YouVersion Logo
Search Icon

Okubala 23

23
1Balamu n'agamba Balaki nti Nzimbira wano ebyoto musanvu, ontegekere wano ente musanvu n'endiga ennume musanvu. 2Balaki n'akola nga Balamu bwe yayogera; Balaki ne Balamu ne baweerayo ku buli kyoto ente n'endiga ennume. 3Balamu n'agamba Balaki nti Yimirira awali ekyokebwa ky'owaayo, nange naagenda; mpozzi Mukama anajja okusisinkana nange: era buli ky'anandaga naakukibuulira. N'agenda ku lusozi aweeru. 4Katonda n'asisinkana ne Balamu: n'amugamba nti Ntegese ebyoto omusanvu, era mpeereddeyo ente n'endiga ennume ku buli kyoto. 5Mukama n'ateeka ekigambo mu kamwa ka Balamu, n'agamba nti Ddayo eri Balaki, era bw'otyo bw'onooyogera. 6N'addayo eri ye, era yali ayimiridde awali ekyokebwa kye yawaayo, ye n'abakulu bonna aba Mowaabu. 7N'agera olugero lwe, n'ayogera nti
Balaki yanziya mu Alamu,
Kabaka wa Mowaabu yanziya mu nsozi ez'Ebuvanjuba:
Jjangu, onkolimirire Yakobo,
Era jjangu, osoomoze Isiraeri.
8Naakolimira ntya oyo Katonda gw'atakolimiranga?
Naasoomoza ntya oyo Katonda gw'atasoomozanga?
9 # Kuv 33:16, 1 Bassek 8:53 Kubanga nnyima ku ntikko y'amayinja okumulaba,
Ne ku nsozi okumulengera:
Laba, be bantu ababeera bokka,
So tebalibalibwa mu mawanga.
10 # Lub 13:16, Is 57:1,2 Ani ayinza okubala enfuufu ya Yakobo,
Oba okubala kitundu eky'okuna ekya Isiraeri?
Nfe ng'omutuukirivu bw'afa,
N'enkomerero yange ey'oluvannyuma ebe ng'eyiye!
11 # Ma 23:4,5 Balaki n'agamba Balamu nti Onkoze ki? Nkututte okukolimira abalabe bange, era, laba, obasabiridde ddala omukisa. 12N'addamu n'agamba nti Tekiŋŋwanira kwekuuma kwogera ekyo Mukama ky'ateeka mu kamwa kange? 13Balaki n'amugamba nti Jjangu nange, nkwegayiridde, mu kifo ekirala, w'onooyinza okuyima okubalengera; onoolaba ekitundu kyabwe eky'enkomerero kyokka, n'otobalaba bonna: n'oyima eyo okubankolimirira. 14N'amutwala mu ttale lya Zofimu, ku ntikko ya Pisuga, n'azimba ebyoto musanvu, n'aweerayo ente n'endiga ennume ku buli kyoto. 15N'agamba Balaki nti Yimirira wano awali ekyokebwa ky'owaayo, nze nga bwe nnaasisinkana ne Mukama eyo. 16Mukama n'asisinkana ne Balamu, n'ateeka ekigambo mu kamwa ke, n'agamba nti Ddayo eri Balaki, era bw'onooyogera bw'otyo. 17N'ajja gy'ali, era, laba, yali ayimiridde awali ekyokebwa kye yawaayo, n'abakulu ba Mowaabu wamu naye. Balaki n'amugamba nti Mukama ayogedde ki? 18N'ayogera olugero lwe n'ayogera nti
Golokoka, Balaki, owulire;
Ntegera okutu, ggwe mutabani wa Zipoli:
19 # 1 Sam 15:29, Tit 1:2, Beb 6:18 Katonda si muntu, okulimba;
So si mwana wa muntu, okwejjusa:
Ayogedde, n'okukola talikikola?
Oba agambye, n'okutuusa talikituusa?
20 # Lub 12:2, Kubal 22:12 Laba, ndagiddwa okuwa omukisa:
Naye awadde omukisa, nange siyinza kugujjulula.
21 # Kuv 29:45,46, Yer 50:20 Talabye butali butuukirivu ku Yakobo,
So talabye bubambaavu ku Isiraeri:
Mukama Katonda we ali naye,
N'okwogerera waggulu okwa kabaka kuli mu bo.
22 # Ma 33:17 Katonda abaggya mu Misiri;
Alina amaanyi ng'ag'embogo.
23Mazima tewali ddogo awali Yakobo,
So tewali bulaguzi awali Isiraeri:
Kaakano kinaayogerwanga ku Yakobo ne ku Isiraeri,
Nti Katonda ng'akoze!
24Laba, abantu bagolokoka ng'empologoma enkazi
Era beeyimusa ng'empologoma ennume:
Taagalamire okutuusa lw'anaalya ku muyiggo,
N'anywa omusaayi gw'abo abattiddwa.
25Awo Balaki n'agamba Balamu nti Tobakolimiranga n'akatono, so n'omukisa tobasabiranga mukisa n'akatono. 26Naye Balamu n'addamu n'agamba Balaki nti Saakubuulira nti Byonna Mukama by'ayogera, ebyo kiŋŋwanira okubikola? 27Balaki n'agamba Balamu nti Jjangu nno, naakutwala awalala; mpozzi Katonda anaasiima ggwe okuyima eyo okubankolimirira. 28Awo Balaki n'alinnyisa Balamu ku ntikko ya Peoli, kw'oyima okulengera eddungu. 29Balamu n'agamba Balaki nti Nzimbira wano ebyoto musanvu, ontegekere wano ente musanvu n'endiga ennume musanvu. 30Balaki n'akola nga Balamu bwe yayogera, n'aweerayo ku buli kyoto ente n'endiga ennume.

Currently Selected:

Okubala 23: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Okubala 23