YouVersion Logo
Search Icon

Lukka 1

1
1Bwe baali abangi abaatandika okuwandiika amakulu g'ebigambo ebyatuukirizibwa mu ffe, 2#Yok 15:27, Mat 17:11-13, Mal 3:1; 4:5,6nga bwe baabitubuulira, abo abaasooka okuva ku lubereberye okuba abajulirwa era abaweereza b'ekigambo, 3#Bik 1:1awo bwe nnaliraanyiza ddala byonna okuva ku lubereberye, era nange nnalaba nga kirungi okukuwandiikira ggwe Teefiro omulungi ennyo, nga bwe byaliraana; 4olyoke omanye amazima g'ebigambo bye wayigirizibwa.
5 # 1 Byom 24:10 Awo mu mirembe gya Kerode, kabaka w'e Buyudaaya, waaliwo kabona, erinnya lye Zaakaliya, wa mu lulyo lwa Abiya: era yalina omukazi ow'omu bawala ba Alooni, erinnya lye Erisabesi. 6N'abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, nga batambulira mu biragiro byonna ne mu by'obutuukirivu ebya Mukama nga tebaliiko kabi. 7So tebaalina mwana, kubanga Erisabesi yali mugumba, nabo bombi baali bakaddiye mu myaka gyabwe.
8Awo olwatuuka, bwe yali ng'akola omulimu ogw'obwa kabona mu maaso ga Katonda ng'oluwalo lwe bwe lwaliraana, 9#Kuv 30:7awo akalulu ne kamugwako ng'empisa ez'obwa kabona bwe zaali okuyingira mu yeekaalu ya Mukama okwoteza obubaane. 10Awo ekibiina kyonna eky'abantu kyali nga kisabira bweru mu kiseera eky'okwoterezaamu. 11Awo malayika wa Mukama n'amulabikira ng'ayimiridde ku luuyi olwa ddyo olw'ekyoto eky'okwoterezaako. 12Awo Zaakaliya bwe yamulaba ne yeeraliikirira, n'atya. 13Naye malayika n'amugamba nti Totya, Zaakaliya; kubanga okwegayirira kwo kuwuliddwa, mukazi wo Erisabesi alikuzaalira omwana ow'obulenzi, olimutuuma erinnya Yokaana. 14Olisanyuka, era olijaguza, era bangi abalisanyukira okuzaalibwa kwe. 15#Kubal 6:3, Balam 13:4,5, 1 Sam 1:11Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Mukama, so talinywa mwenge newakubadde ekitamiiza; era alijjuzibwa Omwoyo Omutukuvu, okuva mu lubuto lwa nnyina. 16Era bangi mu baana ba Isiraeri alibakomyawo eri Mukama Katonda waabwe. 17#Mat 17:11-13, Mal 3:1; 4:5,6Alikulembera mu maaso ge mu mwoyo n'amaanyi ga Eriya okukomyawo emitima gya bajjajja eri abaana, n'abatawulira okutambuliranga mu magezi g'abatuukirivu; okutegekera Mukama abantu abateekebwateekebwa. 18#Lub 18:11Awo Zaakaliya n'agamba malayika nti Nnaakimanya ntya ekyo? kubanga nze ndi mukadde ne mukazi wange akaddiye mu myaka gye. 19#Dan 8:16; 9:21, Beb 1:14Awo malayika n'addamu n'amugamba nti Nze Gabulyeri, ayimirira mu maaso ga Katonda; era nnatumibwa okwogera naawe n'okukubuulira ebigambo ebyo ebirungi. 20#Luk 1:45Kale, laba, olisirika era nga toyinza kwogera, okutuusa ku lunaku lwe biribaawo ebyo, kubanga tokkirizza bigambo byange, ebirituukirizibwa mu ntuuko zaabyo. 21Awo abantu baali balindirira Zaakaliya, ne beewuunya bw'aludde mu yeekaalu. 22Awo bwe yafuluma n'atayinza kwogera nabo: ne bategeera nti alabye okwolesebwa mu yeekaalu: n'alwawo ng'abawenya n'omukono ng'akyasiruwadde. 23Awo olwatuuka, ennaku ez'okuweereza kwe bwe zaggwaayo, n'addayo eka ewuwe.
24Awo ennaku ezo bwe zaayitawo mukazi we Erisabesi n'aba olubuto: ne yeekwekera emyezi etaano, ng'agamba nti 25#Lub 30:23Bw'atyo Mukama bw'ankoze mu nnaku ze yantunuuliriramu okunziyako ensonyi mu bantu.
