Zabbuli 119
119
ALEFU
1 #
Lub 17:1, Zab 128:1 Balina omukisa abo abatuukirira mu kkubo,
Abatambulira mu mateeka ga Mukama.
2 #
Ma 4:29, 2 Byom 15:2 Balina omukisa abo abeekuuma bye yategeeza,
Abamunoonya n'omutima gwonna.
3Weewaawo, abo tebakola ebitali bya butuukirivu;
Batambulira mu makubo ge.
4Watukuutira ebiragiro byo,
Tubikwatenga nnyo.
5Singa amakubo gange ganywedde
Okukwata amateeka go!
6 #
Yob 22:26, Zab 119:80 Bwe ntyo bwe siikwatibwenga nsonyi,
Bwe nnaalowoozanga bye walagira byonna.
7Naakwebazanga n'omutima ogutalina bukuusa,
Bwe ndiba nga njize emisango gyo egy'ensonga.
8 #
Zab 38:21; 71:9,18 Naakwatanga amateeka go:
Nkwegayiridde, tondekera ddala.
BEESI
9 #
Nge 1:4
Omuvubuka anaalongoosanga atya ekkubo lye?
Nga yeegendereza ng'ekigambo kyo bwe kiri.
10N'omutima gwange gwonna nkunoonyezza:
Nkwegayiridde, nneme okukyama okuleka bye walagira.
11 #
Zab 37:31, Luk 2:19,51 Nterese ekigambo kyo mu mutima gwange,
Nneme okwonoona mu maaso go.
12Weebazibwa, ai Mukama:
Onjigirizenga amateeka go.
13 #
Zab 40:9
N'emimwa gyange mbuulidde
Emisango gyonna egy'akamwa ko.
14 #
Nge 3:13-15; 8:10,11 Nsanyukidde ekkubo ly'ebyo bye wategeeza,
Nga asanyukira obugagga bwonna.
15Naafumiitirizanga ebiragiro byo.
Era naalowoozanga amakubo go.
16Naasanyukiranga amateeka go:
Seerabirenga kigambo kyo.
GIMERI
17 #
Zab 13:6
Onkolere omuddu wo eby'ekisa ekingi, mbeerenga omulamu;
Bwe ntyo bwe nnaakwatanga ekigambo kyo.
18Onzibule amaaso gange, ndabe
Eby'ekitalo ebiva mu mateeka go.
19 #
Zab 39:12
Nze ndi mutambuze mu nsi:
Tonkisa bye walagira.
20 #
Zab 42:1,2 Emmeeme yange ekutuse olw'okuyaayaana
Kw'eyaayaanira emisango gyo ebiro byonna.
21 #
Ma 27:26
Onenyezza ab'amalala abakolimirwa,
Abakyama okuleka bye walagira.
22Onzigyeko okuvumibwa n'okunyoomebwa;
Kubanga neekuumye bye wategeeza.
23Era n'abalangira batuula ne banjogerako obubi:
Naye omuddu wo nafumiitiriza amateeka go.
24 #
Bar 7:22
Era bye wategeeza bye nsanyukira,
Era ebyo be bantu be nteesa nabo.
DALESI
25 #
Zab 44:25
Emmeeme yange yeegasse n'enfuufu:
Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kiri.
26Nayatula amakubo gange, naawe n'onziramu:
Onjigirize amateeka go.
27Ontegeeze ntegeere ekkubo ery'ebiragiro byo:
Ne ndyoka nfumiitiriza emirimu gyo egy'ekitalo.
28 #
Zab 22:14
Emmeeme yange esaanuuse olw'okunyiikaala:
Ompe amaanyi ng'ekigambo kyo bwe kiri.
29 #
Nge 30:8
Onziyeko ekkubo ery'obulimba:
Era ompe amateeka go n'ekisa.
30Neerobozezza ekkubo ery'obwesigwa:
Emisango ngitadde mu maaso gange.
31Neegatta n'ebyo bye wategeeza:
Ai Mukama, tonkwasa nsonyi.
