1
Zabbuli 112:7
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Taatyenga bigambo bya bubi: Omutima gwe gunywera, nga gwesiga Mukama.
Compare
Explore Zabbuli 112:7
2
Zabbuli 112:1-2
Mumutendereze Mukama. Alina omukisa oyo atya Mukama, Asanyukira ennyo amateeka ge. Ezzadde lye linaabanga lya maanyi ku nsi: Ezzadde ly'abatuukirivu linaabanga n'omukisa.
Explore Zabbuli 112:1-2
3
Zabbuli 112:8
Omutima gwe gutereera, taatyenga, Okutuusa lw'aliraba by'ayagala nga bituuse ku balabe be.
Explore Zabbuli 112:8
4
Zabbuli 112:4
Eri omutuukirivu omusana gujja awali ekizikiza: Oyo wa kisa, ajjudde okusaasira, era ye mutuukirivu.
Explore Zabbuli 112:4
5
Zabbuli 112:5
Alaba ebirungi oyo akola eby'ekisa, awola; Alinyweza ensonga ye bw'alisalirwa omusango.
Explore Zabbuli 112:5
6
Zabbuli 112:6
Kubanga taasagaasaganenga emirembe gyonna; Omutuukirivu anajjukirwanga ennaku zonna ezitaliggwaawo.
Explore Zabbuli 112:6