1
Matayo 15:18-19
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Naye ebifuluma mu kamwa biva mu mutima; n'ebyo bye byonoona omuntu. Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, okuvuma
Compare
Explore Matayo 15:18-19
2
Matayo 15:11
ekiyingira mu kamwa si kye kyonoona omuntu; naye ekiva mu kamwa, ekyo kye kyonoona omuntu.
Explore Matayo 15:11
3
Matayo 15:8-9
Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa; Naye omutima gwabwe gundi wala. Naye bansinziza bwereere, Nga bayigiriza amateeka g'abantu nga bye by'okukwata.
Explore Matayo 15:8-9
4
Matayo 15:28
Yesu n'alyoka addamu n'amugamba nti Ggwe omukazi, okukkiriza kwo kunene: kibeere gy'oli nga bw'oyagala. Muwala we n'awona okuva mu kiseera ekyo.
Explore Matayo 15:28
5
Matayo 15:25-27
Naye n'ajja, n'amusinza, ng'agamba nti Mukama wange, mbeera. N'addamu n'agamba nti Si kirungi okuddira emmere y'abaana n'okugisuulira obubwa. Naye n'agamba nti Weewaawo, Mukama wange: kubanga n'obubwa bulya obukunkumuka obugwa okuva ku mmeeza ya bakama baabwo.
Explore Matayo 15:25-27