Zabbuli 118
118
1 #
1 Byom 16:34, Zab 100:5, Yer 33:11 Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 #
Zab 115:9-11
Isiraeri ayogere kaakano
Nti okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
3Ennyumba ya Alooni eyogere kaakano
Nti okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
4Abo abamutya Mukama boogere kaakano
Nti okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
5 #
Zab 18:6,19 Bwe nnali mu nnaku ne nkaabira Mukama:
Mukama n'anjitaba, n'anteeka mu kifo ekigazi.
6 #
Zab 56:9,11, Bar 8:31, Beb 13:6 Mukama ali ku luuyi lwange; siritya:
Abantu bayinza kunkola ki?
7 #
Zab 54:4,7 Mukama ali ku luuyi lwange mu abo abannyamba:
Kyendiva ndaba bye njagala nga bituuse ku abo abankyaye.
8 #
Zab 40:4, Yer 17:5,7 Kirungi okwesiganga Mukama
Okusinga okwesiga abantu.
9 #
Zab 146:3, Is 30:1-3 Kirungi okwesiganga Mukama
Okusinga okwesiga abalangira.
10 #
Zab 88:17
Amawanga gonna ganneetoolodde:
Mu linnya lya Mukama ndigazikiriza.
11Ganneetoolodde; weewaawo, ganneetoolodde;
Mu linnya lya Mukama ndigazikiriza.
12 #
Ma 1:44, Zab 58:9 Banneetoolodde ng'enjuki;
bazikidde ng'omuliro ogw'omu maggwa:
Mu linnya lya Mukama ndibazikiriza.
13Bansoya nnyo okungwisa:
Naye Mukama n'annyamba.
14 #
Kuv 15:2, Is 12:2 Mukama ge maanyi gange,
lwe luyimba lwange;
Era afuuse obulokozi bwange.
15 #
Kuv 15:6, Luk 1:51 Eddoboozi ery'essanyu era ery'obulokozi liri mu weema ez'abatuukirivu;
Omukono ogwa dddyo ogwa Mukama gukola eby'obuzira.
16Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gugulumizibwa:
Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gukola eby'obuzira.
17 #
Zab 6:5; 73:28; 107:22 Sirifa, naye naabeeranga mulamu,
Era naabuuliranga emirimu gya Mukama.
18 #
Yer 30:11, 2 Kol 6:9 Mukama ambonerezza nnyo:
Naye tangabulanga eri okufa.
19 #
Is 26:2
Munzigulirewo enzigi ez'obutuukirivu:
Naaziyingiramu, ne nneebaza Mukama.
20 #
Zab 24:7, Kub 21:27; 22:14 Olwo lwe luggi lwa Mukama;
Abatuukirivu be baliyingiramu.
21 #
Zab 27:1; 116:1 Naakwebazanga, kubanga onzizeemu,
Era ofuuse obulokozi bwange.
22 #
Is 28:16, Mak 12:10,11, Bik 4:11, Bef 2:20, 1 Peet 2:4,7 Ejjinja abazimbi lye baagaana
Lifuuse ekkulu ery'oku nsonda.
23 #
1 Peet 2:4,7 Ekyo Mukama ye yakikola;
Kya kitalo mu maaso gaffe.
24Luno lwe lunaku Mukama lwe yakola;
Tunaasanyuka, tunaajaguliza okwo.
25Olokole kaakano, tukwegayiridde, ai Mukama:
Ai Mukama, tukwegayiridde, oweereze omukisa kaakano.
26 #
Mat 23:39, Mak 11:9, Yok 12:13 Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama:
Tubasabidde omukisa nga tuyima mu nnyumba ya Mukama.
27 #
Kuv 27:2, Zab 97:11 Mukama ye Katonda, era atuwadde omusana:
Musibe ssaddaaka n'emigwa, musibe ku mayembe g'ekyoto.
28 #
Kuv 15:2, Zab 99:5, Is 25:1 Ggwe oli Katonda wange, nange naakwebazanga:
Ggwe oli Katonda wange, naakugulumizanga.
29 #
Zab 118:1
Kale mumwebaze Mukama; kubanga mulungi:
Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
Currently Selected:
Zabbuli 118: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.