Makko 10
10
1 #
Mak 9:33
#
Mat 19:1-9
Awo n'agolokoka n'avaayo, n'ajja mu mbibi ez'e Buyudaaya n'emitala wa Yoludaani: ebibiina bingi ne bikuŋŋaanira w'ali nate; nga bwe yayisanga n'abayigiriza nate. 2Awo Abafalisaayo ne bajja gy'ali, ne bamubuuza nti Kirungi omuntu okugobanga mukazi we? nga bamukema. 3Naye n'addamu n'abagamba nti Musa yabalagira atya? 4#Ma 24:1, Mat 5:31,32Ne bagamba nti Musa yakkiriza okuwandiikanga ebbaluwa ey'okugoba, alyoke agobebwenga. 5Naye Yesu n'abagamba nti Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe kyeyava abawandiikira etteeka lino. 6#Lub 1:27Naye okuva ku lubereberye lw'okutonda, yabatonda omusajja n'omukazi. 7#Lub 2:24Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we; 8nabo bombi banaabanga omubiri gumu: kale nga tebakyali babiri nate, wabula omubiri gumu. 9Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawukanyanga. 10Awo ate mu nnyumba abayigirizwa ne bamubuuza ekigambo ekyo. 11#Luk 16:18N'abagamba nti Buli muntu yenna anaagobanga mukazi we, n'awasa omulala, ng'ayenze okumusobya; 12naye yennyini bw'anaanobanga ewa bba, n'afumbirwa omulala, ng'ayenze.
13 #
Mat 19:13-15, Luk 18:15-17 Awo ne bamuleetera abaana abato, okubakomako: abayigirizwa be ne bajunga abaabaleeta. 14Naye Yesu bwe yalaba n'asunguwala, n'abagamba nti Mukkirize abaana abato bajje gye ndi; so temubagaana; kubanga abafaanana nga bano obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe. 15#Mat 18:3Mazima mbagamba nti Buli atakkirizenga bwakabaka bwa Katonda ng'omwana omuto, talibuyingiramu n'akatono. 16N'abawambaatira, n'abawa omukisa, ng'abassaako emikono.
17 #
Mat 19:16-30, Luk 18:18-30 Bwe yali ng'agenda mu kkubo, omu n'ajja gy'ali ng'adduka, n'amufukaamirira, n'amubuuza nti Omuyigiriza omulungi, naakola ntya okusikira obulamu obutaggwaawo? 18Yesu n'amugamba nti Ompitira ki omulungi? tewali mulungi wabula omu, ye Katonda. 19#Kuv 20:12-17, Ma 5:16-20; 24:14Omanyi amateeka, Tottanga, Toyendanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Tolyazaamaanyanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko. 20N'amugamba nti Omuyigiriza, ebyo byonna nnabikwata okuva mu buto bwange. 21#Mak 8:34, Mat 10:38Yesu bwe yamutunuulira n'amwagala, n'amugamba nti oweebuuseeko ekigambo kimu: genda otunde byonna by'oli nabyo, ogabire abaavu, naawe oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere. 22Naye n'atokooterera olw'ekigambo ekyo, n'agenda ng'anakuwadde; kubanga yali alina ebintu bingi.
23Awo Yesu ne yeetoolooza amaaso, n'agamba abayigirizwa be nti Nga kizibu abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 24#Zab 62:10, 1 Tim 6:17Abayigirizwa ne beewuunya ebigambo bye. Naye Yesu n'addamu nate, n'abagamba nti Abaana, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25Kye kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okukira omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 26Ne bawuniikirira nnyo, ne bamugamba nti Kale ani ayinza okulokoka? 27#Lub 18:14, Yob 42:2Awo Yesu n'abatunuulira n'agamba nti Mu bantu tekiyinzika, naye si bwe kityo eri Katonda; kubanga byonna biyinzika eri Katonda. 28Awo Peetero n'atanula okumugamba nti Laba, ffe twaleka byonna, ne tukugoberera. 29Yesu n'agamba nti Mazima mbagamba nti Tewali eyaleka ennyumba, oba ab'oluganda, oba bannyina, oba nnyina, oba kitaawe, oba abaana, oba ebyalo, ku lwange n'olw'enjiri, 30ataliweebwa emirundi kikumi mu biro bino ebya kaakano, ennyumba, n'ab'oluganda, ne bannyina ne bannyaabwe, n'abaana, n'ebyalo, n'okuyigganyizibwa; ne mu mirembe egigenda okujja obulamu obutaggwaawo. 31Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma; n'ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye.
