Zabbuli 49
49
Ya mukulu w'abayimbi; zabbuli ya batabani ba Koola.
1 #
Is 1:2, Mi 1:2 Kino mukiwulire, mmwe amawanga gonna;
Mutege okutu, mmwe mwenna abali mu nsi:
2Abakopi era n'abakulu,
Abagagga n'abaavu awamu.
3Akamwa kange kanaayogera amagezi;
N'omutima gwange gunaalowooza eby'okumanya.
4 #
Zab 78:2
Okutu kwange naakutegera olugero:
Naabikkula ekigambo kyange ekizibu n'ennanga.
5Lwaki nze okutya mu nnaku ez'akabi,
Obutali butuukirivu bwe buneetooloola ku bisinziiro byange?
6 #
Zab 52:7, Nge 11:28, Mak 10:24 Abeesiga obugagga bwabwe,
Ne beenyumiriza olw'ebintu byabwe ebingi;
7 #
Mat 16:26
Mu abo siwali ayinza okununula muganda we n'akatono,
Newakubadde okuwa Katonda omuwendo gwe:
8 #
Yob 36:18,19 (Kubanga ekinunulo eky'emmeeme yaabwe kizibu,
Era ekigwanira okulekebwanga emirembe gyonna:)
9 #
Zab 16:10; 89:48 Alyoke awangaalenga ennaku zonna,
Alemenga okulaba okuvunda,
10 #
Zab 39:6, Mub 2:16 Kubanga alaba ng'ab'amagezi bafa,
Atamanyi n'omusirusiru bazikirira wamu,
N'obugagga bwabwe ne babulekera abalala.
11 #
Lub 4:17
Balowooza munda ng'ennyumba zaabwe za nnaku zonna,
Ebifo byabwe bya mirembe gyonna;
Batuuma ensi zaabwe amannya gaabwe bo.
12 #
Zab 82:7, Mub 3:19 Naye omuntu tabeerera mu kitiibwa:
Ali ng'ensolo ezizikirira.
13 #
Zab 75:7; 97:6 Ekkubo lyabwe eryo bwe busirusiru bwabwe:
Naye abantu ababaddirira basiima ebigambo byabwe: (Seera)
14 #
Yob 24:19, Dan 7:22, Mal 4:3, 1 Kol 6:2, Kub 2:26 Bateekerwawo magombe ng'ekisibo;
Okufa kunaabeeranga omusumba waabwe:
Ab'amazima banaabafuganga obudde bwe bulikya;
N'obulungi bwabwe buliba obw'emagombe, okubulya, buleme okubeera n'ekifo eky'okutuulamu.
15 #
Zab 16:10, Kos 13:14 Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu maanyi ag'emagombe;
Kubanga ye alinzikiriza. (Seera)
16Totyanga ggwe omuntu bw'agaggawala,
Ekitiibwa eky'ennyumba ye bwe kyeyongera:
17 #
Yob 27:19, 1 Tim 6:7 Kubanga bw'alifa talitwala kintu:
Ekitiibwa kye tekirikka kumugoberera:
18 #
Ma 29:19, Luk 12:19 Newakubadde nga yayita emmeeme ye ey'omukisa bwe yali ng'akyali mulamu,
Era abantu bakutendereza bwe weekolera wekka obulungi,
19Alikka mu mirembe gya bajjajja be;
Tebaliraba musana nate.
20Omuntu alina ekitiibwa n'atategeera,
Ali ng'ensolo ezizikirira.
Currently Selected:
Zabbuli 49: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.