YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 48

48
Oluyimba; zabbuli ya batabani ba Koola.
1 # Zab 46:4; 96:4; 145:3, Is 2:2, Zek 8:3 Mukama mukulu,
agwanira okutenderezebwa ennyo,
Mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
2 # Zab 50:2, Kung 2:15, Mat 5:35 Olusozi Sayuuni lulungi mu kugulumira kwalwo,
Lye ssanyu ery'ensi yonna, ku njuyi ez'obukiika obwa kkono,
Ekibuga kya kabaka omukulu.
3 # Zab 46:7 Katonda yeetegeezezza mu mayumba gaakyo nga kye kiddukiro.
4 # 2 Sam 10:6-19 Kubanga, laba, bakabaka baakuŋŋaana,
Ne bayitamu wamu.
5Ne bakiraba, ne balyoka beewuunya;
Ne batya, ne baanguwa okugenda.
6 # Kuv 15:15, Is 13:8 Ensisi n'ebakwatira omwo;
N'okulumwa, ng'omukazi azaala.
7Omuyaga oguva ebuvanjuba
Ogumenyesa amaato ag'e Talusiisi.
8 # Zab 48:1; 87:5 Nga bwe twawuliranga, bwe twalaba bwe tutyo
Mu kibuga kya Mukama w'eggye, mu kibuga kya Katonda waffe:
Katonda anaakinywezanga emirembe gyonna. (Seera)
9Twajjuukirira ekisa kyo, ai Katonda,
Wakati mu yeekaalu yo.
10 # Ma 28:58, Zab 113:3, Mal 1:11 Ng'erinnya lyo bwe liri, ai Katonda,
Ettendo lyo bwe liri bwe lityo okutuusa enkomerero y'ensi:
Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obutuukirivu.
11 # Zab 97:8 Olusozi Sayuuni lusanyuke,
Abawala ba Yuda bajaguze,
Olw'emisango gyo.
12Mutambule okwetooloola Sayuuni, mukibunye:
Mubale ebigo byakyo.
13 # Zab 78:4-6; 122:7 Mwekalirize enkomera zaakyo.
Mulowooze amayumba gaakyo;
Mulyoke mubibuulire emirembe egigenda okujja.
14 # Zab 23:3,4 Kubanga Katonda oyo ye Katonda waffe emirembe n'emirembe:
Ye anaabeeranga omusaale waffe okutuusa ku kufa.

Currently Selected:

Zabbuli 48: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in