26Awo mu mwezi ogw'omukaaga malayika Gabulyeri n'atumibwa Katonda mu kibuga eky'e Ggaliraaya erinnya lyakyo Nazaaleesi, 27#Luk 2:5, Mat 1:16,18eri omuwala atamanyi musajja eyali ayogerezebwa omusajja erinnya lye Yusufu ow'omu nnyumba ya Dawudi; n'erinnya ly'omuwala Malyamu. 28#Balam 5:24Awo n'ayingira omumwe, n'agamba nti Mirembe ggwe aweereddwa ennyo ekisa, Mukama ali naawe. 29Naye ye ne yeeraliikirira ekigambo ekyo, n'alowooza okulamusa okwo bwe kuli. 30Awo malayika n'amugamba nti Totya, Malyamu; kubanga olabye ekisa eri Katonda. 31#Balam 13:3, Is 7:14, Mat 1:21-23Era, laba, oliba olubuto, olizaala omwana ow'obulenzi, olimutuuma erinnya Yesu. 32#Is 9:7, 2 Sam 7:12,13,16Oyo aliba mukulu, aliyitibwa Mwana w'Oyo Ali waggulu ennyo. Era Mukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe: 33#Mi 4:7, Dan 7:14era anaafuganga ennyumba ya Yakobo emirembe n'emirembe, so obwakabaka bwe tebuliggwaawo. 34Awo Malyamu n'agamba malayika nti Kiriba kitya ekyo, kubanga simanyi musajja? 35#Kuv 13:12, Mat 1:18,20Ne malayika n'addamu n'amugamba nti Omwoyo Omutukuvu alikujjira, n'amaanyi g'Oyo Ali waggulu ennyo galikusiikiriza: era ekyo ekirizaalibwa kyekiriva kiyitibwa ekitukuvu, Omwana wa Katonda. 36Laba, Erisabesi muganda wo, era ye ali lubuto lwa mwana wa bulenzi mu bukadde bwe; guno gwe mwezi gwe ogw'omukaaga eyayitibwanga omugumba. 37#Lub 18:14Kubanga tewali kigambo ekiva eri Katonda kiribulwa maanyi. 38Malyamu n'agamba nti Laba, nze ndi muzaana wa Mukama; kibe ku nze nga bw'ogambye. Awo malayika n'ava gy'ali.
39Awo mu nnaku ezo Malyamu n'ayimuka n'agenda mangu mu nsi ey'ensozi, mu kibuga kya Yuda; 40n'ayingira mu nnyumba ya Zaakaliya n'alamusa Erisabesi. 41#Luk 1:15, Lub 25:22Awo olwatuuka Erisabesi bwe yawulira okulamusa kwa Malyamu, omwana n'abuukabuuka mu lubuto lwe; Erisabesi n'ajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu; 42#Ma 28:4, Balam 5:24n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene n'agamba nti Oweereddwa omukisa ggwe mu bakazi, n'ekibala eky'omu lubuto lwo kiweereddwa omukisa. 43Nange nno, ekigambo kino kivudde wa, nnyina Mukama wange okujja gye ndi? 44Kubanga laba, eddoboozi ly'okulamusa kwo bwe liyingidde mu matu gange, omwana n'abuukabuuka mu lubuto lwange, olw'essanyu. 45#Luk 1:20; 11:28Aweereddwa omukisa eyakkiriza; kubanga birituukirizibwa ebyo bye wagambibwa Mukama. 46#1 Sam 2:1-10Malyamu n'agamba nti
Emmeeme yange etendereza Mukama,
47N'omwoyo gwange gusanyukidde Katonda Omulokozi wange.
48 # Luk 1:25, 1 Sam 1:11, Zab 113:5,6, Luk 11:27 Kubanga alabye obunaku bw'omuzaana we:
Kubanga, laba, okusooka leero ab'emirembe gyonna banampitanga aweereddwa omukisa.
49 # Zab 111:9 Kubanga Omuyinza ankoledde ebikulu;
N'erinnya lye ttukuvu.
50 # Zab 103:13,17 N'ekisa kye kiri mu bamutya;
Emirembe n'emirembe.
51 # Zab 89:10, 2 Sam 22:28 Alaze amaanyi n'omukono gwe;
Asaasaanyizza abalina amalala mu kuteerera kw'omu mitima gyabwe.
