YouVersion Logo
Search Icon

Okubala 25

25
1 # Kubal 31:16; 33:49, Mi 6:5, 2 Peet 2:15, Kub 2:14 Isiraeri n'abeera e Sitimu, abantu ne batanula okwenda ku bawala ba Mowaabu: 2#Kuv 34:15,16, Yos 22:17kubanga baayitanga abantu okujja ku ssaddaaka za bakatonda baabwe; abantu ne balya ne bavuunamira bakatonda baabwe. 3#Zab 106:28,29Isiraeri ne yeegatta ne Baalipyoli: obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri. 4#Ma 13:17Mukama n'agamba Musa nti Twala abakulu b'abantu bonna, obawanikire Mukama mu maaso g'enjuba, ekiruyi kya Mukama kikyuke kive ku Isiraeri. 5#Kuv 18:25,26; 32:27Musa n'agamba abalamuzi ba Isiraeri nti Mutte buli muntu abasajja be abeegasse ne Baalipyoli. 6Era, laba, omu ku baana ba Isiraeri n'ajja n'aleetera baganda be omukazi Omumidiyaani mu maaso ga Musa ne mu maaso g'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, bwe baali nga bakaabira amaziga ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 7#Kuv 6:25, Zab 106:30Awo Finekaasi mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona bwe yakiraba, n'agolokoka wakati mu kibiina, n'addira effumu mu mukono gwe; 8n'agoberera omusajja Omuisiraeri mu kayumba, n'abafumitira ddala bombi, omusajja Omuisiraeri n'omukazi mu lubuto lwe. Awo kawumpuli n'aziyizibwa bw'atyo ku baana ba Isiraeri. 9#Ma 4:3, 1 Kol 10:8N'abo abaafa kawumpuli baali obukumi bubiri mu enkumi nnya.
10Mukama n'agamba Musa 11#Kuv 20:5, Ma 32:16,21, Zab 78:58, Zef 1:18nti Finekaasi mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona akyusizza obusungu bwange okuva ku baana ba Isiraeri, kubanga akwatiddwa obuggya bwange mu bo, n'okuzikiriza ne sizikiriza baana ba Isiraeri mu buggya bwange. 12#Mal 2:4,5Kyonoova ogamba nti Laba, mmuwa endagaano yange ey'emirembe: 13#Kuv 40:15, 1 Byom 6:4-15era eneebanga gy'ali, n'eri ezzadde lye erinaamuddiriranga, endagaano ey'obwakabona obutaliggwaawo; kubanga yakwatibwa obuggya olwa Katonda we, n'atangirira abaana ba Isiraeri. 14Era omusajja Omuisiraeri eyattibwa, eyattirwa awamu n'omukazi Omumidiyaani, erinnya lye Zimuli, mutabani wa Salu, omukulu w'ennyumba ya bakitaabwe mu Basimyoni. 15#Kubal 31:8N'omukazi Omumidiyaani eyattibwa, erinnya lye Kozebi muwala wa Zuuli; oyo yali mutwe gw'abantu ab'omu nnyumba ya bakitaabwe mu Midiyaani.
16Mukama n'agamba Musa 17nti Beeraliikirize Abamidiyaani obatte: 18kubanga babeeraliikiriza n'enkwe zaabwe, ze baasala ne babasendasenda mu bigambo bya Pyoli ne mu bigambo bya Kozebi, muwala w'omukulu wa Midiyaani, mwannyinaabwe, eyattibwa ku lunaku olwa kawumpuli olw'ebigambo bya Pyoli.

Currently Selected:

Okubala 25: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in