YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 113

113
1 # Zab 104:35; 135:1 Mumutendereze Mukama.
Mutendereze, mmwe abaddu ba Mukama.
Mutendereze erinnya lya Mukama.
2 # Yob 1:21, Zab 115:18, Dan 2:20 Erinnya lya Mukama lyebazibwenga
Okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
3 # Zab 48:10; 50:1, Mal 1:11 Okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba
Erinnya lya Mukama ligwana okutenderezebwanga.
4 # Zab 8:1; 99:2 Mukama ali waggulu okusinga amawanga gonna,
N'ekitiibwa kye okusinga eggulu.
5 # Zab 35:10; 138:6, Is 57:15 Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe,
Alina entebe ye waggulu,
6Eyeetoowaza okutunuulira
Ebiri mu ggulu ne mu nsi?
7 # 1 Sam 2:8, Yob 36:7, Zab 107:41 Ayimusa omwavu mu nfuufu,
Agolokosa omunafu mu lubungo;
8Amutuuze wamu n'abalangira,
Wamu n'abalangira ab'abantu be.
9 # 1 Sam 2:5, Zab 68:6 Atuuza mu nju omukazi omugumba,
N'amusanyusa ng'amuzaazizza abaana.
Mumutendereze Mukama.

Currently Selected:

Zabbuli 113: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in