Zabbuli 47
47
Ya mukulu w'abayimbi; zabbuli ya batabani ba Koola.
1 #
1 Sam 10:24, 2 Bassek 11:12, Is 55:12 Mukale mukube mu ngalo, mmwe amawanga gonna;
Mwogerere waggulu eri Katonda
n'eddoboozi ery'okuwangula.
2 #
Ma 7:21, Nek 1:5, Mal 1:14, 1 Bassek 10:22; 22:48, Ez 27:26 Kubanga Mukama ali waggulu ennyo wa ntiisa:
Ye kabaka omukulu afuga ensi zonna.
3 #
Zab 18:47
Alijeemula abantu ne tubafuga,
N'amawanga aligassa wansi w'ebigere byaffe.
4 #
Am 8:7, Nak 2:2, 1 Peet 1:4 Alitulondera obusika bwaffe,
Okuwooma kwa Yakobo gwe yayagala. (Seera)
5 #
2 Sam 6:15, Zab 68:18 Katonda alinnye n'okwogerera waggulu,
Mukama alinnye n'eddoboozi ery'akagombe.
6Muyimbe okutendereza Katonda, muyimbe okumutendereza;
Muyimbe okutendereza Kabaka waffe, muyimbe okumutendereza.
7 #
Zek 14:9, 1 Kol 14:15 Kubanga Katonda ye Kabaka w'ensi zonna:
Muyimbe okumutendereza n'amagezi.
8 #
1 Byom 16:31, Zab 22:28 Katonda afuga amawanga:
Katonda atuula ku ntebe ye entukuvu.
9 #
Zab 72:11; 89:18, Is 49:7,23 Abalangira ab'amawanga bakuŋŋaanye.
Okubeera abantu ba Katonda wa Ibulayimu:
Kubanga engabo ez'ensi za Katonda;
Agulumizibwa nnyo.
Currently Selected:
Zabbuli 47: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.