YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 116

116
1 # Zab 18:1; 66:19 Mmwagala Mukama, kubanga awulidde
Eddoboozi lyange n'okwegayirira kwange.
2Kubanga antegedde okutu,
Kyennaavanga mmukoowoola nga nkyali mulamu.
3 # Zab 18:4,5 Emigwa egy'okufa gyansiba.
N'okulumwa kw'emagombe kwankwata:
Ne ndaba ennaku n'okutegana.
4 # Zab 18:6; 118:5 Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama;
Nti Ai Mukama, nkwegayiridde, omponye emmeeme yange.
5 # Ezer 9:15, Nek 9:8, Zab 11:7; 86:15, Yer 12:1, Kub 16:5 Mukama wa kisa, era mutuukirivu;
Weewaawo, Katonda waffe alina okusaasira.
6 # Zab 142:6 Mukama akuuma abo abatalina nkwe:
Najeezebwa, n'andokola.
7 # Zab 13:6, Yer 6:16, Mat 11:29 Komawo mu kiwummulo kyo, ggwe emmeeme yange;
Kubanga Mukama akukoledde eby'ekisa ekingi.
8 # Zab 56:13 Kubanga omponyezza emmeeme okufa,
Amaaso gange obutakaaba maziga,
N'ebigere byange obutagwa.
9Naatambuliranga mu maaso ga Mukama
Mu nsi y'abalamu.
10 # 2 Kol 4:13 Nzikiriza, kubanga ndyogera:
Nabonyaabonyezebwa nnyo:
11 # Zab 31:22; 62:9, Yer 9:5 Ne njogera nga nnyanguwa
Nti Abantu bonna bulimba.
12Kiki kye ndisasula Mukama
Olw'ebirungi bye byonna eri nze?
13 # Zab 16:5; 105:1 Nditoola akakompe ak'obulokozi,
Era ndikaabira erinnya lya Mukama.
14 # Zab 50:14, Yon 2:9 Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama,
Weewaawo, mu maaso g'abantu be bonna.
15 # Zab 86:16; 119:125 Okufa kw'abatukuvu be
Kwa muwendo mungi mu maaso ga Mukama.
16Ai Mukama, mazima nze ndi muddu wo:
Nze ndi muddu wo, era omwana w'omuzaana wo;
Osumuludde ebyansiba.
17Ndikuwa ssaddaaka ey'okwebaza,
Era ndikaabira erinnya lya Mukama.
18Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama,
Weewaawo, mu maaso g'abantu be bonna;
19Mu mpya z'ennyumba ya Mukama,
Wakati mu ggwe, ggwe Yerusaalemi.
Mumutendereze Mukama.

Currently Selected:

Zabbuli 116: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in