1
Matayo 13:23
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
N'oyo eyasigibwa ku ttaka eddungi, ye oyo awulira ekigambo, n'akitegeera; oyo ddala abala ddala ebibala, omulala aleeta kikumi, omulala nkaaga, omulala makumi asatu.
Compare
Explore Matayo 13:23
2
Matayo 13:22
N'oyo eyasigibwa mu maggwa, ye oyo awulira ekigambo; naye okweraliikirira kw'ensi, n'obulimba bw'obugagga bizisa ekigambo, era tabala.
Explore Matayo 13:22
3
Matayo 13:19
Buli awulira ekigambo eky'obwakabaka, nga takitegedde, omubi oyo ajja, n'akwakula ekisigiddwa mu mutima gwe. Oyo ye yasigibwa ku mabbali g'ekkubo.
Explore Matayo 13:19
4
Matayo 13:20-21
N'oyo eyasigibwa awali enjazi, ye oyo awulira ekigambo, amangu ago n'akikkiriza n'essanyu; naye talina mmizi munda mu ye, naye alwawo katono; bwe wabaawo ennaku n'okuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangu ago yeesittala.
Explore Matayo 13:20-21
5
Matayo 13:44
Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'eky'obugagga ekyakisibwa mu lusuku; omuntu n'akiraba, n'akikweka; n'olw'essanyu lye n'agenda n'atunda by'ali nabyo byonna, n'agula olusuku olwo
Explore Matayo 13:44
6
Matayo 13:8
endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibala emmere, endala kikumi, endala nkaaga, endala makumi asatu.
Explore Matayo 13:8
7
Matayo 13:30
Muleke bikule byombi bituuse amakungula: mu biro eby'amakungula ndigamba abakunguzi nti Musooke mukuŋŋaanye eŋŋaano ey'omu nsiko, mugisibe emiganda eyokebwe: naye eŋŋaano yennyini mugikuŋŋaanyize mu ggwanika lyange.
Explore Matayo 13:30