Makko 11
11
1 #
Mat 21:1-9, Luk 19:29-38, Yok 12:12-16 Awo bwe baali banaatera okutuuka e Yerusaalemi nga batuuse e Besufaage n'e Bessaniya, ku lusozi olwa Zeyituuni, n'atuma ku bayigirizwa be babiri, 2n'abagamba nti Mugende mu mbuga ebali mu maaso: amangu ago bwe munaayingira omwo, munaalaba omwana gw'endogoyi ogusibiddwa, oguteebagalwangako muntu n'akatono; muguyimbule, muguleete. 3#Mak 14:14Omuntu bw'abagamba nti Mukola ki ekyo? mugamba nti Mukama waffe ye agwetaaga; amangu ago anaaguweereza eno. 4Ne bagenda, ne basanga omwana gw'endogoyi nga gusibiddwa ku mulyango ebweru mu luguudo; ne baguyimbula. 5Abamu ku abo abaali bayimiridde awo ne babagamba nti Mukola ki okuyimbula omwana gw'endogoyi? 6Ne babagamba nga Yesu bwe yabagamba: ne babaleka. 7Ne baleeta omwana gw'endogoyi eri Yesu, ne bagusuulako engoye zaabwe; n'agwebagala. 8Bangi ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo; abalala ne baaliira amalagala g'emiti, ge baatema mu nnimiro. 9#Zab 118:25,26Abaali bakulembedde n'abaali bava ennyuma ne boogerera waggulu nti Ozaana; Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama: 10Buweereddwa omukisa obwakabaka obujja, obwa jjajjaffe Dawudi: Ozaana waggulu ennyo.
11 #
Mat 21:12-22, Luk 19:45-48 N'atuuka ku Yerusaalemi n'ayingira mu yeekaalu; bwe yamala okwetoolooza amaaso okulaba byonna, obudde bwali nga buwungeera, n'afuluma n'agenda e Bessaniya n'ekkumi n'ababiri.
12Awo bwe bwakya enkya, bwe baali bavudde mu Bessaniya n'alumwa enjala. 13#Luk 3:9; 13:6-9Awo bwe yalengera omutiini oguliko amalagala, n'agutuukako, era wozzi alabeko ekintu: awo bwe yagutuukako, n'atalabako kintu wabula amalagala; kubanga si bye byali ebiro by'ettiini. 14#Mak 11:20N'addamu n'agugamba nti Okusooka leero okutuusa emirembe n'emirembe omuntu talyanga ku bibala byo. Abayigirizwa be ne bawulira.
15 #
Yok 2:14-16
Awo ne batuuka e Yerusaalemi, n'ayingira mu yeekaalu, n'asooka okugoba abaali batunda n'abagulira mu yeekaalu, n'avuunika emmeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'entebe z'abo abaali batunda amayiba; 16n'ataganya muntu okuyisa ekibya mu yeekaalu. 17#Is 56:7, Yer 7:11N'ayigiriza, n'abagamba nti tekyawandiikibwa nti Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu amawanga gonna? naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi. 18Bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baakiwulira, ne basala amagezi bwe banaamutta: kubanga baamutya, kubanga ebibiina byonna baawuniikirira olw'okuyigiriza kwe.
19Awo buli kawungeezi yafulumanga mu kibuga.
20 #
Mak 11:14
Awo bwe bwakya enkya bwe baali nga bayita, ne balaba omutiini nga guvudde ku kikolo okukala. 21Peetero bwe yajjukira n'amugamba nti Labbi, laba, omutiini gwe wakolimira gukaze. 22#Yok 14:1Yesu n'addamu n'abagamba nti Mube n'okukkiriza mu Katonda. 23#Mat 17:20, Luk 17:6Mazima mbagamba nti Buli aligamba olusozi luno nti Sigulibwa, osuulibwe mu nnyanja; nga tabuusabuusa mu mutima gwe naye ng'akkiriza nga ky'ayogera kikolebwa, alikiweebwa. 24#Mat 7:7, Yok 14:13; 16:23Kyenva mbagamba nti Ebigambo byonna byonna bye musaba n'okwegayirira, mukkirize nga mubiweereddwa, era mulibifuna. 25#Mat 5:23Awo bwe munaayimiriranga nga musaba, musonyiwenga, bwe mubanga n'ekigambo ku muntu; ne Kitammwe ali mu ggulu abasonyiwe ebyonoono byammwe. [ 26#Mat 6:14,15Naye bwe mutasonyiwa, era ne Kitammwe ali mu ggulu talisonyiwa byonoono byammwe.]
27 #
Mat 21:23-27, Luk 20:1-8 Ate ne batuuka e Yerusaalemi; awo bwe yali ng'atambula mu yeekaalu, ne bajja w'ali bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakadde; 28ne bamugamba nti Buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza buno okukola bino? 29Awo Yesu n'abagamba nti Nange ka mbabuuze mmwe ekigambo kimu, munziremu, nange nnaababuulira mmwe obuyinza bwe buli obunkoza bino. 30Okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu, nantiki mu bantu? munziremu. 31Ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti Bwe tunaagamba nti Kwava mu ggulu; anaagamba nti Kale kiki ekyabalobera okumukkiriza? 32Naye bwe tunaagamba nti Kwava mu bantu--baatya abantu; kubanga bonna baalowooza mazima Yokaana okuba nnabbi. 33Ne baddamu Yesu, ne bamugamba nti tetumanyi. Yesu n'abagamba nti Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino.
Currently Selected:
Makko 11: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.