Zabbuli 112
112
1 #
Zab 1:2; 104:35; 128:1 Mumutendereze Mukama.
Alina omukisa oyo atya Mukama,
Asanyukira ennyo amateeka ge.
2 #
Nge 20:7
Ezzadde lye linaabanga lya maanyi ku nsi:
Ezzadde ly'abatuukirivu linaabanga n'omukisa.
3 #
Nge 3:16; 15:6 Ebintu n'obugagga biri mu nnyumba ye:
N'obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.
4 #
Yob 11:17, Zab 111:4 Eri omutuukirivu omusana gujja awali ekizikiza:
Oyo wa kisa, ajjudde okusaasira, era ye mutuukirivu.
5 #
Zab 37:26
Alaba ebirungi oyo akola eby'ekisa, awola;
Alinyweza ensonga ye bw'alisalirwa omusango.
6 #
Zab 55:22, Nge 10:7 Kubanga taasagaasaganenga emirembe gyonna;
Omutuukirivu anajjukirwanga ennaku zonna ezitaliggwaawo.
7 #
Zab 57:7, Nge 1:33 Taatyenga bigambo bya bubi:
Omutima gwe gunywera, nga gwesiga Mukama.
8 #
Zab 54:7
Omutima gwe gutereera, taatyenga,
Okutuusa lw'aliraba by'ayagala nga bituuse ku balabe be.
9 #
Zab 75:10, Bar 12:13, 2 Kol 9:9, 1 Tim 6:18 Agabye, awadde abaavu;
Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna:
Ejjembe lye lirigulumizibwa n'ekitiibwa.
10 #
Yob 8:13, Mat 8:12 Omubi alibiraba, alirumwa omwoyo;
Aliruma obujiji n'amannyo ge, alinyolwa:
Omubi by'ayagala birifa.
Currently Selected:
Zabbuli 112: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.