Zabbuli 50
50
Zabbuli ya Asafu.
1 #
Zab 113:3
Katonda, Katonda, Mukama, ayogedde,
N'ayita ensi okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba.
Katonda amasamasizza.
2 #
Ma 33:2, Zab 48:2; 80:1 Okuva mu Sayuuni, obulungi obutuukiridde,
Katonda amasamasizza.
3 #
Kuv 19:16, Zab 21:9 Katonda waffe alijja, so talisirika;
Omuliro gulirya mu maaso ge,
Omuyaga omungi gulimwetooloola.
4 #
Ma 32:1, Is 1:2, Mi 6:1,2 Alikoowoola eggulu waggulu,
N'ensi, alyoke asalire abantu be omusango:
5 #
Lub 15:9-18, Kuv 24:7,8 Mukuŋŋaanye abatukuvu bange awamu we ndi;
Abaalagaana nange endagaano n'essaddaaka.
6 #
Zab 75:7; 97:6 N'eggulu liribuulira obutuukirivu bwe;
Kubanga Katonda ye mulamuzi yennyini.
7 #
Kuv 20:2, Zab 81:8 Muwulire, abantu bange, nange naayogera;
Ggwe isiraeri, nange naakutegeeza;
Nze Katonda, Katonda wo.
8 #
Zab 40:6
Siikunenye lwa ssaddaaka zo;
N'ebyokebwa byo biri mu maaso gange bulijjo.
9Siriggya seddume mu nnyumba yo.
Newakubadde embuzi ennume mu bisibo byo.
10Kubanga buli nsolo ey'omu kibira yange,
N'ente ez'oku nsozi lukumi.
11 #
Mat 10:29
Ennyonyi zonna ez'oku nsozi nzimanyi:
N'ensolo ez'omu nsiko zange.
12 #
Zab 24:1
Singa nnumwa enjala, sandikubuulidde:
Kubanga ensi yange, n'okujjula kwayo.
13Nze naalyanga ennyama eya seddume,
Oba naanywanga omusaayi gw'embuzi?
14 #
Kubal 30:2, Zab 22:25; 107:22, Mub 5:4, Kos 14:2, Yon 2:9, Beb 13:15 Owenga Katonda ssaddaaka ey'okwebaza;
Osasulenga obweyamo bwo ali waggulu ennyo:
15 #
Zab 22:23; 81:7; 107:6, Zek 13:9 Era onkoowoolenga ku lunaku olw'okulaba ennaku;
Ndikuwonya, naawe olingulumiza nze.
16Naye omubi Katonda amugamba nti
Ofaayo ki okubuulira amateeka gange,
N'oyingiza endagaano yange mu kamwa ko?
17 #
Nek 9:26, Bar 2:21,22 Kubanga okyawa okuyigirizibwa,
N'ebigambo byange obisuula ennyuma wo.
18 #
Bar 1:32, 1 Tim 5:22 Bwe walaba omubbi walagaana naye,
Era wassa ekimu n'abenzi.
19 #
Zab 52:2
Owaayo akamwa ko eri obubi,
N'olulimi lwo lukola eby'obulimba.
20Otuula ng'ovuma muganda wo;
Era owaayiriza omwana wa nnyoko.
21 #
Mub 8:11, Is 57:11, Bar 2:4 Ebyo wabikola, nange ne nsirika;
N'olowooza nga nenkanankanira
ddala naawe:
Naye ndikunenya, ne mbiteeka mu maaso go.
22 #
Zab 7:2; 9:17 Kale mulowooze kino, mmwe abeerabira Katonda,
Nneme okubataagulataagula, okubulawo alibawonya:
23 #
Zab 50:14,15; 91:16 Buli ampa ssaddaaka ey'okwebaza angulumiza;
Naye alongoosa obulungi ekkubo lye
Ndimulaga obulokozi bwa Katonda.
Currently Selected:
Zabbuli 50: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.