YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 46

46
Ya mukulu w'abayimbi; zabbuli ya batabani ba Koola; ey'ekyalamoosi. Oluyimba.
1 # Ma 4:7, Zab 14:6 Katonda kye kiddukiro n'amaanyi gaffe,
Omubeezi ddala atabula mu kulaba ennaku.
2 # Zab 18:7 Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw'eneekyukanga,
N'ensozi ne bwe zinaasigukanga mu buziba obw'ennyanja;
3 # Zab 93:3,4, Yer 5:22 Amazzi gaayo ne bwe ganaayiranga ne bwe ganeekuluumululanga,
N'ensozi ne bwe zinaakankananga n'okwetabula kwayo. (Seera)
4 # Zab 36:8; 43:3; 48:1, Is 33:21; 60:14, Kub 22:1,2 Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
Ekifo ekitukuvu eky'eweema z'oyo ali waggulu ennyo.
5 # Ma 23:14, Is 12:6, Ez 43:7, Zek 8:3 Katonda ali wakati waakyo; tekiisagaasaganenga:
Katonda anaakibeeranga, anaakibeeranga enkya mu matulutulu.
6 # Zab 2:1; 18:13, Yo 3:16, Am 9:5 Amawanga gaayoogaana, obwakabaka ne bwetabula:
Yaleeta eddoboozi lye, ensi n'esaanuuka.
7 # Zab 48:3 Mukama w'eggye ali wamu naffe;
Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe. (Seera)
8 # Zab 66:5 Mujje, mulabe ebikolwa bya Mukama,
Okuzikiriza kwe yaleeta mu nsi.
9 # 1 Sam 2:4, Zab 76:3, Is 2:4, Mi 4:3 Aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y'ensi;
Amenya omutego, n'effumu alikutula;
N'amagaali agookya omuliro.
10 # Kuv 14:13, Is 2:11,17 Musirike mumanye nga nze Katonda:
Naagulumizibwanga mu mawanga,
Naagulumizibwanga mu nsi.
11 # Zab 46:7 Mukama w'eggye ali wamu naffe;
Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe. (Seera)

Currently Selected:

Zabbuli 46: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in