YouVersion Logo
Search Icon

Makko 5

5
1 # Mat 8:28-34, Luk 8:26-40 Ne batuuka emitala w'ennyanja mu nsi y'Abagerasene. 2Bwe yava mu lyato, amangu ago omuntu eyaliko dayimooni eyava mu ntaana n'amusisinkana, 3eyasulanga mu ntaana; nga tewakyali muntu ayinza kumusiba, newakubadde mu lujegere, 4kubanga emirundi mingi yateekebwako mu masamba, ne mu njegere, enjegere n'azikutula, n'amasamba n'agamenyaamenya: ne wataaba muntu wa maanyi okumusobola. 5Naye bulijjo, ekiro n'emisana, yakaabiranga mu ntaana ne ku nsozi, ne yeesala n'amayinja. 6Bwe yalengera Yesu ng'akyali wala, n'adduka n'amusinza; n'akaaba n'eddoboozi ddene 7#Mak 1:24ng'agamba nti Onvunaana ki, Yesu Omwana wa Katonda, Ali waggulu ennyo? Nkulayiza Katonda, tombonereza. 8Kubanga yamugamba nti Va ku muntu ono, ggwe dayimooni. 9N'amubuuza nti Erinnya lyo ggwe ani? N'amugamba nti Erinnya lyange Liigyoni; kubanga tuli bangi. 10N'amwegayirira nnyo aleme okubagoba mu nsi eyo. 11Awo ku lusozi waaliwo eggana ly'embizzi ddene nga zirya. 12N'amwegayirira, ng'amugamba nti tusindike mu mbizzi tuziyingiremu. 13N'amukkiriza. Dayimooni n'avaamu, n'ayingira mu mbizzi: eggana ne lifubutuka ne liserengetera ku bbanga mu nnyanja, zaali nga nkumi bbiri, ne zifiira mu nnyanja. 14Awo abaali bazirunda ne badduka, ne babuulira ab'omu kibuga, n'ab'omu byalo, ne bajja okulaba ebibaddeyo bwe biri. 15Ne batuuka awali Yesu, ne balaba eyaliko dayimooni ng'atudde, ng'ayambadde nga alina amagezi, oyo eyaliko liigyoni; ne batya. 16Abaalaba ne babannyonnyola ebimubaddeko oyo eyaliko dayimooni, era n'eby'embizzi. 17Ne batanula okumwegayirira okuva mu nsalo zaabwe. 18Awo bwe yali ng'asaabala mu lyato, oyo eyaliko dayimooni n'amwegayirira abeere naye. 19N'atamuganya, naye yamugamba nti Genda eka mu babo, obabuulire bwe biri ebikulu Katonda by'akukoledde, ne bw'akusaasidde. 20#Mak 7:31, Mat 4:25N'agenda, n'atanula okubuulira mu Dekapoli bwe biri ebikulu Yesu bye yamukolera. Abantu bonna ne beewuunya.
21Awo Yesu bwe yawunguka nate mu lyato n'atuuka emitala, ebibiina bingi ne bikuŋŋaanira w'ali; ye ng'ali kumpi n'ennyanja. 22#Mat 9:18-26, Luk 8:41-56Omu ow'oku bakulu b'ekkuŋŋaaniro, erinnya lye Yayiro, n'ajja; bwe yamulaba, n'avuunama ku bigere bye, 23#Mak 7:32n'amwegayirira nnyo ng'agamba nti Omuwala wange omuto ali kumpi n'okufa: nkwegayirira ojje, omusseeko emikono gyo, adde mu mbeera ye, alamuke. 24N'agenda naye; ekibiina ekinene ne kimugoberera, ne bamunyigiriza.
25Awo omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri, 26eyatengejja ennyo eri abasawo abangi, n'awangayo bye yali nabyo byonna, so n'atabaako kimugasa, naye ne yeeyongeranga bweyongezi okulwala, 27bwe yawulira ebigambo bya Yesu, n'ajjira mu kibiina emabega we n'akoma ku kyambalo kye. 28Kubanga yagamba nti Bwe nkomako obukomi ku byambalo bye, nnaawona. 29Amangu ago ensulo ey'omusaayi n'ekalira, n'ategeera mu mubiri gwe ng'awonyezebbwa ekibonoobono kye. 30#Luk 6:19Amangu ago Yesu bwe yategeera munda mu ye amaanyi agamuvuddemu, n'akyuka mu kibiina n'agamba nti Ani akomye ku byambalo byange? 31Abayigirizwa be ne bamugamba nti Olaba ekibiina bwe bakunyigiriza, n'ogamba nti Ani ankomyeko? 32Ne yeetoolooza amaaso okulaba oyo akoze ekigambo ekyo. 33Naye omukazi ng'atya ng'akankana, ng'amanyi ky'abadde, n'ajja n'afukamira mu maaso ge, n'amubuulira eby'amazima byonna. 34N'amugamba nti Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza; weegendere n'emirembe, owonere ddala ekibonoobono kyo.
35Awo bwe yali akyayogera, abaava ew'omukulu w'ekkuŋŋaniro ne bajja, nga bagamba nti Omuwala wo afudde; oteganyiza ki nate Omuyigiriza? 36Naye Yesu n'atassaako mwoyo ku kigambo ekyogeddwa, n'agamba omukulu w'ekkuŋŋaaniro nti Totya, kkiriza bukkiriza. 37N'ataganya muntu kugenda naye wabula Peetero ne Yakobo, ne Yokaana, muganda wa Yakobo. 38Ne batuuka ku nnyumba y'omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'alaba okwaziirana, n'abakaaba, n'abakuba ebiwoobe ebingi. 39#Yok 11:11Awo bwe yayingira n'abagamba nti Kiki ekibaaziiranya n'ekibakaabya? omuwala tafudde, naye yeebase bwebasi. 40Ne bamusekerera nnyo. Naye bwe yabafulumya bonna, n'atwala kitaawe w'omuwala ne nnyina n'abo abaali naye, n'ayingira omuwala mw'ali. 41#Luk 7:14Awo n'akwata omukono gw'omuwala, n'amugamba nti Talisa kumi; okutegeezebwa kwakyo nti Omuwala, nkugamba nti Golokoka. 42Amangu ago omuwala n'agolokoka, n'atambula; kubanga yali yaakamala emyaka kkumi n'ebiri. Amangu ago ne bawuniikirira okuwuniikirira kunene. 43#Mak 1:44N'abakuutira nnyo buli muntu yenna aleme okukimanya ekyo: n'alagira okumuwa eky'okulya.

Currently Selected:

Makko 5: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in