32 #
1 Bassek 4:29, Is 60:5, 2 Kol 6:11,13 Naddukiranga mu kkubo ly'ebyo bye walagira,
Bw'oligaziya omutima gwange.
HE
33 #
Mat 10:22, Beb 3:6, Kub 2:26 Onjigirize, ai Mukama, ekkubo ery'amateeka go;
Nange naalyekuumanga okutuusa enkomerero.
34 #
Nge 2:6, Yak 1:5 Ompe amagezi, nange neekuumanga amateeka go;
Weewaawo, naagakwatanga n'omutima gwange gwonna.
35 #
Zab 25:4
Ompise mu kkubo ly'ebyo bye walagira:
Kubanga mu eryo mwe nsanyukira.
36 #
Zab 141:4, Luk 12:15, 1 Tim 6:10, Beb 13:5 Okyuse omutima gwange eri ebyo bye wategeeza,
So si eri kwegomba.
37 #
Nge 23:5
Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu,
Era onzuukize mu makubo go.
38Onyweze ekigambo kyo eri
omuddu wo,
Ky'eky'okutyanga ggwe.
39Ompunjulire ekivume kye ntya;
Kubanga emisango gyo mirungi
40Laba, neegombanga ebiragiro byo:
Onzuukirize mu butuukirivu bwo.
VAWU
41 #
Zab 106:4
Era n'okusaasira kwo kutuuke gye ndi, ai Mukama,
Bwe bulokozi bwo, ng'ekigambo kyo bwe kiri.
42 #
Nge 27:11
Bwe ntyo bwe ndiba n'eky'okuddamu eri oyo anvuma;
Kubanga neesiga ekigambo kyo.
43So toggiramu ddala kigambo kya mazima mu kamwa kange;
Kubanga naasuubiranga emisango gyo.
44Bwe ntyo bwe nnaakwatanga amateeka go ennaku zonna
Emirembe n'emirembe.
45 #
Nge 4:12
Era naatambulanga nga neeyabya;
Kubanga nnoonyezza ebiragiro byo.
46 #
Mat 10:18, Bik 26:1,2 Era naayogeranga ku ebyo bye wategeeza mu maaso ga bakabaka,
Ne sikwatibwa nsonyi.
47Era naasanyukiranga ebyo bye walagira,
Bye nnaayagalanga.
48 #
Zab 28:2
Era naayimusanga engalo zange eri ebyo bye walagira, bye nnaayagalanga:
Era naafumiitirizanga amateeka go.
ZAYINI
49Ojjukire ekigambo eri omuddu wo,
Kubanga wansuubiza.
50 #
Bar 15:4
Eryo lye ssanyu lyange bwe mbonyaabonyezebwa:
Kubanga ekigambo kyo kinzuukizizza.
51 #
Yob 23:11, Zab 123:4, Yer 20:7 Ab'amalala bansekeredde nnyo:
Naye ne sseekooloobyanga okuva mu mateeka go.
52Njijukidde emisango gyo egy'edda, ai Mukama,
Ne nneesanyusa.
53 #
Nek 13:25
Obusungu obubuubuuka bunkutte,
Olw'ababi abaleka amateeka go.
54Amateeka go ge nnyimbirako
Mu nnyumba ey'okutambula kwange.
55 #
Zab 42:8; 63:6 Najjukiranga erinnya lyo ekiro, ai Mukama,
Era nakwatanga amateeka go.
56Ekigambo kino kyange,
Okukuumanga ebiragiro byo.
57 #
Zab 16:5, Yer 10:16, Kung 3:24 Mukama gwe mugabo gwange:
Nayogera nga naakwatanga ebigambo byo.
58Nasaba ekisa kyo n'omutima
gwange gwonna:
Onsaasire ng'ekigambo kyo bwe kiri.
59 #
Kung 3:40, Luk 15:17 Nalowooza amakubo gange,
Ne nkyusa ebigere byange eri
ebyo bye wategeeza.
60Nayanguwa ne sirwawo,
Okukwata ebyo bye walagira.
61Emigwa egy'ababi gimbisse;
Naye seerabidde mateeka go.
62 #
Bik 16:25
Mu ttumbi naagolokokanga
okukwebaza
Olw'emisango gyo egy'ensonga.
