Okubala 17
17
1Mukama n'agamba Musa 2nti Gamba abaana ba Isiraeri, obaggyeko emiggo, buli nnyumba ya bakitaabwe gumu, ku bakulu baabwe bonna ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, emiggo kkumi n'ebiri: wandiika erinnya lya buli muntu ku muggo gwe. 3Era onoowandiika erinnya lya Alooni ku muggo gwa Leevi: kubanga buli mutwe gw'ennyumba za bakitaabwe omuggo gunaaba gumu. 4#Kuv 25:22Era onoogitereka mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso g'obujulirwa, we nsisinkanira nammwe. 5#Kubal 16:5,11Kale olunaatuuka, omuntu gwe nnaalonda omuggo gwe gunaaloka: nange naamalawo gye ndi okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri, kwe babeemulugunyiza. 6Musa n'agamba abaana ba Isiraeri, abakulu baabwe bonna ne bamuwa emiggo, buli mukulu gumu, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, gy'emiggo kkumi n'ebiri: n'omuggo gwa Alooni gwali mu miggo gyabwe. 7#Kuv 38:21Musa n'atereka emiggo mu maaso ga Mukama mu weema ey'obujulirwa. 8Awo olwatuuka enkya Musa n'ayingira mu weema ey'obujulirwa; era, laba, omuggo gwa Alooni ogw'omu nnyumba ya Leevi nga gumeze ne guloka ne gusansula ne gubala amaloozi amengevu. 9Musa n'afulumya emiggo gyonna eri abaana ba Isiraeri bonna ng'agiggya mu maaso ga Mukama: ne balaba, ne baddira buli muntu omuggo gwe. 10#Kubal 16:38, Beb 9:4Mukama n'agamba Musa nti Zzaayo omuggo gwa Alooni mu maaso g'obujulirwa, okukuumibwanga okuba akabonero eri abaana b'obujeemu; omalewo okwemulugunya kwabwe ku nze, baleme okufa. 11Musa bwe yakola bw'atyo: nga Mukama bwe yamulagira, bwe yakola.
12Abaana ba Isiraeri ne bagamba Musa nti Laba, tuzikirira, tufudde, fenna tufudde. 13#Kubal 1:53; 18:5Buli anaasemberanga, anaasemberanga ku nnyumba ya Mukama, anaafanga: fenna tulizikirira?
Currently Selected:
Okubala 17: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.