YouVersion Logo
Search Icon

Makko 7

7
1 # Mat 15:1-20 Ne bakuŋŋaanira w'ali Abafalisaayo n'abawandiisi abamu, abaava e Yerusaalemi, 2#Luk 11:38era abaalaba abayigirizwa be abamu nga balya emmere yaabwe n'engalo embi, ze zitanaabiddwa. 3Kubanga Abafalisaayo, n'Abayudaaya bonna, bwe batanaaba nnyo mu ngalo zaabwe, tebalya, kubanga bakwata obulombolombo obw'abakadde; 4era bwe bava mu katale, bwe batanaaba, tebalya: era waliwo n'ebirala bingi bye baaweebwa okukwata, okunaazanga ebikompe, n'ebibya, n'entamu ez'ebikomo. 5Abafalisaayo n'abawandiisi ne bamubuuza nti Kiki abayigirizwa bo ekibalobera okutambulira mu bulombolombo obw'abakadde, naye bamala galya emmere n'engalo embi? 6#Is 29:13N'abagamba nti Isaaya yalagula bulungi ku mmwe bannanfuusi, nga bwe kyawandiikibwa nti
Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa,
Naye emitima gyabwe gindi wala.
7Naye bansinziza bwereere,
Nga bayigiriza amateeka g'abantu nga bye by'okukwata.
8Muleka etteeka lya Katonda, ne mukwata obulombolombo bw'abantu. 9N'abagamba nti Mugaanira ddala bulungi etteeka lya Katonda, era mukwate obulombolombo bwammwe. 10#Kuv 20:12; 21:17, Ma 5:16Kubanga Musa yayogera nti Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko; era nti Avumanga kitaawe oba nnyina, bamuttanga bussi: 11naye mmwe mwogera nti Omuntu bw'agamba kitaawe oba nnyina nti Kyonna kye nnandikuwadde okukugasa ye Kolubaani, ekitegeezebwa nti Kitone kya Katonda; 12temukyamuganya okukolera ekintu kitaawe oba nnyina; 13mudibya ekigambo kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe, bwe mwayigiriza: era mukola ebigambo ebirala bingi ng'ebyo. 14Ate n'ayita ebibiina, n'abagamba nti Mumpulire mwenna, mutegeere; 15#Bik 10:14,15tewali kintu ekiri ebweru w'omuntu bwe kiyingira mu ye, ekiyinza okumwonoona, naye ebintu ebiva mu muntu, ebyo bye byonoona omuntu. [ 16Buli alina amatu ag'okuwulira, awulire.] 17Awo bwe yayingira mu nnyumba ng'avudde mu bibiina, abayigirizwa be ne bamubuuza olugero olwo. 18N'abagamba nti Bwe mutyo nammwe temulina magezi? Temutegeera nga kyonna ekiri ebweru bwe kiyingira mu muntu, tekiyinza kumwonoona; 19kubanga tekiyingira mu mutima gwe, naye mu lubuto lwe, ne kiyita ne kigenda mu kiyigo? Yayogera bw'atyo ng'alongoosa ebiriibwa byonna. 20N'agamba nti Ekiva mu muntu, kye kyonoona omuntu. 21Kubanga munda, mu mitima gy'abantu, muvaamu ebirowoozo ebibi, obukaba, 22okubba, okutta, obwenzi, okwegomba, obubi, obukuusa, obuluvu, eriiso ebbi, obuvvoozi, amalala, obusiru: 23ebibi ebyo byonna biva munda, ne byonoona omuntu.
24 # Mat 15:21-28 N'agolokoka, n'avaayo n'agenda ku mbibi ez'e Ttuulo n'e Sidoni. N'ayingira mu nnyumba, n'atayagala muntu kutegeera, so n'atayinza kwekisa. 25Naye amangu ago omukazi eyalina muwala we eyaliko dayimooni, bwe yamuwulira n'ajja n'afukamira ku bigere bye. 26Omukazi yali Muyonaani, eggwanga lye Musulofoyiniiki. N'amwegayirira okugoba dayimooni ku muwala we. 27N'amugamba nti Leka abaana bamale okukkuta; kubanga si kirungi okuddira emmere y'abaana okugisuulira embwa. 28Naye n'addamu n'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange: n'embwa ziriira wansi w'emmeeza obukunkumuka bw'abaana. 29N'amugamba nti Olw'ekigambo ekyo, weddireyo; dayimooni avudde ku muwala wo. 30N'addayo mu nnyumba ye, n'asanga omuwala ng'agalamizibbwa ku kitanda, ne dayimooni ng'amuvuddeko.
31 # Mat 15:29-31 Ate n'ava mu mbibi ez'e Ttuulo, n'ajja n'ayita mu sidoni ne wakati mu mbibi ez'e Dekapoli n'atuuka ku nnyanja ey'e Ggaliraaya. 32#Mak 5:23Ne bamuleetera omuggavu w'amatu, atayogera bulungi; ne bamwegayirira okumussaako omukono gwe. 33#Mak 8:23N'amuggya mu kibiina kyama, n'amussa engalo mu matu ge, n'awanda amalusu, n'amukoma ku lulimi; 34#Mak 6:41, Yok 11:41n'atunula waggulu mu ggulu, n'asinda, n'amugamba nti Efasa, kwe kugamba nti Zibuka. 35Amatu ge ne gazibuka n'enkolo y'olulimi lwe n'esumulukuka n'ayogera bulungi. 36#Mak 1:43-45N'abakuutira baleme okubuulirako muntu; naye nga bwe yeeyongera okubakuutira, bwe beeyongera ennyo nnyini okukibunya. 37#Is 35:5Ne bawuniikirira nnyo nnyini kitalo nga bagamba nti Byonna akoze bulungi: aggula abaggavu b'amatu, era ayogeza abasiru.

Currently Selected:

Makko 7: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in