63 #
Zab 101:6
Nze ndi munne w'abo bonna abakutya,
N'abo abakwata ebiragiro byo.
64 #
Zab 33:5
Ai Mukama, ensi ejjudde okusaasira kwo:
Onjigirize amateeka go.
TEESI
65Okoledde ebirungi omuddu wo,
Ai Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri.
66 #
Baf 1:9
Onjigirizenga okusala emisango egy'ensonga n'okutegeera;
Kubanga nakkirizanga ebyo bye walagira.
67 #
Yer 31:18,19, Beb 12:11, Kub 3:19 Nga sinnabonyaabonyezebwa, nakyama;
Naye kaakano nkwata ekigambo kyo.
68 #
Zab 107:1
Oli mulungi, era okola ebirungi;
Onjigirizenga amateeka go.
69 #
Yob 13:4, Zab 109:2 Ab'amalala banjiiyirizzaako
eky'obulimba:
N'omutima gwange gwonna neekuumanga ebiragiro byo.
70 #
Zab 17:10, Is 6:10, Bik 28:27 Omutima gwabwe gugezze ng'amasavu;
Naye nze nsanyukira amateeka go.
71 #
Beb 12:10
Kwangasa okubonyaabonyezebwa;
Ndyoke njige amateeka go.
72 #
Zab 19:10, Nge 8:10 Amateeka g'akamwa ko gampoomera nze
Okusinga ebitundu eby'ezaabu n'effeeza enkumi n'enkumi.
YODI
73 #
Yob 10:8, Zab 100:3 Engalo zo ze zankola, ze zammumba:
Ompe amagezi, njigenga ebyo bye walagira.
74 #
Zab 34:2; 130:5 Abakutya banandabanga ne basanyuka;
Kubanga naasuubiranga ekigambo kyo.
75 #
Zab 33:4
Mmanyi, ai Mukama, ng'emisango gyo gya nsonga,
Era nga wambonyaabonya olw'obwesigwa.
76Nkwegayiridde, ekisa kyo ekirungi kinsanyuse,
Ng'ekigambo kyo bwe kiri eri omuddu wo.
77Okusaasira kwo okulungi kujje gye ndi, mbeerenga omulamu:
Kubanga amateeka go ge gansanyusa.
78 #
Zab 25:3
Ab'amalala bakwatibwe ensonyi; kubanga bammegga awatali nsonga.
Naye naafumiitirizanga ebiragiro byo.
79 #
Yer 15:19
Abakutya bankyukire,
Era balitegeera bye wategeeza.
80Omutima gwange gutuukirire mu mateeka go;
Nnemenga okukwatibwa ensonyi.
KAFU
81 #
Zab 42:1,2; 84:2 Emmeeme yange ezirise olw'obulokozi bwo:
Naye nsuubira ekigambo kyo.
82 #
Zab 69:3; 101:2 Amaaso gange gakulukuse olw'ekigambo kyo,
Nga njogera nti Olinsanyusa ddi?
83 #
Yob 30:30
Kubanga nfuuse ng'eddiba eriwanikibwa mu mukka;
Naye seerabira mateeka go.
84 #
Zab 7:6; 39:4, Kub 6:10 Ennaku ez'omuddu wo ziri mmeka?
Olituukiriza ddi omusango ku abo abanjigganya?
85 #
Zab 7:15; 35:7 Ab'amalala bansimidde obunnya
Abatagoberera mateeka go.
86 #
Zab 35:19; 109:26 Bye walagira byonna bya bwesigwa:
Banjigganya awatali nsonga: ggwe onnyambe.
87Baabulako katono banzikirize ku nsi;
Naye ne sireka biragiro byo.
88Onzuukize ng'ekisa kyo ekirungi bwe kiri;
Bwe ntyo bwe nnaakwatanga akamwa ko bye kategeeza.
LAMEDI
89 #
Is 40:8, Mat 24:35 Emirembe gyonna, ai Mukama,
Ekigambo kyo kinyweredde mu ggulu.
90 #
Zab 148:6, Mub 1:4, Yer 33:25 Obwesigwa bwo bubeerera emirembe gyonna:
Wanyweza ensi, n'ebeererawo.
91Bikyaliwo leero nga bwe walagira;
Kubanga ebintu byonna baddu bo.
92Singa amateeka go si ge gansanyusa,
Nandizikiridde bwe nnabonyaabonyezebwa.
93Seerabirenga biragiro byo ennaku zonna;
Kubanga wanzuukiza n'ebyo.
94Nze ndi wuwo, ondokole;
Kubanga naanoonyanga ebiragiro byo.
95Ababi bannindiridde okunzikiriza;
Naye nze naalowoozanga bye wategeeza.
96Ndabye ebintu byonna ebyatuukirira gye bikoma;
Naye ekiragiro kyo kigazi nnyo.
MEMU
97 #
Zab 1:2
Amateeka go nga ngaagala!
Ago ge nfumiitiriza okuzibya obudde.
98 #
Ma 4:6
Bye walagira bingeziwaza okusinga abalabe bange;
Kubanga bali wamu nange ennaku zonna.
99 #
2 Tim 3:15
Nnina okutegeera okusinga abayigiriza bange bonna;
Kubanga bye wategeeza bye ndowooza.
100 #
Yob 12:12; 32:7-9 Ntegeera okukira abakadde,
Kubanga neekuumanga ebiragiro byo.
101 #
Nge 1:15
Naaziyizanga ebigere byange obutatambula mu kkubo ebbi lyonna,
Ndyoke nkwatenga ekigambo kyo.
102Seekooloobyanga kuleka misango gyo;
Kubanga ggwe wanjigirizanga.
103 #
Zab 19:10
Ebigambo byo nga bimpoomera mu kibuno kyange!
Bisinga omubisi gw'enjuki mu kamwa kange!
104Ebiragiro byo bye binfunya okutegeera:
Kyenvudde nkyawa buli kkubo ery'obulimba.
NUUNI
105 #
Nge 6:23, 2 Peet 1:19 Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange,
N'omusana eri ekkubo lyange.
106 #
Nek 10:29
Nalayira, era nkikakasizza kino,
Nga naakwatanga emisango gyo egy'ensonga.
107Mbonyaabonyezebwa nnyo;
Onzuukize, ai Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri.
108 #
Kos 14:2, Beb 13:15 Okkirize, nkwegayiridde, ebyo akamwa kange bye kaakuwa, ai Mukama, nga tekaawalirirzibwa,
Era onjigirizenga emisango gyo.
109 #
Balam 12:3
Emmeeme yange eri mu mukono gwange ennaku zonna;
Naye seerabira mateeka go.
110 #
Zab 91:3
Ababi bantegedde omutego;
Naye sikyamanga kuleka biragiro byo.
111 #
Ma 33:4, Yer 15:16 Bye wategeeza mbitutte okuba obusika obutaliggwaawo;
Kubanga ebyo bye binsanyusa omutima gwange.
112 #
Zab 119:33
Mpese omutima gwange okutuukiriza amateeka go,
Emirembe gyonna, okutuusa enkomerero.
SAMEKI
113 #
1 Bassek 18:21, Yak 1:8 Nkyaye abo abalina emyoyo egy'obulimba;
Naye amateeka go ge njagala.
114 #
Zab 3:3; 32:7 Ggwe oli kifo kyange kye nneekwekamu, n'engabo yange:
Nsuubira ekigambo kyo.
115 #
Zab 6:8
Mugende mumbeere wala, mmwe abakozi b'obubi;
Ndyoke neekuumenga Katonda wange bye yalagira.
116 #
Zab 25:2; 146:5, Bar 5:5 Ompanirire ng'ekigambo kyo bwe kiri, mbeerenga omulamu;
Nneme okukwatibwanga ensonyi olw'essuubi lyange.
117Ggwe ompanirire, nange naabeerangawo mirembe,
Era neegenderezanga amateeka go ennaku zonna.
118Onyoomye abo bonna abakyama okuleka amateeka go;
Kubanga obukuusakuusa bwabwe bulimba.
