YouVersion Logo
Search Icon

Makko 16

16
1 # Mat 28:1-8, Luk 24:1-12, Yok 20:1-10 Awo ssabbiiti bwe yaggwaako, Malyamu Magudaleene ne Malyamu nnyina Yakobo, ne Saalome ne bagula eby'akaloosa, bajje bamusiige. 2Awo bwe bwakya enkya ku lunaku olusooka mu wiiki, enjuba bwe yali yaakavaayo ne bajja ku ntaana. 3Awo baali beebuuzaganya bokka nti Ani anaatuyiringisiza ejjinja okuliggya ku mulyango gw'entaana? 4Awo bwe baatunuulira, ne balaba ejjinja nga liyiringisibbwa ku bbali; kubanga lyali ddene nnyo. 5Awo bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omulenzi ng'atudde ku luuyi olwa ddyo, ng'ayambadde olugoye olutukuvu; ne bawuniikirira. 6N'abagamba nti Temuwuniikirira: munoonya Yesu, Omunazaaleesi, eyakomererwa: azuukidde; tali wano: laba, ekifo we baamussa. 7#Mak 14:28Naye mugende, mubuulire abayigirizwa be ne Peetero nti Abakulembedde okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba. 8Ne bava ku ntaana nga badduka mangu; kubanga okukankana n'okusamaalirira byali bibakutte: so ne batabuulirako muntu kigambo, kubanga baatya.
9 # Luk 8:2, Yok 20:11-18 Awo bwe yamala okuzuukira mu makya ku lunaku olw'olubereberye ku nnaku omusanvu n'asooka okulabikira Malyamu Magudaleene gwe yagobako dayimooni omusanvu. 10Oyo n'agenda n'abuulira abaayitanga naye, nga banakuwala nga bakaaba. 11Awo bo, bwe baawulira nga mulamu, ng'alabiddwa ye, ne batakkiriza.
12 # Luk 24:13-35 Ebyo bwe byaggwa n'alabikira bannaabwe babiri mu kifaananyi kirala, nga batambula nga bagenda mu kyalo. 13Awo abo ne bagenda ne babuulira bali abalala, so ne batabakkiriza.
14 # 1 Kol 15:5 # Luk 24:36-49, Yok 20:19-23 Oluvannyuma n'alabikira ekkumi n'omu nga batudde ku mmere; n'abanenya olw'obutakkiriza n'obukakanyavu bw'emitima gyabwe, kubanga tebakkiriza abaamulaba ng'amaze okuzuukira. 15N'abagamba nti Mugende mu nsi zonna, mubuulire enjiri eri ebitonde byonna. 16#Bik 2:38Akkiriza n'abatizibwa, alirokoka, naye atakkiriza omusango gulimusinga. 17#Bik 16:18; 2:4,11; 10:46Era obubonero buno bunaagendanga n'abo abakkiriza: banaagobanga emizimu mu linnya lyange; banaayogeranga ennimi empya; 18#Luk 10:19, Bik 28:3-6, Yak 5:14,15banaakwatanga ku misota, bwe banaanywanga ekintu ekitta, tekiibakolenga kabi n'akatono; banassangako emikono abalwadde, nabo banaawonanga.
19 # Luk 24:50-53, Bik 1:4-11, 1 Tim 3:16, Zab 110:1, Bik 7:55, 2 Bassek 2:11 Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n'atwalibwa mu ggulu, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 20#Beb 2:4Bali ne bafuluma, ne babuulira wonna wonna, Mukama waffe ng'akoleranga wamu nabo era ng'anyweza ekigambo mu bubonero obwakiddiriranga. Amiina.

Currently Selected:

Makko 16: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy