YouVersion Logo
Search Icon

Okubala 18

18
1 # Kuv 28:38, Kubal 18:23 Mukama n'agamba Alooni nti Ggwe ne batabani bo n'ennyumba ya bakitammwe wamu naawe munaabangako obutali butuukirivu bw'awatukuvu: era ggwe ne batabani bo wamu naawe munaabangako obutali butuukirivu bw'obwakabona bwammwe. 2#Kubal 3:6-9Ne baganda bo nabo, ekika kya Leevi, ekika kya kitaawo, basembeze wamu naawe, bagattibwe naawe bakuweerezenga: naye ggwe ne batabani bo wamu naawe munaabanga mu maaso g'eweema ey'obujulirwa. 3#Kubal 3:25,31,36; 4:15; 16:40Era banaakuumanga bye wateresebwa, n'ebiteresebwa eby'Eweema yonna: kyokka tebasembereranga bintu bya mu watukuvu n'ekyoto, baleme okufa, bo newakubadde mmwe. 4Era baligattibwa naawe ne bakuuma eweema ey'okusisinkanirangamu nga bwe baateresebwa, olw'okuweereza kwonna okw'omu Weema: ne munnaggwanga tabasembereranga. 5#Kubal 3:38; 16:46Era munaakuumanga awatukuvu nga bwe mwateresebwa, n'ekyoto nga bwe mwateresebwa: walemenga okuba obusungu nate ku baana ba Isiraeri. 6#Kubal 3:9,12Nange, laba, nze nziye baganda bammwe Abaleevi mu baana ba Isiraeri: bo kirabo gye muli, ekiweereddwa eri Mukama, okukolanga okuweereza okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu. 7#Kubal 1:51; 3:10, Beb 9:3,6Naawe ne batabani bo wamu naawe munaakuumiranga obwakabona bwammwe buli kintu eky'ekyoto n'ebyo ebiri munda w'eggigi; era munaaweerezanga: mbawa obwakabona okuba okuweereza kwe muweereddwa: ne munnaggwanga anaasemberanga anattibwanga.
8 # Kuv 29:7,29; 40:13,15, Leev 7:30-34 Mukama n'agamba Alooni nti Nange, laba, nze nkuteresezza ebiweebwayo gye ndi ebisitulibwa, ebintu byonna eby'abaana ba Isiraeri ebitukuzibwa, ggwe mbiwadde olw'okufukibwako amafuta, ne batabani bo, okuba ebbanja ennaku zonna. 9#Leev 2:2,3; 6:25,26; 7:6,7; 10:12,13; 14:13Bino bye binaabanga ebibyo ku bintu ebitukuvu ennyo, ebinaafikkangawo ku muliro: buli kitone kyabwe, buli kye bawaayo eky'obutta, na buli kye bawaayo olw'ekibi, na buli kye bawaayo olw'omusango, bye banansasulanga, binaabanga bitukuvu nnyo, bibyo era bya batabani bo. 10Onoolyangako ng'ebintu ebitukuvu ennyo: buli musajja anaalyangako: binaabanga bitukuvu gy'oli. 11#Kuv 29:27,28, Leev 7:30,34; 10:14; 22:2,3,11-13, Ma 18:3Era bino bibyo: ekirabo kyabwe kye bawaayo ekisitulibwa, byonna abaana ba Isiraeri bye bawaayo ebiwuubibwawuubibwa: mbikuwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo wamu naawe, okuba ebbanja ennaku zonna: buli muntu omulongoofu ali mu nnyumba yo anaalyangako. 12#Kuv 23:19, Ma 18:4Amafuta gonna agasinga obulungi ne zabbibu zonna ezisinga obulungi, ne ku ŋŋaano, ebibereberye ku byo bye banaawanga Mukama, ggwe mbiwadde. 13#Kuv 22:29, Leev 2:14, Ma 26:2Ebibala ebinaasookanga okwengera ku byonna ebiri mu nsi yaabwe, bye banaaleeteranga Mukama, binaabanga bibyo; buli muntu omulongoofu ali mu nnyumba yo anaalyangako. 14#Leev 27:28Buli kintu ekinaawongebwanga mu Isiraeri kinaabanga kikyo. 15#Kuv 13:2,13Buli ekinaggulanga enda, ku byonna ebirina omubiri bye bawaayo eri Mukama, oba nga muntu oba nga nsolo, binaabanga bibyo: naye omubereberye w'omuntu tolemanga kununula, n'embereberye z'ensolo ezitali nnongoofu onoonunulanga. 16#Leev 27:2,6N'ebyo ebinaabanga eby'okununulibwa ku byo ebyakamaze omwezi ogumu onoonunulanga, ng'okubala kwo bwe kunaabanga, n'omuwendo ogwa sekeri ttaano, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri eyo ze gera abiri. 17#Leev 3:1-5, Ma 15:19Naye embereberye y'ente, oba embereberye y'endiga, oba embereberye y'embuzi, tonunulanga; ezo ntukuvu: onoomansiranga omusaayi gwazo ku kyoto, n'oyokya amasavu gaazo okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, okuba evvumbe eddungi eri Mukama. 18#Kuv 29:26-28, Leev 7:34N'ennyama yaazo eneebanga yiyo, ng'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa era ng'ekisambi ekya ddyo, eneebanga yiyo. 19#Leev 2:13, 2 Byom 13:5Byonna ebisitulibwa ebiweebwayo ku bintu ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye bawaayo eri Mukama, nkubiwadde ggwe ne batabani bo ne bawala bo wamu naawe, okuba ebbanja ennaku zonna: ye ndagaano ey'omunnyo eteriggwaawo mu maaso ga Mukama eri ggwe n'eri ezzadde lyo awamu naawe. 20#Ma 10:9; 18:1,2, Yos 13:14,33, Ez 44:28Mukama n'agamba Alooni nti Toobenga na busika mu nsi yaabwe, so toobenga na mugabo gwonna mu bo: nze mugabo gwo n'obusika bwo mu baana ba Isiraeri.
21 # Leev 27:30,32, Ma 12:17-19, Nek 10:37, Beb 7:5 Era abaana ba Leevi, laba, mbawadde ebitundu byonna eby'ekkumi eby'omu Isiraeri okuba obusika, okuba empeera y'okuweereza kwabwe kwe baweereza, kwe kuweereza okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu. 22#Kubal 1:53N'okuva leero abaana ba Isiraeri tebaasembererenga weema ya kusisinkanirangamu, balemenga okubaako ekibi ne bafa. 23Naye Abaleevi banaakolanga okuweereza okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu, nabo banaabangako obutali butuukirivu bwabwe: lino linaabanga tteeka eritaliggwawo mu mirembe gyammwe gyonna, era mu baana ba Isiraeri tebabanga na busika. 24Kubanga ebitundu eby'ekkumi eby'abaana ba Isiraeri, bye bawaayo okuba ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama, bye mbawadde Abaleevi okuba obusika: kyenvudde mbagamba nti Mu baana ba Isiraeri tebabanga na busika.
25Mukama n'agamba Musa nti 26#Nek 10:38Era nate onooyogera n'Abaleevi n'obagamba nti Bwe munaasoloozanga ku baana ba Isiraeri ebitundu eby'ekkumi bye mbawadde ku bo okuba obusika bwammwe, kale munaawangayo ku byo ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama, ekitundu eky'ekkumi eky'ebitundu eby'ekkumi. 27Era kye muwaayo ekisitulibwa kinaabalibwanga gye muli, ng'emmere enkalu ey'omuguuliro, era ng'ebikula mu ssogolero. 28Bwe mutyo nammwe munaggyanga ku bitundu byammwe byonna eby'ekkumi abaana ba Isiraeri bye babawa, okuwaayo ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama; era munaggyanga ku byo okuwa Alooni kabona ekiweebwayo ekya Mukama ekisitulibwa. 29Ku birabo byammwe byonna kwe munaggyanga buli ekiweebwayo ekya Mukama ekisitulibwa, ku ebyo byonna ebisinga obulungi, kye kitundu kyabyo ekitukuzibwa kye muggya ku byo. 30Kyonoova obagamba nti Bwe munaasitulanga ebisinga obulungi ku byo, kale binaabalibwanga eri Abaleevi ng'ekyengera eky'omu gguuliro, era ng'ekyengera eky'omu ssogolero. 31#Mat 10:10, Luk 10:7, 1 Kol 9:13, 1 Tim 5:18Era munaabiriiranga mu buli kifo, mmwe n'ennyumba zammwe: kubanga y'empeera yammwe olw'okuweereza kwammwe okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu. 32#Leev 22:2, Leev 15:31; 22:3So temuubengako kibi olw'ebyo, bwe munaamalanga okusitula ku byo ebisinga obulungi ku byo: so temuvumisanga bintu bitukuvu by'abaana ba Isiraeri; mulemenga okufa.

Currently Selected:

Okubala 18: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in