Zabbuli 115
115
1 #
Is 48:11, Ez 36:22 Si ffe, ai Mukama, si ffe,
Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwa ekitiibwa
Olw'okusaasira kwo, n'olw'amazima go.
2 #
Zab 42:3,10; 79:10, Yo 2:17 Kiki ekinaaba kiboogeza ab'amawanga
Nti Katonda waabwe ali ludda wa kaakano?
3 #
Zab 135:6, Dan 4:35 Naye Katonda waffe ali mu ggulu:
Akoze bye yayagala byonna.
4 #
Ma 4:28, Is 37:19, Yer 10:3-5 #
Zab 135:15-18
Ebifaananyi byabwe ye ffeeza, ye zaabu,
Omulimu ogw'emikono gy'abantu.
5 #
Kaab 2:18, Kub 9:20 Birina obumwa, naye tebyogera;
Birina amaaso, naye tebiraba;
6Birina amatu, naye tebiwulira;
Birina ennyindo, naye tebiwunyiriza;
7 #
Is 46:7
Birina engalo, naye tebizikwasa kintu;
Birina ebigere, naye tebitambula;
So tebyogeza bulago bwabyo.
8 #
Is 44:9, Yon 2:8 Ababikola balibifaanana;
Weewaawo, buli abyesiga.
9 #
Zab 33:20; 62:8; 118:2-4; 135:19,20 Ggwe Isiraeri, mwesigenga Mukama:
Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe.
10Ggwe ennyumba ya Alooni, mwesigenga Mukama:
Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe.
11Mmwe abatya Mukama, mwesigenga Mukama:
Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe.
12Mukama atujjukidde; alituwa omukisa;
Aliwa omukisa ennyumba ya Isiraeri;
Aliwa omukisa ennyumba ya Alooni.
13 #
Zab 112:1, Kub 19:5 Aliwa omukisa abo abatya Mukama,
Abato era n'abakulu.
14 #
Ma 1:11
Mukama ayongerenga bulijjo okubaaza.
Mmwe n'abaana bammwe.
15 #
Zab 134:3
Mmwe muweereddwa Mukama omukisa,
Eyakola eggulu n'ensi.
16Eggulu lye ggulu lya Mukama;
Naye ensi yagiwa abaana b'abantu.
17 #
Zab 6:5
Abafu tebatendereza Mukama,
Newakubadde abo bonna abakka mu kusirika;
18 #
Zab 113:2, Dan 2:20 Naye ffe tuneebazanga Mukama
Okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
Mumutendereze Mukama.
Currently Selected:
Zabbuli 115: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.