YouVersion Logo
Search Icon

Okubala 24

24
1Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama asiimye okuwa Isiraeri omukisa, n'atagenda, ng'olulala, okunoonya eddogo, naye n'ayolekeza amaaso ge olukoola 2#Kubal 2:2-31, 1 Sam 19:20,23Balamu n'ayimusa amaaso ge, n'alaba Isiraeri nga batudde ng'ebika byabwe bwe byali; omwoyo gwa Katonda ne gumujjako. 3N'ayogera olugero lwe, n'ayogera nti
Balamu, mutabani wa Byoli, ayogera,
Era omusajja eyazibwa amaaso ayogera:
4 # 1 Sam 19:24, Ez 1:28, Dan 8:17, Kub 1:17 Ayogera oyo awulira ebigambo bya Katonda,
Alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna,
Ng'agwa wansi, n'amaaso ge nga gatunula:
5Nti Eweema zo nga nnungi, ggwe Yakobo,
Ennyumba zo, ggwe Isiraeri!
6 # Zab 104:16, Yer 17:8 Zeeyaliiridde ng'ebiwonvu,
Ng'ensuku eziri ku lubalama lw'omugga,
Ng'emiti egy'omugavu Mukama gye yasimba,
Ng'emiti emyerezi egiri ku lubalama lw'amazzi.
7 # 2 Sam 5:12 Amazzi ganaakulukutanga okuva mu nsuwa ze,
N'ensigo ze zinaabanga awali amazzi amangi,
Ne kabaka we anaasinganga Agagi obugulumivu,
N'obwakabaka bwe bunaagulumizibwanga.
8Katonda amuggya mu Misiri;
Alina amaanyi ng'ag'embogo.
Aliriira ddala amawanga abalabe be,
Era alimenyamenya amagumba gaabwe,
N'abakuba okubafumita n'obusaale bwe.
9 # Lub 12:3; 27:29 Yabwama, yagalamira ng'empologoma ennume,
Era ng'empologoma enkazi; ani anaamusaggula?
Aweebwenga omukisa buli anaakusabiranga omukisa,
Era akolimirwenga buli anaakukolimiranga.
10Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira Balamu, n'akuba mu ngalo: Balaki n'agamba Balamu nti Nakuyita okukolimira abalabe bange, era, laba, obasabiridde ddala omukisa emirundi gino gyonsatule. 11Kale nno dduka oddeyo ewuwo: mbadde njagala okukukuza obeere n'ekitiibwa kingi nnyo; naye, laba, Mukama akuziyizizza okuba n'ekitiibwa. 12Balamu n'agamba Balaki nti Era saagamba n'ababaka bo be wantumira 13nti Balaki bw'alyagala okumpa ennyumba ye ng'ejjudde effeeza n'ezaabu, siyinza kuyita ku kigambo kya Mukama, okukola ebirungi newakubadde ebibi, nga nnyima mu magezi gange nze; Mukama ky'anaayogera nange kye nnaayogera? 14Era kaakano, laba, ŋŋenda eri abantu bange: jjangu nkutegeeze abantu bano bye balikola abantu bo mu nnaku ez'oluvannyuma. 15N'agera olugero lwe, n'ayogera nti
Balamu mutabani wa Byoli ayogera,
Era omusajja eyazibwa amaaso ayogera:
16Oyo ayogera awulira ebigambo bya Katonda.
Era amanyi okumanya kw'oyo ali waggulu ennyo,
Alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna,
Ng'agwa wansi, n'amaaso ge nga gatunula:
17 # Lub 49:10, Yer 48:45, Mat 2:2, Kub 22:16 Nti Mmulaba, naye si kaakano:
Mmutunuulira, naye tandi kumpi:
Muliva emmunyeenye mu Yakobo,
N'omuggo ogw'obwakabaka guliyimuka mu Isiraeri,
Gulikubira ddala ensonda za Mowaabu,
Gulimenyera ddala abaana bonna ab'oluyoogaano.
18 # Lub 27:37, 2 Sam 8:14, Zab 60:8,9, Am 9:12 Kale Edomu aliba butaka,
Era ne Seyiri aliba butaka, abaali abalabe be;
Isiraeri ng'akola eby'obuzira.
19Era muliva mu Yakobo omu aliba n'okufuga,
Alizikiriza abalifikkawo mu kibuga.
20 # 1 Sam 15:3 N'atunuulira Amaleki, n'agera olugero lwe n'ayogera nti
Amaleki yali wa lubereberye mu mawanga;
Naye enkomerero ye ey'oluvannyuma erituuka mu kuzikirira.
21N'atunuulira Omukeeni, n'agera olugero lwe n'ayogera nti
Ekifo kyo eky'okutuulamu kya maanyi,
N'ekisu kyo kyateekebwa ku lwazi.
22Naye Kayini alinyagibwa,
Okutuusa Asuli lw'alikutwala mu busibe.
23N'agera olugero lwe, n'ayogera nti
Zitusanze, ani aliba omulamu Katonda bw'alikola kino?
24 # Lub 10:4,21,25, Dan 11:30 Naye ebyombo biriva ku ttale ly'e Kittimu,
Biribonereza Asuli, biribonereza ne Eberi,
Era naye alituuka mu kuzikirira.
25Balamu n'agolokoka, n'agenda n'addayo mu kifo kye: ne Balaki n'addayo.

Currently Selected:

Okubala 24: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Okubala 24