52 # Zab 147:6, Yob 12:19; 5:11, 1 Sam 2:7 Agobye abafuzi abeekulumbaza ku ntebe zaabwe,
Agulumizizza abeetoowaze
53 # 1 Sam 2:5, Zab 34:10; 107:9 Abalina enjala abakkusizza ebirungi;
N'abagagga abagobye nga tebalina kintu.
54 # Is 41:8, Zab 98:3 Abedde Isiraeri omuddu we
Ajjukire ekisa kye
55 # Mi 7:20, Lub 17:7; 18:18; 22:17 (Nga bwe yagamba bajjajjaffe)
Eri Ibulayimu n'ezzadde lye, emirembe gyonna.
56Awo Malyamu n'amalayo emyezi ng'esatu, n'akomawo ewuwe.
57Awo ebiro bya Erisabesi ne bituuka okuzaala: n'azaala omwana wa bulenzi. 58Baliraanwa be n'ab'ekika kye ne bawulira nga Mukama amugulumiririzza ekisa kye, ne basanyukira wamu naye. 59#Lub 17:12Awo olwatuuka ku lunaku olw'omunaana, ne bajja okukomola omwana; baali baagala okumutuuma erinnya lya kitaawe Zaakaliya. 60#Luk 1:13Nnyina n'addamu n'agamba nti Nedda, naye anaatuumibwa Yokaana. 61Ne bamugamba nti Tewali wa mu kika kyo ayitibwa linnya eryo. 62Ne bawenya kitaawe, bw'ayagala okumutuuma. 63N'ayagala ekipande eky'okuwandiikako, n'awandiika, n'agamba nti Erinnya lye Yokaana. Ne beewuunya bonna. 64Amangu ago akamwa ke ne kazibuka, n'olulimi lwe ne lusumulukuka, n'ayogera nga yeebaza Katonda. 65Bonna abaali baliraanyeewo ne batya. N'ebigambo ebyo byonna ne bibuna mu nsi yonna ey'ensozi ey'e Buyudaaya. 66Ne bonna abaabiwulira ne babissa mu mitima gyabwe, ne bagamba nti Kale omwana oyo aliba ki? kubanga omukono gwa Mukama gwali wamu naye.
67Kitaawe Zaakaliya n'ajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu, n'alagula, ng'agamba nti
68 # Luk 7:16, Zab 41:13; 72:18 Atenderezebwe Mukama, Katonda wa Isiraeri;
Kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde,
69 # 1 Sam 2:10, Zab 18:2; 132:17 Era atuyimusirizza ejjembe ery'obulokozi
Mu nnyumba y'omuddu we Dawudi.
70(Nga bwe yayogerera mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu, abaaliwo kasookedde ensi ebaawo),
71Okulokolebwa mu balabe baffe, ne mu mikono gy'abo bonna abatukyawa;#Zab 106:10
72 # Zab 105:8; 106:45, Lub 17:7, Leev 26:42 Okutuukiriza ekisa kye yasuubiza bajjajjaffe,
N'okujjukira endagaano ye entukuvu;
73 # Lub 22:16,17, Mi 7:20 Okutuukiriza ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,
74 # Tit 2:12,14 Okukituwa ffe; ffe bwe tulokolebwa mu mikono gy'abalabe baffe,
Tulyoke tumuweereze nga tetuliiko kye tutya,
75Mu butukuvu ne mu butuukirivu mu maaso ge ennaku zaffe zonna.
76 # Mal 3:1, Mat 3:3 Naawe, omwana, oliyitibwa nnabbi w'Oyo Ali waggulu ennyo:
Kubanga olikulembera Mukama okulongoosa amakubo ge;
77 # Yer 31:34 Okumanyisa abantu be obulokozi,
Ebibi byabwe bibaggibweko,
78 # Kubal 24:17, Is 60:1,2, Mal 4:2 Olw'ekisa kya Katonda waffe ekirungi,
Emmambya kyevudde etusalira eva mu ggulu,
79 # Mat 4:16, Is 9:2; 58:8 Okwakira abatuula mu nzikiza, ne mu kisiikirize ky'olumbe,
Okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery'emirembe.
80 # Mat 3:1 Omwana n'akula, n'ayongerwako amaanyi mu mwoyo, n'abeera mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isiraeri.

Currently Selected:

Lukka 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy