Zabbuli 28
28
Zabbuli ya Dawudi.
1 #
Zab 18:2; 31:3; 35:22; 143:7 Ggwe, ai Mukama, naakukoowoolanga;
Olwazi lwange, togaana kumpulira:
Nneme okuba ng'abo abakka mu bunnya,
Oba nga ononsiriikirira.
2 #
1 Bassek 8:29, Zab 5:7; 134:2; 140:6 Wulira eddoboozi ery'okwegayirira kwange, bwe nkukaabirira,
Bwe nnyimusa emikono gyange eri ekifo ekitukuvu ky'oyogereramu.
3 #
Zab 26:9, Yer 9:8 Tompalulira wamu n'ababi,
N'abo abakola obutali butuukirivu;
Aboogera eby'emirembe ne bannaabwe,
Naye ettima nga liri mu mitima gyabwe.
4 #
Yer 50:15,29, 2 Tim 4:14, Kub 18:6; 22:12 Obawe ng'emirimu gyabwe bwe giri era ng'obubi obw'ebikolwa byabwe:
Obawe ng'emikono gyabwe bwe gikola;
Obasasule bye basaanidde.
5 #
Is 5:12, Yob 39:1-3 Kubanga tebalowooza mirimu gya Mukama,
Newakubadde emikono gye bye gikola,
Alibamenyaamenya so talibazimba.
6Atenderezebwe Mukama,
Kubanga awulidde eddoboozi ery'okwegayirira kwange.
7 #
Zab 3:3; 69:30 Mukama ge maanyi gange era
ye ngabo yange;
Omutima gwange gwamwesiganga oyo, ne mbeerwa:
Omutima gwange kyeguva gusanyuka ennyo;
Era naamutenderezanga n'oluyimba lwange.
8 #
Zab 20:6; 140:7 Mukama ge maanyi gaabwe,
Era kye kiddukiro eky'obulokozi eri oyo gwe yasiiga amafuta.
9 #
Ma 9:29, 1 Bassek 8:51, Zab 78:71,72, Is 63:9 Lokola abantu bo, owenga omukisa ab'obusika bwo:
Obaliisenga, obawanirirenga emirembe gyonna.
Currently Selected:
Zabbuli 28: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.