119 #
Is 1:25, Ez 22:18, Mal 3:3 Omalawo ababi bonna ab'ensi ng'amasengere:
Kyenvudde njagala ebyo bye wategeeza.
120 #
Kaab 3:16
Omubiri gwange gukankana olw'okukutya;
Era ntya emisango gyo.
AYINI
121Nkoze eby'omusango n'eby'obutuukirivu:
Tondekera abo abanjooga.
122 #
Yob 17:3
Weeyimirire omuddu wo olw'obulungi:
Ab'amalala baleme okunjooganga.
123 #
Zab 69:3
Amaaso gange ganzibye olw'obulokozi bwo,
N'olw'ekigambo kyo ekituukirivu.
124Okole omuddu wo ng'okusaasira kwo bwe kuli,
Era onjigirizenga amateeka go.
125 #
Zab 116:16
Nze ndi muddu wo, ompe okutegeera;
Ndyoke mmanye ebyo bye wategeeza.
126Obudde butuuse Mukama okukola emirimu;
Kubanga badibizza amateeka go.
127 #
Zab 119:72
Kyenvudde njagala ebyo bye walagira
Okusinga ezaabu, weewaawo, okusinga ezaabu ennungi.
128Kyenvudde ndowooza ebiragiro byo byonna eby'ebigambo byonna nga bya nsonga;
Era nkyaye buli kkubo ery'obulimba.
PE
129Bye wategeeza bya kitalo:
Emmeeme yange kyeva ebyekuuma.
130 #
Zab 19:7
Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana;
Biwa okutegeera abatalina magezi.
131 #
Yob 29:23, Zab 42:1 Nayasama nnyo akamwa kange ne mpeevuuma;
Kubanga nayaayaanira ebyo bye walagira.
132 #
Zab 25:16
Onkyukire, onsaasire,
Nga bw'oyisa okusaasira abo abaagala erinnya lyo.
133 #
Zab 19:13
Oluŋŋamizenga ebigere byange mu kigambo kyo;
So obutali butuukirivu bwonna buleme okunfuganga.
134 #
Luk 1:74
Onnunule nneme okujoogebwanga abantu:
Bwe ntyo bwe nnaakwatanga ebiragiro byo.
135 #
Zab 4:6
Oyakize amaaso go omuddu wo;
Era onjigirizenga amateeka go.
136 #
Yer 9:1,18; 14:17 Amaaso gange gakulukuta emigga gy'amazzi,
Kubanga tebakwata mateeka go.
TIZADDE
137 #
Ezer 9:15, Zab 116:5, Dan 9:7 Oli mutuukirivu, ai Mukama,
N'emisango gyo gya nsonga.
138 #
Zab 19:7-9
Walagira bye wategeeza mu butuukirivu
Ne mu bwesigwa ddala ddala.
139 #
Zab 69:9
Obuggya bwange bunzikirizza,
Kubanga abalabe bange beerabidde ebigambo byo.
140 #
Zab 12:6
Ekigambo kyo kirongoofu nnyo;
Omuddu wo kyava akyagala.
141Nze ndi muto, nnyoomebwa:
Naye seerabira biragiro byo.
142 #
Zab 19:9, Yok 17:17 Obutuukirivu bwo bwe butuukirivu obw'emirembe gyonna,
N'amateeka go ge mazima.
143 #
Zab 119:24
Ennaku n'okulumwa bindabye:
Naye bye walagira bye binsanyusa.
144 #
Yob 32:8
Bye wategeeza bya butuukirivu
emirembe gyonna:
Ompe okutegeera, nange naabeeranga mulamu.
KOOFU
145 #
Zab 119:2
Nkoowodde n'omutima gwange gwonna; ompitabe, ai Mukama:
Naakuumanga amateeka go.
146Nkukoowodde; ondokole,
Nange naakwatanga ebyo bye wategeeza.
147 #
Zab 5:3; 130:5 Nakeera emmambya nga tennasala, ne nkoowoola:
Nasuubira ebigambo byo.
148 #
Zab 119:55
Amaaso gange gaasooka ebisisimuka by'ekiro,
Nfumiitirize ekigambo kyo.
