YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 59

59
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekyalutasukesi. Zabbuli ya Dawudi: Mikutamu: Sawulo bwe yatuma, ne balabirira ennyumba okumutta.
1 # Zab 18:48; 20:1 Ondokole mu balabe bange, ai Katonda wange:
Ongulumize eri abo abangolokokerako.
2Ondokole eri abo abakola obutali butuukirivu,
Omponye eri abo abaagala omusaayi.
3 # 1 Sam 19:11; 24:11, Zab 10:9; 56:6 Kubanga, laba, bateega emmeeme yange;
Ab'amaanyi bakuŋŋaana okunnumba:
Si lwa kyonoono kyange, so si lwa kibi kyange, ai Mukama.
4Badduka, beeteekateeka nga sikoze bubi:
Ozuukuke onnyambe, olabe.
5 # Zab 80:4 Ggwe, ai Mukama Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri,
Ogolokoke obuulirire amawanga gonna:
Tosaasiranga muntu yenna omwonoonyi omubi. (Seera)
6Bakomawo akawungeezi, bakaaba ng'embwa,
Beetooloola ekibuga.
7 # Yob 22:13, Zab 57:4, Nge 15:28 Laba, beebajjagala n'akamwa
kaabwe;
Ebitala biri mu mimwa gyabwe:
Kubanga boogera nti Ani awulira?
8 # Zab 2:4 Naye ggwe, Mukama, olibasekerera;
Oliduulira amawanga gonna.
9 # Zab 9:9 Ai amaanyi gange, naakulindiriranga ggwe:
Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu.
10 # Zab 54:7 Katonda ow'okusaasirwa kwange anankulemberanga:
Katonda anandabyanga bye njagala nga bituuse ku balabe bange.
11 # Zab 55:23 Tobatta, abantu bange baleme okwerabira:
Obasaasaanye n'amaanyi go, obatoowaze,
Ai Mukama engabo yaffe.
12Olw'okwonoona kw'akamwa kaabwe, olw'ebigambo by'emimwa gyabwe,
Bakwatibwe nga beenyumiriza,
Era n'olw'okukolima n'obulimba bye boogera.
13 # Zab 7:9 Obazikirize mu busungu, obazikirize, balemenga okubaawo nate:
Era bategeerenga nga Katonda
afugira mu Yakobo,
Okutuuka ku nkomerero z'ensi. (Seera)
14Era akawungeezi bakomewo, bakaabe ng'embwa,
Beetooloole ekibuga.
15 # Yob 15:23, Zab 109:10 Balitambulatambula nga banoonya emmere,
Balikeesa obudde bwe batalikkuta.
16Naye nze naayimbanga ku maanyi go;
Weewaawo, naayimbiranga ddala ku kusaasira kwo enkya:
Kubanga wali kigo kyange ekiwanvu,
N'ekiddukiro ku lunaku olw'okutegana kwange.
17Ggwe, ai amaanyi gange, gwe nnaayimbiranga okukutendereza:
Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu, Katonda wa kusaasirwa kwange.

Currently Selected:

Zabbuli 59: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in