YouVersion Logo
Search Icon

Engero 2

2
1Mwana wange, bw'onokkirizanga ebigambo byange,
N'oterekanga ebiragiro byange ewuwo;
2N'okutega n'oteganga okutu kwo eri amagezi
N'ossangayo omutima gwo eri okutegeera;
3Weewaawo, bw'onookaabiranga okumanya,
N'oliriranga okutegeera.
4Bw'onooganoonyanga nga ffeeza,
N'ogakenneenyanga ng'eby'obugagga ebyakwekebwa;
5Kale lw'olitegeera okutya Mukama,
N'ovumbula okumanya Katonda.
6 # Yob 32:8 Kubanga Mukama awa amagezi;
Mu kamwa ke mwe mufuluma okumanya n'okutegeera:
7 # Zab 84:11 Aterekera abagolokofu amagezi amatuufu,
Aba ngabo eri abo abatambulira mu butayonoona;
8 # 1 Sam 2:9 Alyoke akuume amakubo ag'omusango,
Era awonye okutambula kw'abatukuvu be.
9Kale lw'olitegeera obutuukirivu n'omusango,
N'eby'ensonga, weewaawo buli kkubo eddungi.
10Kubanga amagezi ganaayingiranga mu mutima gwo,
N'okumanya kunaawoomeranga emmeeme yo;
11 # Nge 6:22 Okuteesa kunaakulabiriranga.
Okutegeera kunaakukuumanga:
12Okukuwonyanga mu kkubo ery'obubi,
Eri abasajja aboogera eby'ekyejo;
13 # Zab 82:5, Yok 3:19,20 Abaleka amakubo ag'obugolokofu,
Okutambuliranga mu makubo ag'ekizikiza;
14 # Yer 11:15 Abasanyuka okukola obubi,
N'ekyejo eky'omubi kye kibawoomera;
15 # Zab 125:5 Amakubo gaabwe makyamukyamu,
N'okugenda kwabwe kwenyoolanyoola:
16 # Nge 7:5 Okukuwonyanga eri omukazi omugenyi,
Eri omugenyi anyumiriza n'ebigambo bye;
17 # Mal 2:14,15 Aleka omukwano ogw'omu buto bwe,
Ne yeerabira endagaano ya Katonda we:
18 # Nge 7:27 Kubanga ennyumba ye etwala mu kufa,
N'amakubo ge eri abafu:
19Tewali abagenda gy'ali abadda nate,
So tebatuuka mu makubo ag'obulamu:
20Olyoke otambulirenga mu kkubo ery'abasajja abalungi,
N'okwata empenda ez'abatuukirivu.
21 # Zab 37:9 Kubanga abagolokofu banaabeeranga mu nsi,
N'abo abatuukirira balisigala omwo.
22 # Zab 37:38; 52:5 Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi,
N'abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.

Currently Selected:

Engero 2: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy