YouVersion Logo
Search Icon

Makko 6

6
1 # Mat 13:53-58, Luk 4:15-30 N'avaayo; n'ajja mu nsi y'ewaabwe; abayigirizwa be ne bagenda naye. 2#Yok 7:15Awo ssabbiiti bwe yatuuka, n'atanula okuyigiriza mu kkuŋŋaaniro: abangi bwe baamuwulira ne bawuniikirira, nga bagamba nti Ono ebyo yabiggya wa? era nti Magezi ki gano ge yaweebwa ono, era eby'amagero ebyenkanidde wano ebikolebwa mu mikono gye? 3Si ye wuuno omubazzi, omwana wa Malyamu, muganda wa Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? Ne bannyina tetuli nabo wano ewaffe? Ne bamwesittalako. 4Yesu n'abagamba nti Nnabbi tabulwa kitiibwa wabula mu nsi yaabo, ne mu kika kye, ne mu nnyumba ye. 5#Mak 6:13So teyayinza kukolerayo kyamagero kyonna, naye yassa emikono gye ku balwadde batono, n'abawonya. 6Ne yeewuunya olw'obutakkiriza bwabwe.
Ne yeetooloola mu mbuga enjuyi zonna ng'ayigiriza.
7 # Luk 10:1 N'ayita gy'ali ekkumi n'ababiri, n'atanula okubatuma kinnababirye; n'abawa obuyinza ku dayimooni; 8n'abalagira obutatwala kintu kya mu kkubo wabula omuggo gwokka; si mmere, newakubadde ensawo, newakubadde ebikomo mu nkoba zaabwe, 9naye nga banaanise engatto; era temwambalanga kkanzu bbiri. 10N'abagamba nti Buli nju yonna mwe muyingiranga mubeeranga omwo okutuusa lwe mulivaayo. 11Na buli kifo kyonna ekitalibakkiriza, obutabawulira, bwe muvangayo, mukunkumulanga enfuufu eri mu bigere byammwe okuba omujulirwa gye bali. 12Ne bagenda ne babuulira okwenenya. 13#Yak 5:14,15Ne bagoba dayimooni mungi, ne basiiga amafuta ku balwadde bangi ne babawonya.
14 # Luk 3:19,20 Awo Kerode kabaka n'awulira, kubanga erinnya lye lyatiikiridde; n'agamba nti Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, amaanyi gano kyegava gakolera mu ye. 15Naye abalala ne bagamba nti Ye Eriya. Abalala ne bagamba nti Nnabbi ng'omu ku bannabbi. 16Naye Kerode, bwe yawulira n'agamba nti Yokaana gwe nnatemako omutwe nze, ye azuukidde. 17Kubanga Kerode yennyini yatuma, n'akwata Yokaana, n'amusiba n'amussa mu kkomera olwa Kerodiya, mukazi wa muganda we Firipo: kubanga yamuwasa. 18#Leev 18:16Kubanga Yokaana yagamba Kerode nti Kya muzizo ggwe okubeera ne mukazi wa muganda wo. 19Ne Kerodiya kyeyava amuwerera n'ayagala okumutta, n'atayinza; 20kubanga Kerode yatya Yokaana, ng'amumanyi nga mutuukirivu mutukuvu, n'amwerinda. Yayagalanga nnyo okuwulira by'ayogera; naye ate byamulekanga nga tamanyi kya kukola. 21Awo olunaku olulungi bwe lwatuuka, Kerode lwe yafumbira abakungu be embaga ku lunaku olw'okuzaalibwa kwe, n'abakulu ba sserikale, n'abaami ab'e Ggaliraaya: 22awo muwala wa Kerodiya yennyini bwe yajja n'azina, Kerode n'abo abaali batudde naye nga balya ne bamusiima; awo kabaka n'agamba omuwala nti Nsaba ky'oyagala kyonna, nnaakikuwa. 23#Es 5:3-6N'amulayirira nti Kyonna kyonna ky'ononsaba, nnaakikuwa, newakubadde ekitundu eky'obwakabaka bwange. 24Awo n'afuluma, n'agamba nnyina nti Nnaasaba ki? N'agamba nti Omutwe gwa Yokaana Omubatiza. 25Amangu ago n'ayanguwako n'ajja eri kabaka, n'asaba, ng'agamba nti Njagala ompeere kaakano mu lutiba omutwe gwa Yokaana Omubatiza. 26Awo kabaka n'anakuwala nnyo; naye olw'ebirayiro bye, n'abo abaali batudde naye nga balya, n'atayagala kumumma. 27Amangu ago kabaka n'atuma sserikale omumbowa, n'alagira okuleeta omutwe gwe; n'agenda n'amutemerako omutwe mu kkomera, 28n'aleetera omutwe gwe mu lutiba, n'aguwa omuwala, n'omuwala n'aguwa nnyina. 29Awo abayigirizwa be bwe baawulira, ne bajja ne batwala omulambo gwe, ne baguteeka mu ntaana.
