Zabbuli 16
16
Mikutamu ya Dawudi.
1 #
Zab 25:20
Onkuume, ai Katonda:
kubanga nkwesiga ggwe.
2 #
Zab 73:25
Ŋŋambye Mukama nti Ggwe oli Mukama wange:
Sirina bulungi bwonna awatali ggwe.
3 #
Ma 7:6, 1 Peet 2:9 Abatukuvu abali mu nsi,
Abo be basinga obulungi, be nsanyukira essanyu lyange lyonna.
4 #
Kuv 23:13, Yos 23:7 Okunakuwala kwabwe kunaayongerwangako abo abawaanyisa Mukama olwa katonda Omulala:
Esaddaaka zaabwe ez'okunywa ez'omusaayi ssiiziwengayo.
So ssiitwalenga mannya gaabwe mu mimwa gyange.
5 #
Kubal 18:20, Zab 23:5; 119:57 Mukama gwe mugabo ogw'obusika bwange n'ogw'ekikompe kyange:
Ggwe okuuma ebyange.
6 #
Zab 78:55
Emigwa ginguddeko mu bifo ebirungi;
Mazima nnina obusika obulungi.
7Neebazanga Mukama, anteeserezza ebigambo:
Mazima, emmeeme yange enjigiriza mu biseera eby'ekiro.
8 #
Zab 109:31
#
Bik 2:25-28
Mukama mmutadde mu maaso gange bulijjo.
Kubanga ye ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana.
9Omutima gwange kyeguva gusanyuka n'ekitiibwa kyange kijaguza:
Era n'omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe.
10 #
Zab 49:9,15, Mak 1:24, Luk 1:35, Bik 13:35 Kubanga tolireka mmeeme yange mu magombe;
So toliganya Omutukuvu wo okulaba okuvunda.
11 #
Zab 21:6; 36:8, Mat 7:14 Onondaganga ekkubo ery'obulamu:
Gy'oli waliwo essanyu erituukirira;
Mu mukono gwo ogwa ddyo mwe muli ebisanyusa emirembe n'emirembe.
Currently Selected:
Zabbuli 16: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.