YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 150

150
1 # Zab 68:34 Mumutendereze Mukama.
Mumutendereze Katonda mu watukuvu we:
Mumutendereze mu bbanga ery'amaanyi ge
2 # Ma 3:24, Zab 145:12 Mumutendereze olw'ebikolwa bye eby'amaanyi:
Mumutendereze ng'obukulu bwe obulungi bwe buli.
3 # Zab 98:5,6 Mumutendereze n'eddoboozi ery'ekkondeere:
Mumutendereze n'amadinda n'ennanga.
4 # Yob 21:12, Zab 149:3, Is 38:20 Mumutendereze n'ekitaasa n'okuzina:
Mumutendereze n'ebyo ebirina engoye n'endere.
5 # 1 Byom 15:28 Mumutendereze n'ebitaasa ebivuga ennyo:
Mumutendereze n'ebitaasa eby'eddoboozi ettono.
6 # Zab 145:21, Kub 5:13 Buli ekirina omukka kimutendereze Mukama.
Mumutendereze Mukama.

Currently Selected:

Zabbuli 150: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy