YouVersion Logo
Search Icon

Makko 15

15
1 # Mat 27:1-2, Luk 22:66; 23:1, Yok 18:28 Awo amangu ago bwe bwakya enkya, bakabona abakulu n'abakadde n'abawandiisi n'ab'omu lukiiko bonna ne bateesa, ne basiba Yesu, ne bamutwala, ne bamuwaayo eri Piraato. 2#Mat 27:11-30, Luk 23:2-25, Yok 18:29—19:16Awo Piraato n'amubuuza nti Ggwe Kabaka w'Abayudaaya? Bwe yaddamu n'amugamba nti Ggwe oyogedde. 3Awo bakabona abakulu ne bamuloopa ebigambo bingi. 4Awo Piraato n'amubuuza nate, ng'agamba nti Toyanukula n'akatono? laba ebigambo bingi bye bakuloopa. 5#Mak 14:61, Is 53:7Naye Yesu n'ataddamu nate kigambo; Piraato n'okwewuunya ne yeewuunya.
6Awo ku mbaga yabateeranga omusibe omu gwe baamusaba. 7Awo waaliwo omu ayitibwa Balaba, eyasibibwa n'abo abaajeema, abatta abantu mu kujeema okwo. 8Awo ekibiina ne kirinnya ne kitanula okumusaba okubakola nga bwe yabakolanga. 9Awo Piraato n'abaddamu, ng'agamba nti Mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya? 10#Yok 11:48; 12:19, Mat 21:38Kubanga yategeera nga bakabona abakulu baamuweesezzaayo buggya. 11Naye bakabona abakulu ne baweerera ekibiina nti Balaba gw'aba abateera. 12Awo Piraato n'addamu nate n'abagamba nti Kale nnaamukola ntya gwe muyita Kabaka w'Abayudaaya? 13Awo ne boogerera waggulu nate nti Mukomerere. 14Awo Piraato n'abagamba nti Kazzi kibi ki ky'akoze? Naye ne beeyongera nnyo okwogerera waggulu nti Mukomerere. 15Awo Piraato bwe yali ayagala okusanyusa ekibiina, n'abateera Balaba, n'awaayo Yesu okukomererwa ng'amaze okumukuba. 16Awo basserikale ne bamutwala munda mu luggya oluyitibwa Pulayitoliyo; ne bayita ekitongole kyonna okukuŋŋaana. 17Ne bamwambaza olugoye olw'effulungu ne baluka engule ey'amaggwa ne bagimutikkira; 18ne batanula okumulamusa nti Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya! 19Ne bamukuba olumuli mu mutwe, ne bamuwandira amalusu, ne bafukamira, ne bamusinza. 20#Mat 27:31-56, Luk 23:26-49, Yok 19:16-30Awo bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu olugoye olw'effulungu, ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala ne bamufulumya okumukomerera.
21 # Bar 16:13 Ne bawaliriza omuntu eyali ayita, Simooni ow'e Kuleene, ng'ava mu kyalo, kitaawe wa Alegezanda ne Luufo, okugenda nabo okwetikka omusalaba gwe. 22Ne bamuleeta mu kifo Gologoosa, okutegeezebwa kwakyo nti Kifo kya kiwanga. 23#Zab 69:21Ne bamuwa omwenge ogutabuddwamu envumbo: naye ye n'atagukkiriza. 24#Zab 22:18Awo ne bamukomerera, ne bagabana ebyambalo bye, nga babikubirako obululu, buli muntu ky'anaatwala. 25Awo essaawa zaali ziri ssatu, ne bamukomerera. 26Awo ebbaluwa ey'omusango gwe n'ewandiikibwa waggulu nti KABAKA W'ABAYUDAAYA. 27Era n'abanyazi babiri ne babakomerera wamu naye; omu ku mukono gwe ogwa ddyo, n'omulala ku gwa kkono. 28Olwo ekyawandiikibwa ne kituukirira, ekigamba nti N'abalirwa awamu n'abasobya. 29#Zab 22:7; 109:25, Mak 14:58Awo abaali bayita ne bamuvuma nga banyeenya emitwe gyabwe, nga bagamba nti So, ggwe amenya yeekaalu n'ogizimbira ennaku essatu, 30weerokole, ove ku musalaba. 31Era bakabona abakulu ne baduula bwe batyo n'abawandiisi bokka na bokka ne bagamba nti Yalokola balala; tayinza kwerokola yekka. 32#Mat 16:1,4Kristo Kabaka wa Isiraeri ave kaakano ku musalaba, tulyoke tulabe tukkirize. Ne bali abaakomererwa naye ne bamuvuma.
33 # Am 8:9 Awo essaawa bwe zaali ziri mukaaga ne waba ekizikiza ku nsi yonna okutuusa ku ssaawa ey'omwenda. 34#Zab 22:1Awo mu ssaawa ey'omwenda Yesu n'akaaba n'eddoboozi ddene nti Eroi, Eroi, lama sabakusaani? okutegeezebwa kwakyo nti Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza? 35Awo abamu ku abo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ne bagamba nti Laba, ayita Eriya. 36#Zab 69:21Awo omu n'adduka, n'annyika ekisuumwa mu nvinnyo enkaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'amuwa okunywa, ng'agamba nti Leka tulabe nga Eriya anajja okumuwanula. 37Awo Yesu n'akaaba n'eddoboozi ddene n'awaayo obulamu. 38Awo n'eggigi ly'omu yeekaalu ne liyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi. 39Awo omwami w'ekitongole eyali ayimiridde awo ng'amwolekedde bwe yalaba ng'awaddeyo obulamu bw'atyo, n'agamba nti Mazima omuntu ono abadde Mwana wa Katonda. 40#Luk 8:2,3Era waaliwo walako abakazi nga balengera: mu abo waaliwo ne Malyamu Magudaleene, ne Malyamu nnyina Yakobo omuto ne Yose, ne Saalome; 41abo bwe yali mu Ggaliraaya be baayitanga naye nga bamuweereza; n'abakazi abalala bangi abaalinnya naye e Yerusaalemi.
42 # Mat 27:57-61, Luk 23:50-55, Yok 19:38-42 Awo bwe bwawungeera, kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka, lwe lunaku olusooka ssabbiiti, 43Yusufu ow'e Alimasaya, omukulu ateesa ow'ekitiibwa, era eyasuubiranga yennyini obwakabaka bwa Katonda; n'aguma n'ayingira eri Piraato nga tatya, n'asaba omulambo gwa Yesu. 44Awo Piraato ne yeewuunya bw'afudde amangu, n'ayita omwami w'ekitongole n'amubuuza oba ng'ekiseera kiyiseewo yaakafiira. 45Awo bwe yakiwulira okuva eri omwami, n'awa Yusufu omulambo. 46Ye n'agula olugoye olw'ekitaani, n'amuwanula, n'amuzinga mu lugoye olw'ekitaani olwo, n'amussa mu ntaana eyasimwa mu lwazi, n'ayiringisiza ejjinja ku mulyango gw'entaana. 47Malyamu Magudaleene ne Malyamu nnyina Yose ne balaba we yateebwa.

Currently Selected:

Makko 15: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in