YouVersion Logo
Search Icon

Engero 1

1
1 # 1 Bassek 4:32, Nge 10:1; 25:1, Mub 12:9 Engero za Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isiraeri:
2Okumanyanga amagezi n'okuyigirizibwanga;
Okwawulanga ebigambo eby'okutegeera;
3 # Nge 2:9 Okukkiriza okuyigirizibwanga okukolanga eby'amagezi,
Obutuukirivu n'okusalanga emisango n'okugobereranga ensonga;
4Okuwanga abatalina magezi obukabakaba,
Omulenzi abeerenga n'okumanya n'okuteesa:
5Ow'amagezi awulire yeeyongerenga okuba n'okuyiga;
Era omusajja alina okutegeera afune okuteesanga okutuufu:
6 # Zab 78:2 Okutegeeranga olugero n'ekifaananyi;
Ebigambo eby'abagezigezi n'ebikokko byabwe.
7 # Yob 28:28, Zab 111:10, Nge 9:10; 15:33 Mu kutya Mukama okumanya mwe kusookera:
Naye abasirusiru banyooma amagezi n'okuyigirizibwanga.
8Mwana wange, wulira okuyigirizanga kwa kitaawo,
So tova mu tteeka lya nnyoko:
9 # Lub 41:42, Dan 5:29 Kubanga binaabanga ngule ya kisa ku mutwe gwo,
N'emikuufu egyetoolodde obulago bwo.
10Mwana wange, abalina ebibi bwe bakusendasenda,
Tokkirizanga.
11Bwe boogera nti Jjangu tugende fenna,
Tuteege omusaayi,
Tugwire mu kyama ataliiko musango awatali nsonga;
12 # Kubal 16:32,33 Tubamire nga bakyali balamu ng'amagombe,
Era nga bakyali balamba ng'abo abakka mu bunnya;
13Tuliraba ebintu byonna eby'omuwendo omungi,
Tulijjuza ennyumba zaffe omunyago;
14Oneekubira akalulu wamu naffe;
Fenna tunaabanga n'ensawo emu:
15 # Zab 1:1 Mwana wange, totambuliranga mu kkubo wamu nabo:
Ziyizanga ekigere kyo okuyitanga mu lugendo lwabwe:
16 # Is 59:7, Bar 3:15 Kubanga ebigere byabwe bidduka mbiro okugoberera obubi,
Era byanguwa okuyiwa omusaayi.
17Kubanga bategera bwereere ekitimba,
Ennyonyi yonna ng'ekiraba:
18Era abo bateega omusaayi gwabwe bo,
Bagwira mu kyama obulamu bwabwe bo.
19Bwe gatyo bwe gabeera amakubo aga buli muntu eyeegomba amagoba;
Gaggyawo obulamu bwa bannyini go.
20 # Nge 8:1-3; 9:3 Amagezi googerera waggulu mu luguudo;
Galeeta eddoboozi lyago mu bifo ebigazi;
21Googerera waggulu mu kifo ekikulu eky'okukuŋŋaaniramu;
Awayingirirwa mu miryango,
Mu kibuga mwe galeetera ebigambo byago:
22Mmwe abatalina magezi, mulituusa wa okwagalanga obutaba na magezi?
N'abanyooma okusanyukiranga okunyooma,
N'abasirusiru okukyawanga okumanya?
23 # Yo 2:28 Mukyuke olw'okunenya kwange:
Laba, naafukanga omwoyo gwange gye muli,
Naabamanyisanga ebigambo byange.
24 # Is 65:12, Yer 7:13, Zek 7:11, Bar 10:21 Kubanga mpise, mmwe ne mugaana;
Ngolodde omukono gwange, so tewali muntu assizzaayo mwoyo;
25 # Zab 107:11, Luk 7:30 Naye mujjuludde okuteesa kwange kwonna,
So temwagadde kunenya kwange n'akatono:
26 # Zab 2:4 Era nange ndisekera ku lunaku kwe mulirabira ennaku;
Ndikudaala entiisa yammwe bw'erituuka;
27Entiisa yammwe bw'erituuka ng'omuyaga,
N'ennaku ze muliraba bwe zirijja ng'embuyaga ez'akazimu;
Okweraliikirira n'obubalagaze bwe biribajjira.
28 # 1 Sam 8:18, Mi 3:4 Kale bwe balinkaabira, naye siriddamu;
Balinnoonya nnyo, naye tebalindaba:
29 # Yob 21:14 Kubanga baakyawanga okumanya,
So tebeerobozanga kutya Mukama:
30 # Zab 107:11 Tebaayagalanga kuteesa kwange n'akatono;
Baanyoomanga okunenya kwange kwonna:
31 # Yer 6:19 Kyebaliva balya ku bibala eby'ekkubo lyabwe bo,
Ne bakkuta enkwe zaabwe bo.
32 # Yer 2:19 Kubanga okudda ennyuma okw'abatalina magezi kulibatta,
N'okulaba omukisa okw'abasirusiru kulibazikiriza.
33 # Zab 25:13; 112:7 Naye buli anaawuliranga nze anaabeeranga mirembe,
Era anaatereeranga nga tewali kutya kabi.

Currently Selected:

Engero 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy