1
Makko 10:45
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Kubanga mazima Omwana w'omuntu teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe okununula abangi.
Compare
Explore Makko 10:45
2
Makko 10:27
Awo Yesu n'abatunuulira n'agamba nti Mu bantu tekiyinzika, naye si bwe kityo eri Katonda; kubanga byonna biyinzika eri Katonda.
Explore Makko 10:27
3
Makko 10:52
Awo Yesu n'amugamba nti Genda; okukkiriza kwo kukuwonyezza. Amangu ago n'azibula, n'amugoberera mu kkubo.
Explore Makko 10:52
4
Makko 10:9
Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawukanyanga.
Explore Makko 10:9
5
Makko 10:21
Yesu bwe yamutunuulira n'amwagala, n'amugamba nti oweebuuseeko ekigambo kimu: genda otunde byonna by'oli nabyo, ogabire abaavu, naawe oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere.
Explore Makko 10:21
6
Makko 10:51
Yesu n'amuddamu, n'agamba nti Oyagala nkukole ntya? Omuzibe w'amaaso n'amugamba nti Labooni, njagala nzibule.
Explore Makko 10:51
7
Makko 10:43
Naye mu mmwe tekiri bwe kityo: naye buli ayagala okubeera omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe
Explore Makko 10:43
8
Makko 10:15
Mazima mbagamba nti Buli atakkirizenga bwakabaka bwa Katonda ng'omwana omuto, talibuyingiramu n'akatono.
Explore Makko 10:15
9
Makko 10:31
Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma; n'ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye.
Explore Makko 10:31
10
Makko 10:6-8
Naye okuva ku lubereberye lw'okutonda, yabatonda omusajja n'omukazi. Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu: kale nga tebakyali babiri nate, wabula omubiri gumu.
Explore Makko 10:6-8