 # Ma 1:17, Nge 18:5 Mulituusa wa okusalanga emisango egitali gya nsonga,
N'okusalirizanga ababi? (Seera)
3 # Zab 10:18, Yer 22:3 Musalirenga emisango omwavu n'oyo atalina kitaawe:
Mugattenga oyo ali mu nnaku n'atalina bintu.
4 # Yob 29:12, Nge 24:11 Muwonyenga omwavu n'oyo eyeetaaga:
Mubalokolenga mu mukono gw'omubi.
5 # Zab 11:3; 14:4, Nge 2:13 Tebamanya so tebategeera;
Batambulatambula mu kizikiza:
Emisingi gyonna egy'ensi gisagaasagana.
6 # Yok 10:34 Nayogera nti Muli bakatonda,
Era mwenna muli baana b'oyo ali waggulu ennyo.
7 # Yob 21:32, Ez 28:2-10 Era naye munaafanga ng'abantu,
Era munaagwanga ng'omu ku balangira.
8 # Zab 2:8; 12:5, Kub 11:15 Golokoka, ai Katonda, osalire ensi omusango:
Kubanga olisikira amawanga gonna.

Currently Selected:

Zabbuli 82: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in