1
Makko 5:34
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
N'amugamba nti Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza; weegendere n'emirembe, owonere ddala ekibonoobono kyo.
Compare
Explore Makko 5:34
2
Makko 5:25-26
Awo omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri, eyatengejja ennyo eri abasawo abangi, n'awangayo bye yali nabyo byonna, so n'atabaako kimugasa, naye ne yeeyongeranga bweyongezi okulwala
Explore Makko 5:25-26
3
Makko 5:29
Amangu ago ensulo ey'omusaayi n'ekalira, n'ategeera mu mubiri gwe ng'awonyezebbwa ekibonoobono kye.
Explore Makko 5:29
4
Makko 5:41
Awo n'akwata omukono gw'omuwala, n'amugamba nti Talisa kumi; okutegeezebwa kwakyo nti Omuwala, nkugamba nti Golokoka.
Explore Makko 5:41
5
Makko 5:35-36
Awo bwe yali akyayogera, abaava ew'omukulu w'ekkuŋŋaniro ne bajja, nga bagamba nti Omuwala wo afudde; oteganyiza ki nate Omuyigiriza? Naye Yesu n'atassaako mwoyo ku kigambo ekyogeddwa, n'agamba omukulu w'ekkuŋŋaaniro nti Totya, kkiriza bukkiriza.
Explore Makko 5:35-36
6
Makko 5:8-9
Kubanga yamugamba nti Va ku muntu ono, ggwe dayimooni. N'amubuuza nti Erinnya lyo ggwe ani? N'amugamba nti Erinnya lyange Liigyoni; kubanga tuli bangi.
Explore Makko 5:8-9