32 #
Mat 20:17-19, Luk 18:31-34 #
Mat 20:17-19
Baali mu kkubo nga bambuka e Yerusaalemi; ne Yesu yali ng'abakulembedde, ne beewuunya, na bali abaagoberera ne batya. Awo nate n'atwala ekkumi n'ababiri, n'atanula okubabuulira ebigambo ebigenda okumubaako, 33nti Laba, twambuka e Yerusaalemi; Omwana w'omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n'abawandiisi; balimusalira omusango okumutta, balimuwaayo eri ab'amawanga: 34balimuduulira, balimuwandira amalusu, balimukuba, balimutta; bwe waliyitawo ennaku essatu alizuukira.
35 #
Mat 20:20-28
Awo Yakobo ne Yokaana, abaana ba Zebbedaayo, ne basembera w'ali, ne bamugamba nti Omuyigiriza, twagala otukolere kyonna kyonna kye tunaakusaba. 36N'abagamba nti Mwagala mbakolere ki? 37Ne bamugamba nti Tuwe tutuule, omu ku mukono gwo ogwa ddyo, n'omulala ku mukono gwo ogwa kkono, mu kitiibwa kyo. 38#Mak 14:36, Luk 12:50, Bar 6:3Naye Yesu n'abagamba nti Temumanyi kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe kye nnywako nze? oba okubatizibwa n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze? 39#Bik 12:2, Kub 1:9Ne bamugamba nti tuyinza. Yesu n'abagamba nti Ekikompe nze kye nnywako mulinywako; n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze mulibatizibwa; 40naye okutuula ku mukono gwange ogwa ddyo oba ku gwa kkono, si nze nkugaba, naye kw'abo be kwategekerwa. 41Awo ekkumi bwe baawulira, ne batanula okusunguwalira Yakobo ne Yokaana. 42#Luk 22:25-27Yesu n'abayita, n'abagamba nti Mumanyi ng'abo abalowoozebwa okufuga ab'amawanga babafuza amaanyi; n'abakulu baabwe babatwala lwa mpaka. 43#Mak 9:35Naye mu mmwe tekiri bwe kityo: naye buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe; 44na buli ayagala okuba ow'olubereberye mu mmwe anaabanga muddu wa bonna. 45Kubanga mazima Omwana w'omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe okununula abangi.
46 #
Mat 20:29-34, Luk 18:35-43 Awo ne batuuka e Yeriko bwe yava mu Yeriko n'abayigirizwa be, n'ekibiina kinene, omwana wa Timaayo, Battimaayo, omusabi omuzibe w'amaaso, yali atudde ku mabbali g'ekkubo. 47Awo bwe yawulira nga Yesu Omunazaaleesi ye wuuyo, n'atanula okwogerera waggulu n'okugamba nti Omwana wa Dawudi, Yesu, onsaasire. 48Bangi ne bamuboggolera okusirika: naye ne yeeyongera nnyo okwogerera waggulu nti Omwana wa Dawudi, onsaasire. 49Awo Yesu n'ayimirira n'agamba nti Mumuyite. Ne bayita omuzibe w'amaaso, ne bamugamba nti guma omwoyo; golokoka, akuyita. 50Naye n'asuula olugoye lwe, n'asituka, n'ajja eri Yesu. 51Yesu n'amuddamu, n'agamba nti Oyagala nkukole ntya? Omuzibe w'amaaso n'amugamba nti Labooni, njagala nzibule. 52Awo Yesu n'amugamba nti Genda; okukkiriza kwo kukuwonyezza. Amangu ago n'azibula, n'amugoberera mu kkubo.
Currently Selected:
Makko 10: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.