30 # Luk 9:10; 10:17 Abatume ne bakuŋŋaanira awali Yesu; ne bamubuulira ebigambo byonna, bye baakola, ne bye baayigiriza. 31N'abagamba nti Mujje mmwe mwekka kyama mu kifo eteri bantu muwummuleko katono. Kubanga waaliwo bangi abajja n'abagenda, so ne bataba na bbanga newakubadde aw'okuliira. 32#Mat 14:13-21, Luk 9:11-17, Yok 6:1-13Ne bagendera mu lyato kyama mu kifo eteri bantu. 33Ne babalaba nga bagenda, bangi ne babategeera, n'abo abaava mu bibuga byonna ne badduka ku lukalu, ne babasookayo. 34#Kubal 27:17, Ez 34:5, Mat 9:36Bwe yava mu lyato n'alaba ebibiina bingi, n'abasaasira, kubanga baali ng'endiga ezitalina musumba; n'atanula okubayigiriza ebigambo bingi. 35#Mak 8:1-9Awo obudde bwe bwali buyise, abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bagamba nti Ekifo kino kya ddungu, ne kaakano obudde buyise: 36basiibule, bagende mu byalo ne mu mbuga eby'oku njuyi zonna beegulire emmere. 37Naye n'addamu, n'abagamba nti Mmwe mubawe emmere. Ne bamugamba nti Tugende tugule emigaati egy'eddinaali ebibiri tugibawe balye? 38N'abagamba nti Mulina emigaati emeka? mugende mulabe. Bwe baategeera ne bagamba nti Etaano, n'ebyennyanja bibiri. 39N'abalagira batuule bonna bibiina bibiina ku muddo. 40Ne batuula nnyiriri nnyiriri, ekikumi, n'amakumi ataano. 41#Mak 7:34N'akwata emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'atunula waggulu, ne yeebaza, n'amenyamu emigaati, n'awa abayigirizwa be bagisse mu maaso ga bali; n'ebyennyanja bibiri n'abigabira bonna. 42Ne balya bonna ne bakkuta. 43#Ma 28:5Ne bakuŋŋaanya abukunkumuka, ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri, n'ebyennyanja. 44Abo abaalya emigaati baali abasajja enkumi ttaano.
45 # Mat 14:22-36, Yok 6:15-21 Amangu ago n'abawaliriza abayigirizwa be okusaabala mu lyato, basookeyo emitala w'eri e Besusayida, ye amale okusiibula ebibiina. 46Awo bwe yamala okubasiibula, n'agenda ku lusozi okusaba. 47Awo bwe bwali buwungedde, eryato lyali mu nnyanja mu buziba, ye yali yekka ku lukalu. 48Awo bwe yalaba nga bategana okuvuga, kubanga omuyaga gwali gubafulumye mu maaso, mu kisisimuka eky'okuna eky'ekiro n'ajja gye baali ng'atambulira ku nnyanja; yali ng'agenda kubayisa: 49naye bo, bwe baamulaba ng'atambulira ku nnyanja, ne balowooza nti kifaananyi, ne bakaaba; 50kubanga bonna baamulaba, ne beeraliikirira. Naye amangu ago n'ayogera nabo, n'abagamba nti Mugume: nze nzuuno, temutya. 51#Mak 4:39N'alinnya mu lyato mwe baali, omuyaga ne gufa: ne bawuniikirira nnyo munda yaabwe; 52kubanga eby'emigaati tebaabitegeera, naye emitima gyabwe gyali mikakanyavu. 53Awo bwe baawunguka, ne bajja mu nsi ey'e genesaleeti, ne bagoba ettale. 54Awo bwe baava mu lyato, amangu ago ne bamutegeera, 55ne badduka ne beetooloola mu nsi eyo yonna, ne batanula okusitulira ku bitanda abalwadde okubaleeta we baawulira nga w'ali. 56#Mak 5:27,28, Bik 5:15; 19:11,12Ne buli gye yagendanga, mu mbuga, oba mu bibuga, oba mu byalo, bassanga abalwadde mu butale, ne bamwegayirira bakomeko bukomi ku lukugiro lw'olugoye lwe: n'abo abaamukomangako ne bawona.

Currently Selected:

Makko 6: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in