149Owulire eddoboozi lyange ng'ekisa kyo bwe kiri:
Onzuukize, ai Mukama, ng'emisango gyo bwe giri:
150Basembera abagoberera obubi;
Bali wala amateeka go.
151 #
Zab 145:18
Ggwe oli kumpi, ai Mukama;
Ne byonna bye walagira ge mazima.
152 #
Zab 119:89
Edda n'edda namanyanga olw'ebyo bye wategeeza,
Nga wabinyweza emirembe gyonna.
REESI
153 #
Yob 36:15
Olowoozenga okubonaabona kwange, omponye;
Kubanga seerabira mateeka go.
154 #
1 Sam 24:15, Mi 7:9 Ompolereze ensonga yange, onnunule:
Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kiri.
155 #
Yob 5:4
Obulokozi buba wala ababi;
Kubanga tebanoonya mateeka go.
156 #
2 Sam 24:14
Okusaasira kwo okulungi kungi, ai Mukama:
Onzuukize ng'emisango gyo bwe giri.
157 #
Zab 3:1,2 Abanjigganya n'abankyawa bangi:
Naye seekooloobyanga kuleka bye wategeeza.
158 #
Yer 3:20
Nalaba abo abakola eby'enkwe, ne nnakuwala;
Kubanga tebakwata kigambo kyo.
159Olowooze bwe njagala ebiragiro byo:
Onzuukize, ai Mukama, ng'ekisa kyo bwe kiri.
160 #
Zab 139:17
Ekigambo kyo kyonna kyonna mazima;
N'emisango gyo egy'ensonga gyonna gyonna gibeerera emirembe gyonna.
SINI
161 #
1 Sam 24:11
Abalangira banjigganyizza awatali nsonga;
Naye omutima gwange gutya nnyo ebigambo byo.
162 #
Zab 2:11, Is 9:3, Yer 15:16 Nsanyukira ekigambo kyo,
Ng'alaba omunyago omungi.
163Nkyaye obulimba, mbutamwa;
Naye amateeka go ge njagala.
164Emirundi musanvu buli lunaku nkutendereza;
Olw'emisango gyo egy'ensonga.
165 #
Zab 37:11,37, Nge 3:2, Is 32:17, 1 Yok 2:10 Abaagala amateeka go balina emirembe mingi;
So tebaliiko kibeesittaza.
166 #
Lub 49:18
Nsuubidde obulokozi bwo, ai Mukama,
Era nkoze bye walagira.
167Emmeeme yange yakwatanga bye wategeeza;
Era mbyagala kitalo.
168 #
Yob 34:21, Zab 139:3, Nge 5:21 Naakwatanga ebiragiro byo n'ebyo bye wategeeza;
Kubanga amakubo gange gonna gali mu maaso go.
TAWU
169 #
Nge 2:6, Yak 1:5 Okukaaba kwange kusemberenga mu maaso go, ai Mukama:
Ompe okutegeeranga ng'ekigambo kyo bwe kiri.
170Okwegayirira kwange kujjenga mu maaso go:
Omponye ng'ekigambo kyo bwe kiri.
171 #
Zab 145:7
Emimwa gyange gyogere ettendo;
Kubanga onjigiriza amateeka go.
172Olulimi lwange luyimbe ku kigambo kyo;
Kubanga bye walagira byonna bwe butuukirivu.
173 #
Yos 24:22, Nge 1:29, Luk 10:42 Omukono gwo gube nga gweteeseteese okunnyamba;
Kubanga nneerobozza ebiragiro byo.
174 #
Zab 119:20,24 Njaayaanidde obulokozi bwo, ai Mukama;
Era amateeka go ge gansanyusa.
175Emmeeme yange ebeerenga ennamu, era eneekutenderezanga;
N'emisango gyo ginnyambenga,
176 #
Is 53:6, Mat 18:12, Luk 15:4, 1 Peet 2:25 Nakyama ng'endiga ebuze; noonya omuddu wo;
Kubanga seerabira bye walagira.
Currently Selected:
Zabbuli 119: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.