YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 73

73
EKITABO 3
Zabbuli ya Asafu
1 # Zab 24:4 Mazima Katonda wa kisa eri Isiraeri,
Eri abo abalina emitima emirongoofu.
2Naye nze, ebigere byange byali kumpi n'okugwa;
Okutambula kwange kwabulako katono kuseerera.
3 # Yob 21:7, Zab 37:1 Kubanga ab'amalala bankwasa obuggya,
Bwe nnalaba ababi bwe balina omukisa.
4Kubanga bafa tebalumwangako:
Naye amaanyi gaabwe ganywera.
5Tebalaba nnaku ng'abantu abalala;
So tebabonyaabonyezebwa ng'abantu abalala.
6 # Zab 109:18 Amalala kyegava gabeera ng'omukuufu ogwetooloola obulago bwabwe;
Ettima libabikka ng'ekyambalo.
7 # Zab 17:10 Amaaso gaabwe gabakanuse olw'obugevvu:
Balina ebingi okukira omutima bye guyinza okwagala.
8Baduula ne boogera eby'okujooga mu bubi:
Boogera ebikulu.
9Omumwa gwabwe bagutadde mu ggulu,
N'olulili lwabwe lutambulatambula mu nsi.
10Abantu be kyebava bakomawo wano:
N'amazzi ag'omu kikompe ekijjudde ne bagamalirawo ddala.
11 # Yob 22:13, Zab 10:11 Era boogera nti Katonda amanya atya?
Era okumanya kuli mu oyo ali waggulu ennyo?
12Laba, abo be babi;
Era beeyongera mu bugagga nga balina emirembe ennaku zonna.
13 # Yob 21:15; 34:9, Zab 26:6, Mal 3:14 Mazima nnongooserezza bwereere omutima gwange,
Ne nnaaba mu ngalo zange n'obutayonoona;
14 # Kub 3:19 Kubanga nabonyaabonyezebwa okuzibya obudde,
Ne nkangavvulwa buli nkya.
15Singa nayogera nti Ka njogere bwe ntyo;
Laba, nandikkusizza emirembe gy'abaana bo.
16Bwe nnalowooza bwe nnyinza okutegeera ekyo,
Kyanteganya ne kinnema;
17 # Zab 37:38 Okutuusa lwe nnagenda mu watukuvu wa Katonda,
Ne ndowooza ebibatuukako ku nkomerero.
18 # Zab 35:6 Mazima obateeka mu bifo eby'obuseerezi:
Obasuulira ddala ne bazikirira.
19 # Yob 18:11 Nga bafuuse ekifulukwa mu kaseera akatono!
Entiisa zibamalirawo ddala.
20 # Yob 20:8, Zab 78:65 Ng'ekirooto bwe kiri aloose ng'azuukuse;
Era bw'otyo naawe, ai Mukama, bw'olizuukuka, olinyooma ekifaananyi kyabwe.
21Kubanga omutima gwange gwannuma,
N'emmeeme yange yanfumita;
22 # Yob 18:3 Bwe nnali ng'ensolo bwe ntyo ne ssitegeera;
Nali nsolo mu maaso go.
23Naye ndi wamu naawe ennaku zonna:
Onkutte omukono gwange ogwa ddyo.
24 # Zab 32:8; 49:15, Yok 14:3 Ononnuŋŋamyanga n'amagezi go,
Era oluvannyuma olinzikiriza okuyingira mu kitiibwa.
25 # Zab 16:2, Is 26:8, Baf 3:8 Ani gwe nnina mu ggulu wabula ggwe?
So tewali mu nsi gwe njagala wabula ggwe.
26 # Zab 16:5; 84:2 Omubiri gwange n'omutima gwange bimpwako:
Naye Katonda ge maanyi g'omutima gwange n'omugabo gwange emirembe gyonna.
27 # Kuv 34:15, Zab 106:39, Yak 4:4 Kubanga, laba, abakuli ewala balizikirira:
Wabafaafaaganya bonna abagenda okwenda ne bakuleka.
28 # Zab 14:6; 118:17, Beb 10:22, Yak 4:8 Naye kirungi nze nsemberere Katonda:
Mukama Katonda mmufudde ekiddukiro kyange,
Ndyoke njogerenga ku bikolwa byo byonna.

Currently Selected:

Zabbuli 73: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 73