YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 103

103
Zabbuli ya Dawudi.
1 # Zab 104:1 Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange;
Ne byonna ebiri munda yange, mwebaze erinnya lye ettukuvu.
2 # Ma 6:12 Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange,
So teweerabira birungi bye byonna:
3 # Kuv 15:26; 34:7, Is 33:24, Yer 17:14, Mak 2:5, Luk 7:47 Asonyiwa ebikolwa byo byonna ebitali bya butuukirivu;
Awonya endwadde zo zonna;
4 # Zab 56:13 Anunula obulamu bwo buleme okuzikirira;
Akussaako engule ey'ekisa n'okusaasira okulungi:
5 # Zab 107:9, Is 40:31 Akkusa akamwa ko ebirungi;
Obuvubuka bwo ne budda obuggya ng'empungu.
6 # Zab 146:7 Mukama akola eby'obutuukirivu,
Atuukiriza emisango ku lw'abo bonna abajoogebwa.
7 # Kuv 33:13; 34:10 Yamanyisa Musa amakubo ge,
N'ebikolwa bye eri abaana ba Isiraeri.
8 # Zab 86:15 Mukama ajjudde okusaasira n'ekisa,
Alwawo okusunguwala, alina
okusonyiwa okungi.
9 # Is 57:16, Yer 3:5,12, Mi 7:18 Taanenyenga ennaku zonna;
So taabenga na busungu mirembe gyonna.
10 # Ezer 9:13 Tatukoze ng'ebibi byaffe bwe biri,
So tatusasudde ng'ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11 # Zab 117:2, Luk 1:50 Kuba eggulu nga bwe liri waggulu okusinga ensi,
N'okusaasira kwe bwe kuli okungi bwe kutyo eri abo abamutya.
12 # Is 38:17, Mi 7:19 Ebuvanjuba n'ebugwanjuba bwe biri ewala,
Bw'atyo bw'atutadde ewala ebyonoono byaffe.
13 # Mal 3:17 Nga kitaabwe bw'asaasira abaana be,
Ne Mukama bw'asaasira bw'atyo abamutya.
14 # Lub 3:19, Zab 78:39, Mub 12:7 Kubanga amanyi omubiri gwaffe;
Ajjukira nga ffe tuli nfuufu.
15 # Yob 14:2, Zab 90:5 Omuntu, ennaku ze ziri ng'omuddo;
Ng'ekimuli eky'omu nsiko, bw'ayera bw'atyo.
16 # Yob 7:10, Is 40:7 Kubanga empewo zikikuntako, ne kiba nga kigenze;
N'ekifo kyakyo tekirikimanya nate.
17Naye okusaasira kwa Mukama kwava mu mirembe gyonna era kulituuka mu mirembe gyonna eri abamutya,
N'obutuukirivu bwe eri abaana b'abaana;
18 # Ma 7:9 Eri abo abakwata endagaano ye,
N'eri abo abajjukira ebiragiro bye okubikola.
19 # Zab 47:2; 93:2, Dan 4:7 Mukama yanyweza entebe ye mu ggulu;
N'obwakabaka bwe bufuga byonna.
20 # Zab 148:2, Mat 6:10, Luk 2:13 Mumwebaze Mukama, mmwe bamalayika be:
Mmwe abazira ab'amaanyi, abatuukiriza ekigambo kye,
Nga muwulira eddoboozi ery'ekigambo kye.
21 # Lub 32:2, Dan 7:10, Beb 1:14 Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna eggye lye;
Abaweereza be, abakola by'ayagala.
22 # Zab 103:1; 145:10 Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna emirimu gye,
Mu bifo byonna by'afugiramu:
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.

Currently Selected:

Zabbuli 103: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in